YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 35

35
1Katonda n'agamba Yakobo nti, “Golokoka, oyambuke e Beseri, gye nnakulabikira ng'odduka mugandawo Esawu, otuule eyo onzimbire ekyoto.”#Lub 27:43; 28:13,19 2Yakobo n'alyoka agamba ab'omu nnyumba ye n'abo bonna abaali naye nti, “Muggyeewo bakatonda abalala abali mu mmwe, mwetukuze, mukyuse ebyambalo byammwe, mwambale ebitukula;#Lub 31:19, Kuv 19:10, Yos 24:15,23, 1 Sam 7:3 3tusituke twambuke e Beseri; nange ndizimbira eyo Katonda ekyoto, eyannyamba, mu biseera ebizibu, era eyabanga nange mu kkubo lye natambuliramu.”#Lub 28:20; 31:3,42; 32:7,24 4Ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna be baalina n'empeta ezaali ku matu gaabwe; Yakobo n'abiziika wansi w'omuti omwera, ogwali mu Sekemu.#Yos 24:26, Balam 9:6, 1 Sam 10:2 5Ne batambula, entiisa ennene n'ekwata ab'omu bibuga ebibeetoolodde, ne batabawondera.#Kuv 15:16; 23:27, Ma 11:25, Yos 2:9 6Awo Yakobo n'abantu bonna abaali naye, ne batuuka e Luzzi, ye Beseri ekiri mu nsi ya Kanani. 7#Lub 28:19; 35:1 N'azimba eyo ekyoto, ekifo ekyo n'akituuma Erubeseri,#35:7: Erubeseri Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Katonda w'e Beseri” kubanga eyo Katonda gye yamulabikira bwe yali ng'adduka Esawu muganda we. 8Debola, omulezi wa Lebbeeka n'afa, ne bamuziika emmanga wa Beseri wansi w'omwera; ne bagutuuma erinnya Alooninakusi.#35:8: Alooninakusi Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Omuti ogw'okukaaba amaziga.”#Lub 24:59
9Katonda n'alabikira nate Yakobo, bwe yava mu Padanalaamu, n'amuwa omukisa.#Kos 12:4 10Katonda n'amugamba nti, “Erinnya lyo ggwe Yakobo; naye okuva kati tokyayitibwa Yakobo, naye Isiraeri lye linaabanga erinnya lyo.” N'amutuuma erinnya Isiraeri.#Lub 17:5; 32:28 11Katonda n'amugamba nti, “Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna; oyale era weeyongerenga; eggwanga n'ekibiina eky'amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka baliva mu ntumbwe zo;#Lub 17:1-8; 26:3; 48:3 12n'ensi gye nnawa Ibulayimu ne Isaaka, ndigikuwa ggwe, n'ezzadde lyo eririddawo.” 13Katonda n'ava awali Yakobo,#Lub 17:22 14Yakobo n'asimba empagi ey'amayinja mu kifo Katonda mwe yayogerera naye, n'agifukako ekiweebwayo eky'okunywa n'amafuta.#Lub 28:18 15Yakobo n'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Beseri.#Lub 28:19
Okufa kwa Laakeeri
16Awo Yakobo n'ab'omu nnyumba ye ne bava e Beseri ne batambula; baali babulako katono okutuuka mu Efulasi; ebiseera bya Laakeeri eby'okuzaala ne bituuka, n'alumwa nnyo. 17Awo olwatuuka, bwe yali alumwa nnyo, omuzaalisa n'amugamba nti, “Totya; kubanga kaakano onoozaala omwana ow'obulenzi omulala.”#Lub 30:24 18Awo olwatuuka, bwe yali anaatera okufa, n'atuuma omwana we erinnya Benoni,#35:18: Benoni Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Omwana gwe nzaalidde mu bulumi.” naye kitaawe n'amutuuma Benyamini.#35:18: Benyamini Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Omwana aliba ow'omukisa.” 19Laakeeri n'afa, ne bamuziika ku mabbali g'ekkubo erigenda e Efulasi, ye Besirekemu.#Lub 48:7, Luus 1:2; 4:11, Mi 5:2, Mat 2:6 20Yakobo n'asimba empagi ku malaalo ge; eyo ye mpagi ey'amalaalo ga Laakeeri ne leero.#1 Sam 10:2 21Isiraeri ne yeyongerayo mu lugendo lwe, n'asimba eweema ye ng'ayisizza omunaala gwa Ederi.
Batabani ba Yakobo
(1 Byom 2:1-2)
22Awo olwatuuka, Isiraeri bwe yali ng'atudde mu nsi eyo, Lewubeeni n'agenda n'asula ne Bira omuzaana wa kitaawe; Isiraeri n'akimanya.#Lub 49:4, 1 Byom 5:1
Batabani ba Yakobo baali kkumi na babiri. 23Abaana ba Leeya be bano: Lewubeeni, omubereberye wa Yakobo, Simyoni, Leevi, Yuda, Isakaali, ne Zebbulooni.#Lub 29:31—30:24; 35:17,18, Kuv 1:2-4 24Abaana ba Laakeeri: Yusufu ne Benyamini. 25Abaana ba Bira, omuzaana wa Laakeeri: Ddaani ne Nafutaali. 26Abaana ba Zirupa, omuzaana wa Leeya: Gaadi ne Aseri. Abo be batabani ba Yakobo, abaamuzaalirwa e Padanalaamu.
Okufa kwa Isaaka
27Yakobo n'ajja eri Isaaka kitaawe e Mamule, mu Kiriasualaba, ye Kebbulooni, Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga.#Lub 13:18, Yos 14:15 28Isaaka yawangaala emyaka kikumi mu kinaana (180). 29Isaaka n'afa nga akaddiye nnyo, n'atwalibwa eri bajjajjaabe. Abaana be Esawu ne Yakobo ne bamuziika.#Lub 25:9; 49:31

Currently Selected:

Olubereberye 35: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in