Lukka 23

23
Yesu mu maaso ga Piraato
(Mat 27:1-2,11-14, Mak 15:1-5, Yok 18:28-38)
1Ekibiina kyonna ne kisituka, ne kimutwala ewa Piraato.#Mat 27:2,11-31, Mak 15:1-20, Yok 18:28; 19:16 2Ne batandika okumuloopa nga bagamba nti, “Ono twamulaba ng'akyamya abantu b'eggwanga lyaffe, ng'abagaana okuwa Kayisaali omusolo, era nga ye yennyini yeeyita Kristo, kabaka.”#Luk 20:25 3Piraato n'amubuuza ng'agamba nti, “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu n'agamba nti, “ Kyekyo nga bwoyogedde.”#1 Tim 6:13 4Piraato n'agamba bakabona abakulu n'ebibiina nti “Siraba musango gwonna ku muntu ono.” 5Naye bo ne beeyongera okulumiriza nga bagamba nti, “Asasamaza abantu, ng'ayigiriza mu Buyudaaya bwonna, yasookera Ggaliraaya okutuuka ne wano.”
Yesu mu maaso ga Kerode
6Naye Piraato bwe yawulira ebyo, n'abuuza oba ng'omuntu oyo Mugaliraaya. 7Bwe yategeera nga wa mu matwale ga Kerode, n'amuweereza ewa Kerode, kubanga naye yali mu Yerusaalemi mu nnaku ezo.#Luk 3:1
8Awo Kerode bwe yalaba Yesu, n'asanyuka nnyo: kubanga okuva edda yayagalanga okumulaba kubanga yawulira ebigambo bye; n'asuubira okulaba ng'akola akabonero.#Luk 9:9 9N'abuuza Yesu ebibuuzo bingi, naye ye n'atamuddamu kigambo. 10Bakabona abakulu n'abawandiisi ne bayimirira, era ne banyweza nnyo bye bamuloopa. 11Awo Kerode n'abasserikale be ne bamunyooma, ne bamuduulira, ne bamwambaza ekyambalo ekinekaaneka ne bamuzzaayo ewa Piraato. 12Kerode ne Piraato ne balyoka batabagana ku lunaku olwo; kubanga olubereberye baali bakyawaganye.
Yesu asalirwa ogw'okufa
(Mat 27:15-26, Mak 15:6-15, Yok 18:39—19:16)
13Piraato n'ayita bakabona abakulu n'abakungu n'abantu, 14n'abagamba nti, “ Mundeetedde omuntu ono, nti yakyamya abantu; era, laba, nze bwe mmukemererezza mu maaso gammwe, sirabye nsonga ku muntu ono mu ebyo byonna bye mumuloopye; 15era, ne Kerode bwatyo, kubanga amuzzizza gyetuli, era, laba, omuntu ono tewali kigambo ky'akoze ekisaanidde okumussa. 16Kale bwe nnaamala okumubonereza, n'amuta.” 17Era Piraato kyamugwaniranga okubateeranga omusibe omu ku Mbaga. 18Naye bonna wamu ne bakaayana, nga bagamba nti, “Twala ono, otuteere Balaba,” 19Balaba oyo ye muntu gwe bassa mu kkomera olw'obujeemu obwali mu kibuga, n'olw'obussi. 20Piraato n'ayogera nabo nate, ng'ayagala okuta Yesu; 21naye bo ne boogerera waggulu nga bagamba nti, “Mukomerere, mukomerere.” 22Piraato n'abagamba omulundi ogwokusatu nti, “Lwaki, ono akoze kibi ki? Sirabye ku ye nsonga emussa: kale bwe nnaamala okumubonereza, n'amuta.” 23Naye bo ne bamuzitoowerera n'amaloboozi amanene, nga beegayirira okumukomerera. Amaloboozi gaabwe ne gasinga okukola. 24Piraato n'asalawo ekigambo kye beegayiridde kikolebwe. 25N'ata oyo eyasuulibwa mu kkomera olw'obujeemu n'obussi gwe bamwegayiridde; naye n'awaayo Yesu okumukola nga bwe baagadde.
Yesu akomererwa ku musalaba
(Mat 27:32-44, Mak 15:21-32, Yok 19:17-27)
26Awo abasserikale bwe baali nga batwala Yesu, ne bakwata Omukuleene Simooni, eyali ava mu kyalo, ne bamutikka omusalaba, okugwetikka ng'ava emabega wa Yesu.#Mat 27:32, Mak 15:21
27Ekibiina kinene ne kimugoberera eky'abantu n'eky'abakazi abagenda baamukaabira, era ne bamulirira. 28Naye Yesu n'abakyukira n'agamba nti, “Abawala ab'e Yerusaalemi, temukaabira nze, naye mwekaabire mwekka, n'abaana bammwe. 29Kubanga, laba, ennaku zijja, mwe baligambira nti Balina omukisa abagumba, n'embuto ezitazaala n'amabeere agatayonsa.#Luk 21:23 30Ne balyoka batandika okugamba ensozi nti Mutugweko; n'obusozi nti Mutuvuunikire.#Kos 10:8, Kub 6:16; 9:6 31Kubanga bwe bakola bino ku muti omubisi, ku mukalu kiriba kitya?” #1 Peet 4:17
