EKY'ABALEEVI 9
9
Arooni awaayo ebitambiro
1Ku lunaku olwaddako ng'emikolo egy'okwawula giwedde, Musa n'ayita Arooni ne batabani be n'abakulembeze ba Yisirayeli, 2n'agamba Arooni nti: “Twala ente ennume ento, n'endiga ennume, zombi ezitaliiko kamogo, oziweeyo eri Mukama, ente ennume ebe ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume ebe ekiweebwayo ekyokebwa. 3Awo ogambe Abayisirayeli, batwale embuzi ennume, ebe ekiweebwayo olw'ekibi, n'ennyana ey'omwaka ogumu, n'omwana gw'endiga ogw'omwaka ogumu, zombi ezitaliiko kamogo, zibe ekiweebwayo ekyokebwa, 4n'ente n'endiga ennume zibe ekiweebwayo olw'okutabagana, babitambire mu maaso ga Mukama, awamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, ekitabuddwamu omuzigo. Bakole bwe batyo, kubanga Mukama anaabalabikira olwaleero.”
5Ebyo byonna Musa by'alagidde, ne babireeta mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Ekibiina kyonna ne kisembera, ne kiyimirira mu maaso ga Mukama. 6Musa n'agamba nti: “Mukama abalagidde okukola kino, era ekitiibwa kye kinaabalabikira.” 7Awo n'agamba Arooni nti: “Sembera kumpi n'alutaari, oweeyo ekitone ekiweebwayo olw'ekibi, oddaabirize ku lulwo ne ku lw'abantu. Waayo ekitone eky'abantu, oddaabirize ku lwabwe, nga Mukama bwe yalagira.”#Laba ne Beb 7:27
8Awo Arooni n'asembera okumpi n'alutaari, n'atta ente ennume ento, nga kye kitone ekiweebwayo olw'ebibi ebibye. 9Batabani be ne bamuleetera omusaayi, n'annyikamu engalo ye, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari, ogusigaddewo n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari. 10N'alyoka ayokera ku alutaari, amasavu, n'ensigo, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, nga Mukama bwe yalagira Musa. 11Kyokka ennyama n'eddiba, n'abyokera wabweru w'olusiisira.
12N'atta ensolo ey'ekitone ekiweebwayo ekyokebwa. Batabani be ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku njuyi zonna ez'alutaari. 13Ne bamuleetera omutwe n'ebitundu ebirala eby'ensolo eyo, n'abyokera ku alutaari. 14N'ayoza ebyenda n'amagulu, n'abyokera ku alutaari, ku bitundu ebirala eby'ekitone ekiweebwayo ekyokebwa.
15Bwe yamala ebyo, n'aleeta ebitone eby'abantu. N'addira embuzi ey'okuwaayo olw'ebibi by'abantu. N'agitta, n'agiwaayo, nga bwe yakola ng'awaayo olw'ebibi bye. 16Era n'aleeta ensolo ey'ekitone ekiweebwayo ekyokebwa, n'agiwaayo ng'ekiragiro bwe kyali. 17N'aleeta ekitone ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'atoolako olubatu lw'obuwunga, n'abwokera ku alutaari, ng'abwongera ku kitone ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku. 18N'atta ente n'endiga ennume, ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana, kye yawaayo olw'abantu. Batabani be ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku njuyi zonna ez'alutaari.#Laba ne Leev 3:1-11 19Amasavu n'ensigo n'ebitundu ebisinga obulungi eby'ekibumba eby'ente n'endiga ennume, 20n'abiteeka ku bifuba eby'ensolo ezo, byonna n'abitwala ku alutaari. N'ayokera amasavu ku alutaari. 21N'awaayo eri Mukama ebifuba n'amagulu aga ddyo, ng'abiwuuba, ne biba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama, ebiba ebya bakabona, nga Musa bwe yalagira.
22Arooni bwe yamala okuwaayo ebitambiro ebyo: ekiweebwayo olw'ekibi, n'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo olw'okutabagana, n'ayimusa emikono gye eri abantu, n'abasabira omukisa. N'akka wansi.#Laba ne Kubal 6:22-26 23Musa ne Arooni ne bayingira mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Bwe baafuluma, ne basabira abantu omukisa, ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira abantu bonna. 24Amangwago Mukama n'asindika omuliro, ne gwokera ku alutaari ekiweebwayo ekyokebwa era n'amasavu. Abantu bwe baagulaba, bonna ne baleekaana, ne bavuunama amaaso gaabwe ku ttaka.
Currently Selected:
EKY'ABALEEVI 9: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.