EKY'ABALEEVI 24
24
Okulabiriranga ettaala
(Laba ne Kuv 27:20-21)
1Mukama n'agamba Musa nti: 2“Lagira Abayisirayeli bakuleetere omuzigo omulungi oguggyiddwa mu mizayiti emisekule, ogw'okuteeka mu ttaala y'omu Weema ey'okunsisinkanirangamu, eyakenga obutazikira. 3Buli kawungeezi, Arooni anaagikoleezanga, n'agireka n'eyaka obutazikira, okutuusa enkeera ku makya, awo mu maaso ga Mukama, ebweru w'olutimbe oluli mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, mu Kifo Ekitukuvu ennyo. Etteeka lino linaakuumibwanga ennaku zonna. 4Arooni anaalabiriranga ettaala eyo ku kikondo kyayo ekya zaabu omulongoose, eyakenga mu maaso ga Mukama, obutazikira.
Emigaati egiweereddwayo eri Katonda
5“Munaddiranga obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, kilo kkumi na bbiri, ne mufumbamu emigaati kkumi n'ebiri.#Laba ne Kuv 25:30 6Munaagiteekanga mu mbu bbiri, ku buli lubu emigaati mukaaga, mu maaso ga Mukama, ku mmeeza ebikkiddwako zaabu omulongoose. 7Era munaateekanga obubaane obulungi ku buli lubu, nga ke kabonero ak'ekitone eky'ebyokulya, ekiweebwayo eri Mukama ekyokebwa, mu kifo ky'emigaati. 8Buli Sabbaato obutayosa, Arooni anaateekanga emigaati egyo mu maaso ga Mukama ku lw'Abayisirayeli, nga ye ndagaano ey'olubeerera. 9Emigaati egyo ginaabanga gya Arooni ne batabani be, era banaagiriiranga mu Kifo Ekitukuvu, kubanga ekyo kye kitundu ekitukuvu ennyo eky'ebyokulya ebitonebwa eri Mukama.”#Laba ne Mat 12:4; Mak 2:26; Luk 6:4
Omusajja eyakubibwa amayinja
10-11Awo olwatuuka, ne wabaawo omusajja, nga kitaawe Mumisiri, kyokka nga nnyina Muyisirayeli, ayitibwa Selomiti, muwala wa Diburi, ow'omu kika kya Daani. Omusajja oyo, n'afuna enkaayana n'omusajja Omuyisirayeli nga bali mu lusiisira, n'avuma Erinnya lya Mukama, n'akolima. Ne bamuleeta eri Musa. 12Ne bamukuuma nga balinda Mukama abategeeze eky'okumukolera.
13Mukama n'agamba Musa nti: 14“Oyo akolimye, mumutwale ebweru w'olusiisira. N'abo bonna abaamuwulidde, bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe, okukakasa nti yakolimye, ekibiina kyonna kimukube amayinja afe. 15Era tegeeza Abayisirayeli nti buli anaakolimiranga Katonda we, anaavunaanibwanga olw'ekibi kye. 16N'oyo anaavumanga erinnya lya Mukama, ekibiina kinaamukubanga amayinja n'afa.
17“Oyo anattanga omuntu, naye anattibwanga.#Laba ne Kuv 21:12 18N'oyo anattanga ensolo eteri yiye, anaagiriwangamu endala. Obulamu busasulwa bulamu.
19“Omuntu bw'atuusangako muntu munne ebisago, naye bye binaamutuusibwangako. 20Amenya munne eggumba, n'erirye linaamenyebwanga. Eriiso linaasasulwanga liiso, n'erinnyo linaasasulwanga linnyo. Ebisago omuntu by'anaatuusanga ku mulala, naye bye binaamutuusibwangako.#Laba ne Kuv 21:23-25; Ma 19:21; Mat 5:38 21Anattanga ensolo, anaagiriwangamu endala. Oyo atta omuntu, naye anattibwanga. 22Etteeka lino linaabatwalirangamu mwenna, Abayisirayeli n'abagwira abali mu mmwe, kubanga nze Mukama Katonda wammwe.”#Laba ne Kubal 15:16
23Awo Abayisirayeli, Musa bwe yamala okubategeeza ebyo, oyo eyakolima ne bamutwala ebweru w'olusiisira, ne bamukuba amayinja n'afa. Bwe batyo Abayisirayeli ne bakola nga Mukama bwe yagamba Musa.
Currently Selected:
EKY'ABALEEVI 24: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.