Olubereberye 36
36
Abaana ba Esawu
(1 Byom 1:34-37)
1Kuno kwe kuzaala kwa Esawu, ayitibwa Edomu.#Lub 25:30 2Esawu yawasa ku bawala b'Abakanani: Ada muwala wa Eroni Omukiiti, Okolibama muwala wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni Omukiivi;#Lub 26:34 3ne Basimansi omuwala wa Isimaeri, mwannyina Nebayoosi.#Lub 28:9 4Ada n'azaala Erifaazi; Basimansi n'azaala Leweri;#1 Byom 1:35 5ne Okolibama n'azaala Yewusi, Yalamu, ne Koola. Abo be batabani ba Esawu, abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanani. 6Esawu n'addira bakazi be ne batabani be ne bawala be n'abantu bonna abaali mu nnyumba ye, n'ebisolo bye byonna, n'ebintu bye byonna bye yafunira mu nsi ya Kanani; n'agenda mu nsi endala, n'abeera wala ne muganda we Yakobo. 7Kubanga ebintu byabwe byali bingi nnyo nga tebayinza kubeera wamu. Ensi mwe baabeeranga yali tekyayinza kubamala olw'amagana amangi ge baalina.#Lub 13:6; 17:8 8Esawu, ye Edomu, n'atuula ku lusozi Seyiri.#Lub 32:4 9N'olulyo lwa Esawu jjajja wa Abaedomu abaali ku lusozi Seyiri lwe luno: 10batabani ba Esawu amannya gaabwe ge gano: Erifaazi omwana wa Ada mukazi wa Esawu, Leweri omwana wa Basimansi mukazi wa Esawu.#Lub 36:4 11Ne batabani ba Erifaazi be bano: Temani, Omali, Zefo, Gatamu ne Kenazi.#1 Byom 1:36,37 12Erifaazi mutabani wa Esawu yalina omuzaana ayitibwa Timuna, eyamuzaalira Amaleki. Abo be baana ba Ada omukazi wa Esawu.#Kubal 24:20, Ma 25:17-19, 1 Sam 15:2,3 13N'abaana ba Leweri baabano: Nakasi, Zeera, Samma, ne Mizza. Abo be baali abaana ba Basimansi omukazi wa Esawu. 14N'abaana ba Okolibama omwana wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni, mukazi wa Esawu, be bano: Yewusi, Yalamu, ne Koola. 15Bino bye bika ebisibuka mu baana ba Esawu. Okuva mu Erifaazi omubereberye wa Esawu: ekika kya Temani, ekya Omali, ekya Zefo, ekya Kenazi. 16Ekya Koola, ekya Gatamu n'eky'Amaleki. Ebyo bye bika ebyava mu Erifaazi mu nsi ya Edomu, era be bazzukulu ba Ada. 17Okuva mu Leweri: ekika kya Nakasi, ekya Zeera, ekya Samma n'ekya Mizza. Ebyo bye bika ebyava mu Leweri mu nsi ya Edomu, era be bazzukulu ba Basimansi mukazi wa Esawu. 18Okolibama, mukazi wa Esawu, ye jjajja w'ebika bino: ekya Yewusi, ekya Yalamu, n'ekya Koola. Ebyo bye bika ebyava mu Okolibama muwala wa Ana, mukazi wa Esawu. 19Abo be baana ba Esawu, ayitibwa Edomu n'ebika byabwe.
Abaana ba Seyiri
20Abaana ba Seyiri Omukooli, abaatuulanga mu nsi ya Edomu be bano: Lotani, Sobali, Zibyoni, ne Ana.#Lub 14:16, Ma 2:12,22 21Disoni, Ezeri ne Disani. Ebyo bye bika ebyava mu Bakooli, era abaana ba Seyiri mu nsi ya Edomu. 22Abaana ba Lotani be bano: Koli ne Kemamu; mwannyina Lotani ye Timuna. 23Abaana ba Sobali be bano: Aluvani, Manakasi, Ebali, Sefo ne Onamu. 24Abaana ba Zibyoni be bano: Aya ne Ana. Ana oyo ye yazuula mu ddungu enzizi z'amazzi agookya, bwe yali ng'alunda endogoyi za Zibyoni kitaawe. 25Abaana ba Ana be bano: Disoni ne Okolibama omuwala.
26Abaana ba Disoni be bano: Kemudaani, Esubani, Isulani ne Kerani. 27Abaana ba Ezeri be bano: Birani, Zaavani ne Akani. 28Abaana ba Disani be bano: Uzi ne Alani. 29Ebika ebyava mu Bakooli bye bino: ekika kya Lotani, ekya Sobali, ekya Zibyoni, n'ekya Ana. 30Ekya Disoni, ekya Ezeri, n'ekya Disani. Ebyo bye bika ebyava mu Bakooli abaali batuula mu Seyiri.
Bassekabaka ba Edomu
31Bassekabaka abaafuga mu nsi ya Edomu nga tewannabaawo kabaka yenna afuga mu baana ba Isiraeri be bano:#1 Byom 1:43-50 32Bera mutabani wa Byoli n'afuga mu Edomu; n'ekibuga kye nga kiyitibwa Dinukaba. 33Bera n'afa, Yobabu mutabani wa Zeera ow'e Bozula n'alya obwakabaka mu kifo kye. 34Yobabu n'afa, Kusamu ow'ensi ya Abatemami n'alya obwakabaka mu kifo kye. 35Kusamu n'afa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyawangula Midiyaani mu nsi ya Mowaabu, n'alya obwakabaka mu kifo kye; n'ekibuga kye nga kiyitibwa Avisi. 36Kadadi n'afa, Samula ow'e Masuleka n'alya obwakabaka mu kifo kye. 37Samula n'afa, Sawuli ow'e Lekobosi ekiriraana n'omugga n'alya obwakabaka mu kifo kye. 38Sawuli n'afa, Baalukanani omwana wa Akubooli n'alya obwakabaka mu kifo kye. 39Baalukanani mutabani wa Akubooli n'afa, Kadali n'alya obwakabaka mu kifo kye: n'ekibuga kye nga kiyitibwa Pawu. Erinnya lya mukazi we ye Meketaberi, muwala wa Matuledi, muzzukulu wa Mezakabu. 40Ebika ebyava mu Esawu bye bino: ekika kya Timuna, ekya Aluva, n'ekya Yasesi.#1 Byom 1:51-54 41Ekya Okolibama, ekya Era, n'ekya Pinoni. 42Ekya Kenazi, ekya Temani, n'ekya Mibuzali. 43Ekya Magudyeri, n'ekya Iramu. Ebyo bye bika ebya Edomu nga bwe byatuulanga mu nsi ey'obutaka bwabwe. Oyo ye Esawu jjajja wa Abaedomu.
Currently Selected:
Olubereberye 36: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.