YOWANNE 13
13
1Lwali lunaku olukulembera Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Yesu yamanya ng'ekiseera kye kituuse ave mu nsi muno, agende eri Kitaawe. Yayagala ababe abaali mu nsi, era yabaagala okutuusiza ddala ku nkomerero.
2Baali balya kyaggulo. Sitaani yali yamaze dda okuteeka mu mutima gwa Yuda omwana wa Simooni Yisikaryoti, ekirowoozo eky'okulyamu Yesu olukwe.#13:2 Oba “Sitaani yali yamaliridde dda nti Yuda, omwana wa Simooni Yisikariyoti, ajja kulyamu Yesu olukwe.” 3Yesu yamanya nga Kitaawe amuwadde obuyinza obujjuvu. Era yamanya nga yava wa Katonda, ate ng'adda wa Katonda.
4Awo n'ava we yali atudde ng'alya, ne yeeggyako omunagiro gwe, n'akwata ekiremba, ne yeesiba ekimyu. 5N'ateeka amazzi mu bbenseni, n'atandika okunaaza abayigirizwa ebigere, n'okubisiimuuza ekiremba kye yali yeesibye. 6Awo n'atuuka ku Simooni Peetero, Peetero n'amugamba nti: “Mukama wange, ggwe onaaza nze ebigere?”
7Yesu n'amuddamu nti: “Kye nkola, ggwe kaakano tokitegeera, naye olikitegeera oluvannyuma.”
8Peetero n'amugamba nti: “Tolinnaaza bigere mulundi na gumu!” Yesu n'amuddamu nti: “Bwe siikunaaze bigere, nga tossa kimu nange.”
9Simooni Peetero n'amugamba nti: “Mukama wange, tonnaaza bigere byokka, naye n'emikono n'omutwe!” 10Yesu n'amugamba nti: “Anaabye omubiri, aba mulongoofu yenna, era teyeetaaga kunaaba, okuggyako okunaaba ebigere. Nammwe muli balongoofu, naye si mwenna.” 11Kyeyava agamba nti: “Muli balongoofu, naye si mwenna,” kubanga yamanya oyo eyali agenda okumulyamu olukwe.
12Yesu bwe yamala okubanaaza ebigere, ne yezzaako omunagiro gwe, n'addayo n'atuula, n'abagamba nti: “Kye mbakoze mukitegedde?#Laba ne Luk 22:27 13Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe. Mwogera kituufu, kubanga ddala bwe ndi. 14Kale oba nga nze Mukama wammwe, era Omuyigiriza wammwe mbanaazizza ebigere, nammwe kibagwanidde buli omu okunaazanga munne ebigere, 15kubanga mbawadde ekyokulabirako. Nga bwe nkoze ku mmwe, nammwe bwe mubanga mukola. 16Mazima ddala mbagamba nti omuddu takira mukama we, n'omutume tasinga yamutuma.#Laba ne Mat 10:24; Luk 6:40; Yow 15:20 17Oba nga ebyo mubimanyi, muli ba mukisa bwe mubituukiriza.
18“Soogera ku mmwe mwenna. Nze mmanyi be nalondamu. Naye ekyawandiikibwa kiteekwa okutuukirira nti: ‘Alya ku mmere yange, anneefuukidde.’#Laba ne Zab 41:9 19Kino nkibabuulira kaakano nga tekinnabaawo, bwe kinaamala okubaawo, mulyoke mukkirize nti Ye Nze. 20Mazima ddala mbagamba nti ayaniriza buli gwe ntuma, aba ayanirizza nze, ate ayaniriza nze, aba ayanirizza oli eyantuma.”#Laba ne Mat 10:40; Mak 9:37; Luk 9:48; 10:16
Yesu alanga nti anaaliibwamu olukwe
(Laba ne Mat 26:20-25; Mak 14:17-21; Luk 22:21-23)
21Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'anyolwa mu mwoyo, n'ayatula, n'agamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe.”
22Abayigirizwa ne batunulaganako, nga tebamanyi gw'ayogerako. 23Omu ku bayigirizwa, Yesu gwe yayagalanga, yali agalamidde ng'aliraanye ekifuba kya Yesu. 24Simooni Peetero n'amuwenya, n'amugamba nti: “Tubuulire gw'ayogerako.”
25Ye bwe yaddayo okugalamira ng'aliraanye ekifuba kya Yesu, n'amubuuza nti: “Mukama wange, gw'oyogerako ye ani?”
26Yesu n'addamu nti: “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa, nga ye wuuyo.” Awo n'akwata ekitole, n'akikoza, n'akiwa Yuda, omwana wa Simooni Yisikaryoti. 27Yuda bwe yamala okufuna ekitole ekyo, Sitaani n'amuyingiramu. Awo Yesu n'amugamba nti: “Ky'okola, kikole mangu!” 28Ku baali balya, tewali n'omu yategeera kyeyava amugamba bw'atyo. 29Abamu baalowooza nti nga Yuda bwe yali atereka ensawo, Yesu amugambye nti: “Genda ogule bye twetaaga ku Mbaga”, oba nti: “Baako ky'ogabira abaavu.”
30Yuda bwe yamala okufuna ekitole, amangwago n'afuluma ebweru. Obudde bwali bwa kiro.
Ekiragiro ekiggya
31Yuda bwe yamala okufuluma, Yesu n'agamba nti: “Kaakano Omwana w'Omuntu agulumiziddwa, ne Katonda agulumiziddwa mu ye. 32Era oba nga Katonda agulumiziddwa mu ye, ne Katonda anaagulumiza Omwana w'Omuntu mu ye yennyini, era anaamugulumiza amangwago. 33Baana bange, akaseera katono ke nkyali awamu nammwe. Mulinnoonya, naye nga bwe nagamba Abayudaaya nti: ‘Nze gye ŋŋenda, mmwe temuyinza kujjayo,’ era nammwe bwe mbagamba kaakano.#Laba ne Yow 7:34
34“Mbawa ekiragiro ekiggya, mwagalanenga. Nga nze bwe nabaagala mmwe, nammwe bwe muba mwagalananga.#Laba ne Yow 15:12,17; Yow 3:23; 2 Yow 5 35Bwe munaayagalananga, bonna kwe banaategeereranga, nga muli bayigirizwa bange.”
Yesu alanga nti Peetero anaamwegaana
(Laba ne Mat 26:31-35; Mak 14:27-31; Luk 22:31-34)
36Simooni Peetero n'amubuuza nti: “Mukama wange, ogenda wa?” Yesu n'addamu nti: “Gye ŋŋenda, toyinza kungoberera kaakano, naye olingoberera gye bujja.”
37Peetero n'amubuuza nti: “Mukama wange, lwaki siyinza kukugoberera kaakano? Nnaawaayo obulamu bwange ku lulwo.” 38Yesu n'addamu nti: “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Mazima ddala nkugamba nti enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”
Currently Selected:
YOWANNE 13: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.