EKY'ABALEEVI 8
8
Okwawulibwa kw'Arooni ne batabani be
(Laba ne Kuv 29:1-37)
1Mukama n'agamba Musa nti: 2“Twala Arooni ne batabani be, otwale n'ebyambalo n'omuzigo ogusiigibwa, n'ente ey'ekitone eky'okuwaayo olw'ekibi, n'endiga ennume bbiri, n'ekibbo ekirimu emigaati egitazimbulukusiddwa, 3okuŋŋaanyize ekibiina kyonna ku mulyango gw'Eweema ey'okunsisinkanirangamu.”
4Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira. Ekibiina ky'abantu ne kikuŋŋaanira ku mulyango gwa Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama. 5Musa n'agamba ekibiina ky'abantu nti: “Ekigenda okukolebwa ky'ekyo Mukama ky'alagidde.”
6Musa n'aleeta Arooni ne batabani be, n'akola omukolo ogw'okubanaaza n'amazzi. 7N'ayambaza Arooni essaati n'ekkanzu, n'amusiba olukoba mu kiwato, n'amwambaza n'omunagiro, n'agusiba n'olukoba olwalukibwa obulungi, n'agunyweza mu kiwato kye. 8N'amwambaza ekyambalo eky'oku kifuba, n'akiteekamu ebiyitibwa Wurimu ne Tummimu. 9N'amusiba ekiremba ku mutwe, era awo mu maaso gaakyo n'akisibako akapande aka zaabu, ye ngule entukuvu, nga Mukama bwe yamulagira.
10Awo Musa n'addira omuzigo ogusiigibwa, n'agusiiga ku Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, ne ku bintu byonna ebigirimu, n'abitukuza okubyawulira Mukama. 11N'atoola ku muzigo, n'agumansira emirundi musanvu ku alutaari ne ku bintu byayo byonna, ne ku bbenseni ne ku kikondo kyayo, okubitukuza okubyawulira Mukama. 12N'ayawula Arooni ng'amufukako omuzigo ku mutwe. 13Awo Musa n'aleeta batabani ba Arooni, n'abambaza amasaati, n'abasiba enkoba mu biwato, era n'ebiremba ku mitwe, nga Mukama bwe yamulagira.
14N'aleeta ente ey'okuwaayo olw'ekibi, Arooni ne batabani be ne bateeka ebibatu byabwe ku mutwe gwayo. 15Musa n'agitta, n'atoola ku musaayi, n'agusiigisa engalo ye ku mayembe g'alutaari ku njuyi zaayo zonna okugyawulira Mukama. Omusaayi gwonna ogusigaddewo, n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari. Bw'atyo n'agyawulira Mukama era n'addaabiriza ku lwayo. 16Musa n'addira amasavu gonna agali ku byenda, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'abyokera byonna ku alutaari. 17Ente yonna esigaddewo: eddiba, n'ennyama, n'ebyenda, n'abyokya omuliro wabweru w'olusiisira, nga Mukama bwe yamulagira.
18Awo Musa n'aleeta endiga ennume ey'ekitone ekiweebwayo ekyokebwa. Arooni ne batabani ne ne bateeka ebibatu byabwe ku mutwe gwayo. 19Musa n'agitta, n'amansira omusaayi ku njuyi zonna ez'alutaari. 20-21N'asala mu ndiga ebitundu, n'ayoza n'amazzi ebyenda n'amagulu, n'ayokera omutwe n'amasavu n'ebitundu byonna eby'endiga ku alutaari, nga Mukama bwe yamulagira. Kino kye kitone ekiweebwayo eri Mukama ekyokebwa, ekiwunyira obulungi Mukama.
22Awo Musa n'aleeta endiga ennume eyookubiri, olw'okwawulibwa kwa bakabona. Arooni ne batabani be ne bateeka ebibatu byabwe ku mutwe gwayo. 23Musa n'agitta, n'addira ku musaayi, n'agusiiga ku nsonda y'okutu kwa Arooni okwa ddyo, ne ku kinkumu ky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kyalakisajja eky'ekigere kye ekya ddyo. 24N'aleeta batabani ba Arooni, n'asiiga omusaayi ogumu ku nsonda z'amatu gaabwe aga ddyo, ku binkumu by'emikono gyabwe egya ddyo, ne ku byalabisajja eby'ebigere byabwe ebya ddyo. Omusaayi ogwasigalawo n'agumansira ku njuyi zonna ez'alutaari. 25N'addira amasavu, n'omukira ogwassava, n'amasavu gonna ag'oku byenda, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekisambi ekya ddyo, 26n'atoola n'omugaati gumu mu kibbo eky'emigaati egitazimbulukusiddwa, egiweebwayo eri Mukama, n'omugaati gumu ogutabuddwamu omuzigo, n'ogw'oluwewere gumu, n'agiteeka ku masavu ne ku kisambi ekya ddyo. 27Byonna n'abikwasa Arooni ne batabani be, ne babiwuuba, ne biba ekiweebwayo nga kiwuubibwa mu maaso ga Mukama. 28Musa n'abiggya mu ngalo zaabwe, n'abyokera ku alutaari, ku kiweebwayo ekyokebwa, ekiweereddwayo olw'omukolo ogw'okwawula. Kino kye kiweebwayo ekyokebwa, ekiwunyira obulungi Mukama. 29Musa n'akwata ekifuba, n'akiwuuba, kibe ekiweebwayo nga kiwuubibwa mu maaso ga Mukama. Ogwo gwe gwali omugabo gwa Musa ku ndiga ey'omukolo ogw'okwawula, nga Mukama bwe yalagira Musa.
30Musa n'atoola ku muzigo ogusiigibwa, ne ku musaayi ogwali ku alutaari, n'abimansira ku Arooni ne ku byambalo bye, era ne ku batabani be ne ku byambalo byabwe. Bw'atyo n'ayawulira Mukama Arooni ne batabani be, era n'ebyambalo byabwe.
31Musa n'agamba Arooni ne batabani be nti: “Mutwale ennyama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, mugifumbe era mugiriire eyo, n'emigaati egiri mu kibbo eky'ebitone eby'omukolo ogw'okwawula, nga Mukama bwe yandagira nti Arooni ne batabani be bagiryanga. 32Era ekisigalawo ku nnyama ne ku migaati, munaakyokya n'omuliro. 33Temujja kuva ku mulyango gwa Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, okumala ennaku musanvu, okutuusa emikolo egy'okwawulibwa kwammwe lwe girimalirizibwa. 34Mukama yatulagira okukola ebyo bye tukoze olwaleero, olw'okuggyawo ebibi byammwe. 35Muteekwa okusigala ekiro n'emisana ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, okumala ennaku musanvu, okutuukiriza ekiragiro kya Mukama, muleme kufa, kubanga bw'atyo Mukama bwe yandagira.”
36Awo Arooni ne batabani be ne bakola byonna Mukama bye yalagira ng'ayita mu Musa.
Currently Selected:
EKY'ABALEEVI 8: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.