Yow 2

2
1Ku lunaku olwokusatu, waaliwo embaga y'obugole mu Kana eky'e Galilaaya; nnyina Yezu yaliyo; 2Yezu naye baamuyita ku mbaga wamu n'abayigirizwa be. 3Evviini bwe yaggwaawo, nnyina Yezu n'amugamba nti: “Evviini tebakyalina.” 4Yezu n'amugamba nti: “Mukazi, ogubadde nze naawe!#2,4 Oba: Mukazi, onjagaza ki? Laba Mat 8,29; Mar 1,24; 5,7; Luk 4,34; 8,28. Akadde kange tekannatuuka.” 5Nnyina n'agamba abaweereza nti: “Kyonna ky'anaabagamba, mukikole.”
6Awo waaliwo amatogero ag'amayinja mukaaga nga gateekeddwawo olw'emikolo gy'Abayudaaya egy'okwetukuza; buli ttogero nga liweza ebita bibiri oba bisatu.#2,6 Ebita: oba nga mu y'Oluger.: ebipimo bibiri oba bisatu. Ebipimo bino biyitibwa bbati; bbati emu eweza liita 40 mu Ndagaano Empya. Evviini ya Yezu awamu yaweza liita wakati we 480 ne 720. 7Yezu n'abagamba nti: “Amatogero mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuza okutuuka ku mugo. 8N'abagamba nti: “Kaakano musene, mutwalire katikkiro w'embaga.” Ne batwala. 9Naye katikkiro w'embaga bwe yalegako ku mazzi agafuuse evviini, gy'ataamanya na gy'evudde, sso abaweereza abaasena amazzi bo nga bamanyi, n'ayita awasizza, 10n'amugamba nti: “Omuntu yenna asooka kugabula vviini nnungi; naye abantu bwe bamala okutamiira n'aleeta esingako obubi. Sso ggwe waleseeyo evviini ennungi okutuusa kati.”
11Mu bubonero bwa Yezu ako ke kabereberye; yakakolera mu Kana eky'e Galilaaya, n'ayolesa ekitiibwa kye, n'abayigirizwa be ne bamukkiriza. 12#Mat 4,13.Oluvannyuma, Yezu n'aserengeta e Kafarunawumu wamu ne nnyina, baganda be n'abayigirizwa be; ne bamalayo ennaku si nnyingi.
Agoba abatundira mu Kiggwa
13 # Okuv 12,1-17. Pasika y'Abayudaaya yali kumpi; Yezu n'ayambuka e Yeruzaalemu. 14#Mat 21,12-13; Mar 11,15-17; Luk 19,45-46.Mu Kiggwa n'asangamu abatunda ente, endiga, n'enjiibwa, era n'abawaanyisa ensimbi nga batudde. 15N'akwata obuguwa n'abukolamu akaswanyu, bonna n'abagoba mu Kiggwa, era n'endiga n'ente; n'ensimbi z'abawaanyisa n'aziyiwa, n'emmeeza zaabwe n'azivuunika. 16N'agamba abaali batunda enjiibwa nti: “Bino mubiggye wano; ennyumba ya Kitange muleke kugifuula katale.” 17#Zab 69,10.Awo abayigirizwa be ne bajjukira nti kyawandiikibwa nti: “Okutakabanira ennyumba yo kwandyamu omwoyo.”
18Awo Abayudaaya ne baanukula ne bamugamba nti: “Kabonero ki k'otuwa akakukoza bino?” 19#Mat 26,61; 27,40; Mar 14,58; 15,29.Yezu n'ayanukula nti: “Mumenye Ekiggwa kino, mu nnaku ssatu nzija kukisitula.” 20Abayudaaya ne bagamba nti: “Okuzimba Ekiggwa kino kwatwala emyaka ana mu mukaaga. Ggwe n'okisitula mu nnaku essatu?” 21Ye sso yali ayogera ku Kiggwa eky'omubiri gwe. 22Bwe yamala okuzuukira mu bafu, abayigirizwa be ne bajjukira nga kino yakyogera; ne bakkiriza ebyawandiikibwa n'ekigambo Yezu kye yagamba.
23Bwe yali e Yeruzaalemu ku mbaga enkulu eya Pasika, bangi ne bakkiriza mu linnya lye bwe baalaba obubonero bwe yakola. 24Naye Yezu ye n'atabeemaliza, kubanga bonna yali abamanyi; ate kubanga yali teyeetaaga n'omu kuwa bujulizi ku muntu, 25#Mar 2,8; Yow 1,47; 6,61; 13,11.kubanga ye yali amanyi ekiri mu muntu.
Emboozi ne Nikodemo

S'ha seleccionat:

Yow 2: BIBU1

Subratllat

Comparteix

Copia

None

Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió