Yow 1

1
Ebisooka
1 # Amas 1,1; Yow 17,5; 1 Yow 1,1; Okub 19,13. Mu masooka Kigambo yaliwo,
era Kigambo ng'ali ne Katonda,
era Kigambo nga Katonda.
2Yalinga ne Katonda mu masooka;
3Byonna byabaawo ga biyita mu ye;
tewali na kimu kyabaawo nga tekiyise mu ye.
4Mu ye obulamu mwe bwalinga;
obulamu bwabanga kitangaala kya bantu.
5Ekitangaala ne kyakira mu kizikiza,
naye ekizikiza tekyakitegeera.
6 # Mat 3,1; Mar 1,4; Luk 3,1-2. Ne wabaawo omuntu eyatumibwa Katonda,
erinnya lye Yowanna.
7Oyo yajja okukakasa,
amanyise ekitangaala,
bonna bakkirize okubeera ye.
8Ye, si ye yali ekitangaala,
wabula yajja okumanyisa ekitangaala.
9Ekitangaala eky'amazima ekitangaaza buli muntu
kyajja mu nsi muno.
10Yalinga mu nsi,
ensi eyakolebwa mu ye,
kyokka ensi n'etemumanya.
11Yajja omumwe,
ababe ne batamwaniriza.
12Naye bonna abaamwaniriza,
abo abakkiriza mu linnya lye,
yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda;
13abo abataazaalibwa mu kuzaalibwa kwa musaayi,
wadde mu kwagala okw'omubiri,
oba mu kwagala okw'omuntu,
naye abaazaalibwa mu Katonda.
14Kigambo n'afuuka omuntu,
n'asula mu ffe;
twalaba ekitiibwa kye,
ekitiibwa ng'eky'Omwana omu yekka ava ewa Taata,
ajjudde eneema n'amazima.
15 # 1,30. Ono Yowanna yamujulira ng'ayogerera waggulu
nti: “Ye wuuyo gwe nayogerako
nti ajja emabega wange y'ansinga,
kubanga ye yansooka okubaawo.”
16Era ku musera gwe ffenna kwe twagabana,
eneema ku neema.
17 # 7,19. Kuba Etteeka lyaweebwa mu Musa,
naye eneema n'amazima byajjira mu Yezu Kristu.
18Katonda mpaawo yali amulabye;
Omwana omu yekka ate Katonda,
ali ddala mu Taata,
oyo ye yamumanyisa.
I. YEZU AYIGIRIZA MU LWATU
A. AMATANDIKA
Okujulira kwa Yowanna Batista
19Kuno kwe kujulira kwa Yowanna kwe yajuliramu eri Abayudaaya bwe baatuma gy'ali bakabona n'Abaleevi okuva e Yeruzaalemu okumubuuza nti: “Ggwe ani?” 20N'ayatula, n'atagaana, n'ayatula nti: “Si nze Kristu.” 21#Et 18,15.18; Mal 3,23-24.Ne bamubuuza nti: “Kiri kitya kale? Ggwe Eliya?” N'agamba nti: “Si ye nze.” “Ggwe mulanzi oli?” N'addamu nti: “Nedda.” 22Awo kwe kumugamba nti: “Ggwe ani? Abatutumye tunaabagamba tutya? Weeyita otya?” 23#Yis 40,3.N'abagamba nti: “Nze ddoboozi ly'oyo aleekaana mu ddungu nti: ‘Muluŋŋamye ekkubo ly'Omukama,’ nga Yisaaya omulanzi bwe yagamba.” 24Abaali batumiddwa baali ba mu Bafarisaayo, 25ne bamubuuza nti: “Kale ekikubatizisa kiki obanga si ggwe Kristu, si ggwe Eliya, si ggwe mulanzi oli?” 26#Mat 3,11; Mar 1,7-8; Luk 3,16.Yowanna n'abaanukula nti: “Nze mbatiza na mazzi, naye wakati mu mmwe wayimiriddewo gwe mutamanyi; 27ye oyo ananziririra, nze gwe sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze.” 28Ebyo byaliwo Betaniya, emitala wa Yorudani, Yowanna gye yali ng'abatiza.
29Ku lunaku olwaddako, n'alaba Yezu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti: “Wuuyo, akaliga ka Katonda; ke ko akaggyawo ekibi ky'ensi! 30Ye wuuyo gwe nayogerako nti emabega wange ejjayo eyansooka okubaawo, kubanga yabaawo nga nze sinnaba kubaawo. 31Nange nali simumanyi; naye kye kyandeeta okubatiza n'amazzi, ye alyoke ayolekebwe Yisirayeli.” 32#Mat 3,16; Mar 1,10; Luk 3,22.Yowanna n'ajulira nti: “Nalaba Mwoyo ng'akkirira ng'ava mu ggulu ng'enjiibwa, n'amubeerako. 33Nze nange nali simumanyi, naye oli eyantuma okubatiza n'amazzi ye yaŋŋamba nti: ‘Gw'onoolaba Mwoyo ng'amukkako n'amubeerako, nga ye wuuyo abatiza ne Mwoyo Mutuukirivu.’ 34Kale nze nalaba, era njulira nti Oyo ye Mwana wa Katonda.”
Abayigirizwa ababereberye
35Ku lunaku olwaddako, nate Yowanna yali ayimiridde awo wamu n'ababiri ku bayigirizwa be, 36n'alaba Yezu ng'ayita, n'agamba nti: “Wuuyo, akaliga ka Katonda!” 37Abayigirizwa ababiri ne bawulira ng'ayogera, ne bagoberera Yezu. 38Yezu n'akebuka, n'alaba nga bamugoberera, n'abagamba nti: “Munyoonya ki?” Ne bamugamba nti: “Rabbi (ekivvuunulwa nti Muyigiriza), obeera wa?” 39N'abagamba nti: “Mujje mulabe.” Ne bagenda, ne balaba we yali abeera, ne bamala ewuwe olunaku olwo; essaawa yali nga ya kkumi. 40Omu ku babiri abaawulira Yowanna ne bamugoberera yali Andureya muganda wa Simoni Petero. 41Yasooka kusisinkana muganda we Simoni, n'amugamba nti: “Messiya (kwe kugamba nti Kristu) tumugguseeko.” 42N'amutwala eri Yezu. Yezu n'amwekaliriza, n'agamba nti: “Ggwe Simoni, mutabani wa Yowanna; kale onooyitibwanga Kefa,” – ekivvuunulwa nti 'Petero'.#1,42 Petero : kwe kugamba nti Lwazi.
43Ku lunaku olwaddako n'ayagala okugenda e Galilaaya, n'asisinkana Filippo, n'amugamba nti: “Ngoberera.” 44Kati nno Filippo yali w'e Betisayida ekibuga kya Andureya ne Petero. 45Filippo n'asanga Natanayeli, n'amugamba nti: “Musa gwe yawandiikako mu Kitabo ky'Etteeka, n'abalanzi gwe baawandiikako tumugguseeko, Yezu ow'e Nazareti mutabani wa Yozefu.” 46Natanayeli n'amugamba nti: “E Nazareti eyinza okuvaayo akalungi?” Filippo n'amugamba nti: “Jjangu olabe.” 47Yezu bwe yalaba Natanayeli ng'ajja gy'ali, n'amwogerako nti: “Wuuyo, Omuyisirayeli ddala, ataliimu bulimba.” 48Natanayeli n'amugamba nti: “Ommanyi otya?” Yezu n'ayanukula nti: “Filippo abadde tannakuyita, w'obeeredde wansi w'omukunyu, nga nakulabye dda.” 49Natanayeli n'amwanukula nti: “Rabbi, ggwe Mwana wa Katonda, ggwe Kabaka wa Yisirayeli!” 50Yezu n'ayanukula nti: “Okkiriza kubanga nkugambye nti nakulabye wansi w'omukunyu? Ojja kulaba n'ebisinga kw'ekyo.” 51#Amas 28,12.Era n'amugamba nti: “Mbagambira ddala mazima nti muliraba eggulu nga libikkuse, ne bamalayika ba Katonda nga balinnya ate nga bakka ku Mwana w'omuntu.”
Embaga y'obugole e Kana

S'ha seleccionat:

Yow 1: BIBU1

Subratllat

Comparteix

Copia

None

Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió