Bwe waayitawo ekiseera, muka mukama we n'amusuuliza amaaso, n'agamba nti: “Weebake nange.” Naye Yosefu n'agaana, n'agamba muka mukama we nti: “Laba, mukama wange takyeraliikirira kintu kye na kimu mu nnyumba, kubanga nze wendi, era yandekera ebibye byonna okubirabirira. Nnina obuyinza mu maka gano obwenkanankana n'obubwe, era talina ky'atankwasa okuggyako ggwe, kubanga oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okukola ekibi ekyenkanidde awo, ne nsobya eri Katonda?”