YOWANNE 14
14
Yesu lye kkubo erituusa eri Kitaawe
1Yesu n'agamba nti: “Omutima gwammwe tegweraliikiriranga. Mukkirize Katonda, era nange munzikirize. 2Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi, era ŋŋenda okubategekera ekifo. Singa si bwe kiri, sandibagambye bwe ntyo. 3Bwe ndimala okugenda ne mbategekera ekifo, ndikomawo ne mbatwala gye ndi, nammwe mubeere eyo, nze gye mbeera. 4Era gye ŋŋenda, ekkubo mulimanyi.”
5Tomasi n'amugamba nti: “Mukama waffe, tetumanyi gy'ogenda. Tuyinza tutya okumanya ekkubo erigendayo?”
6Yesu n'amuddamu nti: “Nze kkubo, nze mazima, era nze bulamu. Tewali atuuka eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze. 7Singa nze mummanyi, ne Kitange mwandimumanye. Era okuva kati mumumanyi, era mumulabye.”
8Filipo n'amugamba nti: “Mukama waffe, tulage ku Kitaawo, kinaatumala.”
9Yesu n'amuddamu nti: “Kasookedde mbeera nammwe ebbanga lino lyonna, tontegeeranga, Filipo? Alabye ku nze, ng'alabye ku Kitange. Ate lwaki ogamba nti: ‘Tulage ku Kitaawo’? 10Tokkiriza nga nze ndi mu Kitange, era nga Kitange ali mu nze? Ebigambo bye mbagamba mmwe, sibyogera ku bwange. Kitange ali mu nze, ye akola yennyini.
11“Munzikirize nti nze ndi mu Kitange, era nti ne Kitange ali mu nze. Oba si ekyo, munzikirize olw'ebikolwa byennyini bye nkola. 12Mazima ddala mbagamba nti anzikiriza, alikola bye nkola, era alikola n'ebisingawo, kubanga nze ŋŋenda eri Kitange. 13Era buli kye munaasabanga mu linnya lyange, nnaakikolanga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. 14Bwe munaasabanga ekintu mu linnya lyange, nnaakikolanga.
Okusuubizibwa Mwoyo Mutuukirivu
15“Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange. 16Era ndisaba Kitange, n'abawa Omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n'emirembe. 17Oyo ye Mwoyo amanyisa abantu amazima, ensi gw'eteyinza kukkiriza kufuna, kubanga temulaba, era temumanyi. Mmwe mumumanyi, kubanga abeera nammwe, era anaabeeranga mu mmwe.
18“Siribaleka nga bamulekwa. Ndikomawo gye muli. 19Mu bbanga ttono, ensi eneeba tekyandaba, naye mmwe nga mundaba. Kubanga nze ndi mulamu, nammwe muliba balamu. 20Ku lunaku olwo mulitegeera nga nze ndi mu Kitange, era nga nammwe muli mu nze, ate nga nange ndi mu mmwe.
21“Awulira ebiragiro byange n'abikwata, oyo ye anjagala. Kitange anaayagalanga oyo anjagala, nange nnaamwagalanga, era nnaamulabikiranga.”
22Yuda, atali oli Yisikaryoti, n'amugamba nti: “Mukama waffe, ekyo kiri kitya, ggwe okulabikira ffe, n'otolabikira nsi?”
23Yesu n'amuddamu nti: “Buli anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange, era anaayagalibwanga Kitange. Tulijja gy'ali ne tubeera mu ye. 24Atanjagala, takwata bigambo byange. Ate ekigambo kye muwulira, si kyange, wabula kya Kitange eyantuma.
25“Ebyo mbibabuulidde nga nkyali nammwe. 26Naye Omubeezi, ye Mwoyo Mutuukirivu, Kitange gw'alituma mu linnya lyange, alibayigiriza byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba.
27“Mbalekera emirembe. Mbawa emirembe gyange. Sigibawadde ng'ensi bw'ewa. Temweraliikiriranga era temutyanga. 28Muwulidde bwe mbagambye nti ŋŋenda, era ndikomawo gye muli. Singa munjagala, mwandisanyuse nga ŋŋenda eri Kitange, kubanga Kitange ansinga ekitiibwa. 29Ekyo nkibabuulidde kaakano nga tekinnabaawo, bwe kiribaawo mulyoke mukkirize. 30Sikyayogedde bingi nammwe, kubanga omufuzi w'ensi eno ajja, kyokka tanninaako buyinza. 31Naye nkola nga Kitange bwe yandagira, ensi eryoke emanye nti Kitange mmwagala.
“Musituke, tuve wano.
Currently Selected:
YOWANNE 14: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.