EKY'ABALEEVI 18
18
Amateeka ku by'obufumbo
1Mukama n'agamba Musa nti: 2“Yogera n'Abayisirayeli obagambe nti Nze Mukama, Katonda wammwe. 3Temuugobererenga mpisa za bantu b'e Misiri gye mwabeeranga, wadde ez'abantu b'omu nsi y'e Kanaani, gye mbatwalamu. Temuutambulirenga ku mateeka gaabwe. 4Muwulirenga amateeka gange, era mukolenga bye mbalagira. Nze Mukama Katonda wammwe. 5Mugobererenga amateeka n'ebiragiro bye mbawa. Anaabituukirizanga, anaabanga mulamu. Nze Mukama.#Laba ne Neh 9:29; Ezek 18:9; 20:11-13; Luk 10:28; Bar 10:5; Bag 3:12
6“Tewaabenga ku mmwe asemberera wa buko yenna okwebaka naye. 7Toswazanga kitaawo nga weebaka ne nnyoko. Nnyoko teweebakanga naye. 8Toswazanga kitaawo ng'obaako n'omu ku bakazi be abalala gwe weebaka naye.#Laba ne Leev 20:11; Ma 22:30; 27:20 9Teweebakanga na mwannyoko, omwana wa kitaawo, oba owa nnyoko, k'abe nga yakulira wamu naawe awaka, oba nga yakulira walala.#Laba ne Leev 20:17; Ma 27:22 10Teweebakanga na mwana wa mutabani wo, oba owa muwala wo, kubanga ekyo kikuswaza. 11Teweebakanga na muwala wa kitaawo bwe mutagatta nnyammwe, kubanga naye mwannyoko. 12Teweebakanga na ssenga wo, kubanga mwannyina kitaawo.#Laba ne Leev 20:19-20 13Teweebakanga na nnyoko omuto, kubanga muganda wa nnyoko. 14Teweebakanga na muka kitaawo omuto. Oyo naye aba nnyoko. 15Teweebakanga na muka mwana wo,#Laba ne Leev 20:12 16era teweebakanga na muka muganda wo.#Laba ne Leev 20:21 17Teweebakanga na mukazi, n'ogattako muwala we, oba muwala wa mutabani we, oba owa muwala we. Ekyo kivve, kubanga abo ba buko.#Laba ne Leev 20:14; Ma 27:23 18Totwalanga muganda wa mukazi wo kumufuula muggya we, ne weebaka naye, nga mukazi wo akyali mulamu.
19“Teweebakanga na mukazi mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, kubanga abalibwa obutaba mulongoofu.#Laba ne Leev 20:18 20Teweebakanga na muka musajja. Ekyo kikufuula atali mulongoofu.#Laba ne Leev 20:10 21Towangayo n'omu ku baana bo kuwongerwa lubaale Moleki#18:21 Lubaale Moleki: Ayogerwako wano mu mateeka agakwatagana n'obufumbo, kubanga mu mikolo gy'okusinza lubaale oyo, mwabangamu ebikwatagana n'obwenzi. Kirabika nga ne mu 19:29 era bye byogerwako., n'ovumaganya erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama.#Laba ne Leev 20:1-5 22Teweebakenga na musajja munno nga bwe beebaka n'abakazi. Ekyo kyenyinyalwa.#Laba ne Leev 20:13 23Omusajja oba omukazi teyeebakenga na nsolo. Obugwenyufu obwo bumufuula atali mulongoofu.#Laba ne Kuv 22:19; Leev 20:15-16; Ma 27:21
24“Temweyonoonanga nga mubaako n'ekimu ku ebyo kye mukola. Ebyo byonna bye byayonoona ab'amawanga ge ngoba mu nsi eno okuleetamu mmwe. 25Ebikolwa byabwe byayonoona ensi eno, kyenva ngibonereza n'eggweeramu ddala abantu abaagirimu. 26-27Baakola ebyenyinyalwa ebyo byonna, ne boonoona ensi. Naye mmwe temuubikolenga. Mwenna Abayisirayeli n'abagwira ababeera mu mmwe, mukuumenga amateeka n'ebiragiro byange, 28muleme kugobwa mu nsi eno, ng'abantu abaasooka mmwe okugibeeramu bwe baagyonoona ne bagobwamu. 29Buli anaabangako ky'akola ku byenyinyalwa ebyo, anaabanga takyabalirwa mu bantu bange.
30“Kale mukuumenga bye mbakuutira, mulemenga kugoberera mpisa ezo ezeenyinyalwa, ezaagobererwanga abo abaasooka mmwe okubeera mu nsi eno, era mulemenga kweyonoona nga mukola ebyo. Nze Mukama Katonda wammwe.”
Currently Selected:
EKY'ABALEEVI 18: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.