32Era yatwalibwa n'abalala babiri, abaakola obubi, okuttibwa awamu naye.
33Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Kiwanga, ne bamukomerera awo, na bali abaakola obubi, omu ku mukono ggwe ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono.#Mat 27:33-56, Mak 15:22-41, Yok 19:17-30 34Awo Yesu n'agamba nti, “Kitange, basonyiwe; kubanga tebamanyi kye bakola.” Ne bagabana ebyambalo bye, nga bakuba akalulu.#Mat 5:44, Is 53:12, Zab 22:18 35Abantu ne bayimirira awo nga bamutunuulira. Abakungu nabo ne bamusekerera nga bagamba nti, “Yalokolanga balala; yeerokole yekka, oba ng'oyo ye Kristo wa Katonda, omulonde we.”#Zab 22:7 36Abasserikale nabo ne bajja w'ali, ne bamuduulira, nga bamuwa omwenge omukaatuufu,#Zab 69:21 37nga bagamba nti, “Oba nga ggwe Kabaka w'Abayudaaya, weerokole wekka.” 38Ne wabaawo n'ebbaluwa waggulu we nti, “ONO YE KABAKA w'Abayudaaya.”
39Omu ku abo abaakola obubi abaawanikibwa ku musalaba n'amuvuma ng'agamba nti, “Si ggwe Kristo? Weerokole wekka naffe otulokole.” 40Naye ow'okubiri n'addamu n'amunenya, n'agamba nti, “N'okutya totya Katonda, kubanga ggwe oli ku kibonerezo kye kimu naye? 41Era ffe twalangibwa nsonga; kubanga ebisaanidde bye twakola bye tusasulibbwa: naye ono takolanga kigambo kyonna ekitasaana.” 42N'agamba nti, “Yesu, onjijukiranga bw'olijjira mu kitiibwa ky'obwakabaka bwo.” #Mat 16:28 43Yesu n'amugamba nti, “Mazima nkugamba nti Leero onooba nange mu Lusuku lwa Katonda.”
Yesu afa
(Mat 27:45-56, Mak 15:33-41, Yok 19:28-30)
44Awo obudde bwali butuuse essaawa nga mukaaga, ne waba ekizikiza ku nsi yonna okutuusa ku ssaawa mwenda,#Am 8:9 45enjuba yali teyaka: n'eggigi ery'omu Yeekaalu ne liyulikamu wakati.#Kuv 36:35, Am 9:1 46Awo Yesu n'ayogera n'eddoboozi ddene, n'agamba nti, “ Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” Bwe yamala okwogera ekyo, n'awaayo obulamu.#Zab 31:5, Bik 7:59 47Awo omwami omukulu w'ekitongole bwe yalaba ekibaddewo n'atendereza Katonda, ng'agamba nti, “ Mazima ono abadde muntu mutuukirivu.” 48N'ebibiina byonna ebyali bikuŋŋaanye okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo ne baddayo ewaabwe nga beekuba mu bifuba. 49Ne mikwano gye gyonna, n'abakazi abaava naye e Ggaliraaya, ne bayimirira wala nga balaba ebyo.#Zab 38:11; 88:8, Luk 8:2
Yesu aziikibwa
(Mat 27:57-61, Mak 15:42-47, Yok 19:38-42)
50Kale laba, omuntu erinnya lye Yusufu, eyali omukungu, omuntu omulungi era omutuukirivu, #Mat 27:57-61, Mak 15:22-41, Yok 19:38-42 51oyo teyassa kimu mu kuteesa kwabwe newakubadde mu kikolwa kyabwe, era yali alindirira obwakabaka bwa Katonda:#Luk 2:25,38 52oyo n'agenda ewa Piraato, n'asaba omulambo gwa Yesu. 53N'aguwanula n'aguzinga mu lugoye olwa bafuta, n'aguteeka mu ntaana eyabajjibwa mu jjinja, omutateekebwanga muntu. 54Kale lwali lunaku lwa Kuteekateeka, essabbiiti nga eneetera okutandika. 55N'abakazi be yava nabo e Ggaliraaya, ne bagoberera Yusufu, ne balaba entaana, n'omulambo gwe we gwateekebwa. 56Ne baddayo ewaabwe, ne bategeka eby'akaloosa n'amafuta ag'omugavu. Ne ku lunaku olwa ssabbiiti ne bawummula ng'etteeka bwe liri.#Kuv 12:16; 20:10, Leev 23:8

S'ha seleccionat:

Lukka 23: LBR

Subratllat

Comparteix

Copia

None

Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió