Lukka 11
11
1 #
Luk 5:33
Awo olwatuuka bwe yali ng'ali mu kifo ng'asaba, bwe yamala, ku bayigirizwa be omu n'amugamba nti Mukama waffe, tuyigirize okusaba, era nga Yokaana bwe yayigirizanga abayigirizwa be. 2#Mat 6:9-13N'abagamba nti Bwe musabanga, mugambanga nti Kitaffe, Erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. 3Otuwenga buli lunaku emmere yaffe ey'olunaku. 4Era otusonyiwe ebyonoono byaffe; kubanga naffe tumusonyiwa buli gwe tubanja. So totutwala mu kukemebwa.
5N'abagamba nti Ani ku mmwe alina ow'omukwano aligenda ewuwe ettumbi, n'amugamba nti Mukwano gwange, mpola emigaati esatu; 6kubanga mukwano gwange azze, ava mu lugendo, nange sirina kya kussa mu maaso ge; 7#Mat 26:10n'oli ali munda n'addamu n'agamba nti Tonteganya; kaakano oluggi luggale, abaana bange nange tumaze okwebaka, siyinza kugolokoka kukuwa? 8#Luk 18:5Mbagamba nti Newakubadde nga tagolokoka n'amuwa kubanga mukwano gwe, naye olw'okutayirira kwe anaagolokoka n'amuwa byonna bye yeetaaga. 9#Mat 7:7-11Nange mbagamba mmwe nti Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo. 10Kubanga buli muntu yena asaba aweebwa; n'anoonya alaba; n'eyeeyanjula aliggulirwawo. 11Era ani ku mmwe kitaawe w'omuntu omwana we bw'alimusaba omugaati, alimuwa ejjinja? oba ekyennyanja, n'amuwa omusota mu kifo ky'ekyennyanja? 12Oba bw'alisaba eggi, n'amuwa enjaba? 13Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa Omwoyo Omutukuvu abamusaba.
14 #
Mat 12:22-30,43-45, Mak 3:22-27 Yali ng'agoba dayimooni omusiru. Awo dayimooni bwe yamuvaako, kasiru n'ayogera, ebibiina ne byewuunya. 15Naye abamu ne bagamba nti Agoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni. 16#Mak 8:11N'abalala, ne bamwagaza akabonero akava mu ggulu, nga bamukema. 17Naye ye, bwe yamanya bye balowooza, n'abagamba nti Buli bwakabaka bwonna bwe bwawukanamu bwo bwokka buzikirira; n'ennyumba bw'eyawukanamu ennyumba eyo egwa. 18Ne Setaani bw'ayawukanamu ye yekka, obwakabaka bwe buliyimirirawo butya? kubanga mugamba nti ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli. 19Era oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? kye baliva baba abalamuzi bammwe. 20#Kuv 8:19Naye bwe mba ngobesa dayimooni engalo ya Katonda, kale obwakabaka bwa Katonda bubajjidde. 21Omuntu ow'amaanyi ng'alina ebyokulwanyisa bw'akuuma oluggya lwe, ebintu bye bibeera mirembe: 22#Bak 2:15naye amusinga amaanyi bw'amujjira n'amuwangula, amunyagako ebyokulwanyisa bye byonna bye yeesiga, n'agaba ebintu bye. 23#Luk 9:50Ataba nange ye mulabe wange; era atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya. 24Dayimooni bw'ava ku muntu, ayita mu bifo ebitaliimu mazzi ng'anoonya aw'okuwummulira; bw'abulwa agamba nti Ka nzireyo mu nnyumba yange mwe nnava. 25Bw'ajja, agiraba ng'eyereddwa etimbiddwa. 26#Yok 5:14Kale agenda, n'aleeta badayimooni abalala musanvu ababi okumusinga ye, ne bayingira ne babeera omwo: kale eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo bibeera bibi okusinga eby'olubereberye.
27 #
Luk 1:28,42,48 Awo olwatuuka ng'ayogera ebyo, omukazi ow'omu kibiina n'ayimusa eddoboozi lye n'amugamba nti Lulina omukisa olubuto olwakuzaala n'amabeere ge wayonkako. 28#Luk 8:15,21Naye ye n'agamba nti Ekisinga, balina omukisa abawulira ekigambo kya Katonda, ne bakyekuuma.
29 #
1 Kol 1:22
Awo ebibiina bwe byali nga bikuŋŋaanira w'ali, n'atanula okugamba nti Emirembe gino mirembe mibi: ginoonya akabonero, so tegiriweebwa kabonero wabula akabonero ka Yona. 30Kuba Yona nga bwe yali akabonero eri ab'e Nineeve, bw'atyo n'Omwana w'omuntu bw'aliba eri emirembe gino. 31#1 Bassek 10:1Kabaka omukazi ow'obukiika obwa ddyo aliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, alibasinza omusango: kubanga yava ku nkomerero z'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, laba, asinga Sulemaani ali wano. 32#Yon 3:5Abantu ab'e Nineeve baliyimirira mu musango wamu n'emirembe gino, baligisinza omusango: kubanga beenenya olw'okubuulira kwa Yona; era, laba, asinga Yona ali wano.
33 #
Luk 8:16, Mat 5:15 Tewali akoleeza ttabaaza n'agissa mu bunnya, oba munda w'ekibbo, wabula ku kikondo, abayingira balabe bw'eyaka. 34#Mat 6:22,23Ettabaaza y'omubiri gwo lye liiso lyo; eriiso lyo bwe liraba obulungi, n'omubiri gwo gwonna guba gujjudde omusana; naye bwe liba ebbi, n'omubiri gwo nga gujjudde ekizikiza. 35Kale weekuumenga omusana ogukulimu gulemenga okubeera ekizikiza. 36Kale omubiri gwo gwonna bwe gujjula omusana, nga tegulina kitundu kimu kya kizikiza, gwonna gulijjula musana ng'ettabaaza bw'ekumulisiza n'okutangaala kwayo.
37 #
Luk 7:36; 14:1 Awo bwe yali ng'ayogera, Omufalisaayo n'amuyita okulya emmere ewuwe: n'ayingira n'atuula ku mmere. 38#Mat 15:2Omufalisaayo bwe yalaba, ne yeewuunya kubanga tasoose kunaaba nga tannalya. 39#Mat 23:1-36Mukama waffe n'amugamba nti Mmwe Abafalisaayo munaaza ku ngulu w'ekikompe n'ow'ekibya; naye munda yammwe mujjudde obunyazi n'obubi. 40Mmwe abasiru, oyo eyakola kungulu si ye yakola ne munda? 41Naye ebiri munda mubiwengayo okuba eby'okusaasira; era, laba, byonna birongoofu gye muli.
42Naye zibasanze mmwe, Abafalisaayo! kubanga muwa ekitundu eky'ekkumi ekya nnabbugira n'akakubansiri n'enva zonna, naye omusango n'okwagala Katonda mubiyita bbali: ebyo kibagwanidde okubikolanga, na biri obutabirekangayo. 43#Luk 20:46Zibasanze mmwe, Abafalisaayo kubanga mwagala entebe ez'oku manjo mu makuŋŋaaniro n'okulamusibwa mu butale. 44Zibasanze! kubanga mufaanana amalaalo agatalabika, abantu ge batambulirako nga tebagamanyi.
45Awo omu ku bayigiriza b'amateeka n'addamu n'amugamba nti Omuyigiriza, bw'ogamba bw'otyo ovuma naffe. 46N'agamba nti Nammwe, abayigiriza b'amateeka, zibasanze! kubanga mutikka abantu emigugu egiteetikkika, mmwe bennyini gye mutayagala kukomako na lunwe lwammwe. 47Zibasanze! kubanga muzimba amalaalo ga bannabbi, naye bajjajjammwe be baabatta. 48Bwe mutyo muli bajulirwa era musiima ebikolwa bya bajjajjammwe: kubanga bo baabatta, nammwe muzimba amalaalo gaabwe. 49N'amagezi ga Katonda kyegaava gagamba nti Ndibatumira bannabbi n'abatume; abamu ku bo balibatta balibayigganya; 50omusaayi gwa bannabbi bonna, ogwayiika okuva ku kutondebwa kw'ensi, gubuuzibwe eri emirembe gino; 51#Lub 4:8, 2 Byom 24:20okuva ku musaayi gwa Abbeeri okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati w'ekyoto ne yeekaalu: mazima mbagamba mmwe nti Gulibuuzibwa eri emirembe gino. 52Zibasanze mmwe, abayigiriza b'amateeka! kubanga mwatwala ekisumuluzo eky'okutegeera: mmwe bennyini temwayingira, n'abaali bayingira mwabaziyiza.
53Awo bwe yavaayo, abawandiisi n'Abafalisaayo ne batanula okumuteganya ennyo, n'okumukemereza ebigambo bingi; 54#Luk 20:20nga bamutega, okutega ekigambo ekinaava mu kamwa ke, balyoke bamuwawaabire.
S'ha seleccionat:
Lukka 11: LUG68
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.