1
Lukka 23:34
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
Awo Yesu n'agamba nti, “Kitange, basonyiwe; kubanga tebamanyi kye bakola.” Ne bagabana ebyambalo bye, nga bakuba akalulu.
Compara
Explorar Lukka 23:34
2
Lukka 23:43
Yesu n'amugamba nti, “Mazima nkugamba nti Leero onooba nange mu Lusuku lwa Katonda.”
Explorar Lukka 23:43
3
Lukka 23:42
N'agamba nti, “Yesu, onjijukiranga bw'olijjira mu kitiibwa ky'obwakabaka bwo.”
Explorar Lukka 23:42
4
Lukka 23:46
Awo Yesu n'ayogera n'eddoboozi ddene, n'agamba nti, “ Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” Bwe yamala okwogera ekyo, n'awaayo obulamu.
Explorar Lukka 23:46
5
Lukka 23:33
Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Kiwanga, ne bamukomerera awo, na bali abaakola obubi, omu ku mukono ggwe ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono.
Explorar Lukka 23:33
6
Lukka 23:44-45
Awo obudde bwali butuuse essaawa nga mukaaga, ne waba ekizikiza ku nsi yonna okutuusa ku ssaawa mwenda, enjuba yali teyaka: n'eggigi ery'omu Yeekaalu ne liyulikamu wakati.
Explorar Lukka 23:44-45
7
Lukka 23:47
Awo omwami omukulu w'ekitongole bwe yalaba ekibaddewo n'atendereza Katonda, ng'agamba nti, “ Mazima ono abadde muntu mutuukirivu.”
Explorar Lukka 23:47
Inici
La Bíblia
Plans
Vídeos