Olubereberye 6
6
Obwonoonefu bw'Abantu
1Awo abantu bwe beeyongera obungi ku nsi, nga bazadde n'abaana ab'obuwala, 2abaana ba Katonda ne balaba abawala b'abantu nga balungi; ne bawasanga mu bo bonna be baayagala. 3Mukama n'ayogera nti, “Omwoyo gwange teguuwakanenga na muntu emirembe n'emirembe, kubanga naye gwe mubiri, naye anaawangaalanga emyaka egitasukka kikumi mu abiri (120). ”#Zab 78:39, 1 Peet 3:19,20 4Mu biro ebyo, waaliwo Abanefiri mu nsi, abaazaalibwa abaana ba Katonda mu bawala b'abantu, abo be bantu ab'amaanyi era abaayatiikirira mu mirembe egy'edda. 5Mukama n'alaba obubi bw'omuntu nga bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw'ebirowoozo eby'omu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo.#Lub 8:21, Zab 14:2,3; 51:5, Nge 6:18, Yer 17:19, Mat 15:9, Bar 3:23 6Mukama ne yejjusa kubanga yakola omuntu mu nsi, n'anakuwala mu mutima gwe.#2 Sam 24:16, Is 63:10, Bef 4:30 7Mukama n'ayogera nti, “Ndisangula omuntu gwe nnatonda, okuva mu nsi; okusookera ku muntu, n'ensolo, n'eky'ewalula n'ekibuuka waggulu; nejjusizza kubanga nabikola.” 8Naye Nuuwa n'alaba ekisa mu maaso ga Mukama.#Lub 19:19, Kuv 33:12
Abantu abaasibuka mu Nuuwa (6:9—9:29)
9Gino gy'emirembe gya Nuuwa. Nuuwa yali mutuukirivu, nga talina kabi mu mirembe gye; Nuuwa n'atambulira wamu ne Katonda.#Lub 5:22 10Nuuwa yalina abaana basatu: Seemu, Kaamu, ne Yafeesi. 11Ensi n'eyonooneka mu maaso ga Katonda, ensi n'ejjula eddalu. 12Katonda n'alaba ensi, ng'eyonoonese; kubanga ekirina omubiri kyonna kyali nga kimaze okwonoona ekkubo lyakyo ku nsi.#Zab 14:2,3 13Katonda n'agamba Nuuwa nti, “Maliridde okusaanyawo buli ekirina omubiri, kubanga nsi ejjudde obwonoonefu bwabyo, n'olw'ekyo nja kubizikiririza wamu n'ensi.#Ez 7:2,3,6, Am 8:2 14Weekolere eryato mu muti ogwa goferi; olisalemu ebisenge, olisiige envumbo munda ne kungulu. 15Likole nga lya mikono bisatu (300) obuwanvu, emikono ataano (50) obugazi, n'emikono asatu (30) obugulumivu. 16Likole nga lya myaliiro esatu, oteekeko eddirisa, ng'oleseeyo omukono gumu okuva waggulu waalyo, era oliteekeko omulyango mu mbiriizi zaalyo. 17Laba, ndireeta amataba ku nsi, okuzikiriza buli ekirina omubiri kyonna ekirimu omukka ogw'obulamu wansi w'eggulu; buli ekiri mu nsi kirifa.#Lub 7:4, 2 Peet 2:5 18Naye ndiragaana endagaano yange naawe; oliyingira mu lyato, ggwe, n'abaana bo, ne mukazi wo, n'abakazi b'abaana bo. 19Oliyingiza mu lyato ku buli kiramu ekirina omubiri, bibiri bibiri, ekisajja n'ekikazi, mu ngeri yaabyo, biryoke biwonere wamu naawe. 20Oliyingiza buli ngeri y'ebibuuka, ensolo n'ebyewalula, bibiri bibiri bireme okufa. 21Naawe weetwalire emmere yonna eriibwa abantu, n'ey'ebitonde ebirala byonna ebirina obulamu ebiri naawe.” 22Nuuwa n'akola byonna Katonda bye yamulagira okukola.#Kuv 40:16, Beb 11:7
Currently Selected:
Olubereberye 6: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.