Lukka 10

10
1 # Mak 6:7 # Mat 10:7-16 Awo oluvannyuma lw'ebyo Mukama waffe n'alonda abalala nsanvu, n'abatuma kinnababirye mu maaso ge okugenda mu buli kibuga na buli kifo gy'agenda okujja ye. 2#Yok 4:35, Mat 9:37,38N'abagamba nti Okukungula kwe kungi, naye abakunguzi be batono: kale musabe Mukama w'okukungula okutuma abakunguzi mu kukungula kwe. 3Mugende: laba, mbatuma mmwe ng'abaana b'endiga wakati mu misege. 4#Luk 9:3-5, 2 Bassek 4:29Temutwala nsawo, newakubadde olukoba, newakubadde engatto; so temulamusa muntu mu kkubo. 5Na buli nnyumba gye muyingirangamu, musookenga okugamba nti Emirembe gibe mu nnyumba muno. 6Oba nga mulimu omwana w'emirembe, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku ye; naye oba nga si bwe kityo, ate ginaddanga gye muli. 7#1 Tim 5:18, 1 Kol 9:5-14Mubeerenga mu nnyumba omwo nga mulya nga munywa eby'ewaabwe, kubanga omukozi w'omulimu asaanira empeera ye. Temuvanga mu nnyumba emu okuyingira mu ndala. 8#1 Kol 10:27Na buli kibuga kye mutuukangamu, ne babasembeza, mulyanga buli bye bassanga mu maaso gammwe; 9muwonyenga abalwadde abalimu, mubagambenga nti Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde kumpi. 10Naye buli kibuga kye mutuukangamu ne batabasembeza, mufulumanga mu nguudo zaakyo, mugambanga nti 11#Bik 18:6N'enfuufu ey'omu kibuga kyammwe, etusaabaanye mu bigere, tugibakunkumulira mmwe; naye mutegeere kino ng'obwakabaka bwa Katonda busembedde. 12Mbagamba mmwe nti Sodomu eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku luli okukira ekibuga ekyo. 13#Mat 11:21-23Zikusanze, Kolaziini! zikusanze, Besusayida! kubanga, eby'amaanyi ebyakolerwa ewammwe singa byakolerwa e Ttuulo n'e Sidoni, singa beenenya dda nga batudde mu bibukutu n'evvu. 14Naye Ttuulo ne Sidoni biriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku olw'omusango, okukira mmwe. 15#Is 14:13,15Naawe Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka mu ggulu? olissibwa okutuuka e Magombe. 16#Mat 10:40, Yok 5:23; 15:23Abawulira mmwe, ng'awulira nze; era anyooma mmwe ng'anyooma nze; n'oyo anyooma nze ng'anyooma eyantuma.
17Awo abo ensanvu ne bakomawo n'essanyu nga bagamba nti Mukama waffe, ne badayimooni batuwulira mu linnya lyo. 18#Yok 12:31, Kub 12:8,9N'abagamba nti Nnalaba Setaani ng'avudde mu ggulu okugwa ng'okumyansa. 19#Mak 16:18, Zab 91:13Laba, mbawadde obuyinza obw'okulinnyanga ku misota n'enjaba ez'obusagwa, n'amaanyi gonna ag'omulabe: so tewali kintu ekinaabakolanga obubi n'akatono. 20#Kuv 32:32, Baf 4:3, Kub 3:5, Mat 7:22Naye ekyo temukisanyukira, kubanga badayimooni babawulira; naye musanyuke kubanga amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.
21 # Mat 11:25-27 Awo mu ssaawa eyo n'asanyukira mu Mwoyo Omutukuvu n'agamba nti Nkwebaza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga bino wabikweka abagezi n'abakabakaba, n'obibikkulira abaana abato: weewaawo, Kitange; kubanga bwe kyasiimwa bwe kityo mu maaso go. 22Byonna byampeebwa Kitange; tewali muntu amanyi Omwana bw'ali wabula Kitaffe; newakubadde Kitaffe bw'ali, wabula Omwana, n'oyo Omwana gw'ayagala okumubikkulira. 23#Mat 13:16,17N'akyukira abayigirizwa be n'abagamba kyama nti Galina omukisa amaaso agalaba bye mulaba: 24#1 Peet 1:10kubanga mbagamba nti Bannabbi bangi ne bakabaka baayagalanga okulaba bye mulaba mmwe, ne batabiraba; n'okuwulira bye muwulira ne batabiwulira.
25 # Luk 18:18-20 # Mat 22:35-40, Mak 12:28-34 Kale, laba, omuyigiriza w'amateeka n'ayimirira ng'amukema ng'agamba nti Omuyigiriza, nkolenga ki okusikira obulamu obutaggwaawo? 26N'amugamba nti Kyawandiikibwa kitya mu mateeka? Osoma otya? 27#Ma 6:5, Leev 19:18N'addamu n'agamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna, n'amagezi go gonna; ne muliraanwa wo nga ggwe bwe weeyagala wekka. 28#Leev 18:5, Mat 19:17N'amugamba nti Ozzeemu bulungi; kola bw'otyo, onoobanga n'obulamu. 29Naye ye obutayagala kuwangulukuka, n'agamba Yesu nti Muliraanwa wange ye ani? 30Yesu n'addamu n'agamba nti Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ng'aserengeta e Yeriko; n'agwa mu batemu, ne bamwambula, ne bamukuba emiggo, ne bagenda ne bamuleka ng'abulako katono okufa. 31Awo kabona yali ng'aserengetera mu kkubo eryo nga tamanyiridde; kale bwe yamulaba, n'amwebalama n'ayitawo. 32N'Omuleevi bw'atyo bwe yatuuka mu kifo ekyo, n'amulaba, n'amwebalama n'ayitawo. 33Naye Omusamaliya bwe yali ng'atambula, n'ajja w'ali: awo bwe yamulaba n'amukwatirwa ekisa, 34n'amusemberera, n'amusiba ebiwundu bye, ng'afukamu amafuta n'omwenge; n'amussa ku nsolo ye, n'amuleeta mu kisulo ky'abagenyi n'amujjanjaba. 35Awo bwe bwakya enkya n'atoola eddinaali bbiri, n'aziwa nnannyini nnyumba n'amugamba nti Mujjanjabe; n'ekintu kyonna ky'oliwaayo okusukkawo bwe ndikomawo ndikusasula. 36Kale olowooza otya, aluwa ku abo abasatu, eyali muliraanwa w'oyo eyagwa mu batemu? 37N'agamba nti oli eyamukolera eby'ekisa. Yesu n'amugamba nti Naawe genda okole bw'otyo.
38 # Yok 11:1; 12:2,3 Awo bwe baali bagenda, n'ayingira mu kyalo: omukazi erinnya lye Maliza n'amusembeza mu nnyumba ye. 39Naye yalina muganda we ayitibwa Malyamu, eyatuulanga awali ebigere bya Mukama waffe n'awuliranga ekigambo kye. 40Naye Maliza yabanga n'emitawaana egy'okuweereza okungi; n'ajja w'ali, n'amugamba nti Mukama wange, tofaayo nga muganda wange andese okuweereza nzekka? kale mugambe annyambe. 41Naye Mukama waffe n'addamu n'amugamba nti Maliza, Maliza, weeraliikirira, olina emitawaana egy'ebigambo bingi; 42#Mat 6:33naye ekyetaagibwa kiri kimu: kubanga Malyamu alonzeewo omugabo ogwo omulungi ogutalimuggibwako.

S'ha seleccionat:

Lukka 10: LUG68

Subratllat

Comparteix

Copia

None

Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió