Yow 3
3
1 #
7,26.50; 19,39. Waaliwo omu ku Bafarisaayo, erinnya lye Nikodemo, omukulembeze w'Abayudaaya. 2Omusajja ono yajja eri Yezu ekiro, n'amugamba nti: “Rabbi, tumanyi ng'oli muyigiriza okuva ewa Katonda; kubanga tewali ayinza kukola bubonero ggwe bw'okola wabula nga Katonda ali naye.” 3Yezu n'ayanukula nti: “Nkugambira ddala mazima nti wabula ng'oli azaaliddwa ogwokubiri,#3,3 Oba: ng'azaaliddwa okuva waggulu. tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.” 4Nikodemo n'amugamba nti: “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa ng'ate mukadde? Ayinza okudda nate mu nda ya nnyina n'azaalibwa?” 5Yezu n'addamu nti: “Nkugambira ddala mazima nti wabula ng'oli azaaliddwa mu mazzi ne Mwoyo Mutuukirivu, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 6Ekizaalibwa omubiri guba mubiri, n'ekizaalibwa Mwoyo guba mwoyo. 7Leka kwewuunya kubanga nkugambye nti mulagiddwa okuzaalibwa ogwokubiri.#3,7 Oba: okuzaalibwa okuva waggulu. 8Empewo ekunta edda gy'eyagala, n'okuwuuma kwayo okuwulira, sso tomanyi gy'eva na gy'eraga; na buli yenna azaalibwa Mwoyo bw'aba.”
9Nikodemo n'amugamba nti: “Ekyo kiyinzika kitya?” 10Yezu n'amugamba nti: “Oli muyigiriza mu Yisirayeli, ekyo n'otokimanya? 11Mazima mazima nkugamba nti kye tumanyi kye twogera, era kye twalaba kye tutegeeza; sso okujulira kwaffe temukukkiriza. 12Oba temunzikiriza nga mbabuulira ku by'ensi, munanzikiriza mutya nga mbabuulidde ku by'eggulu? 13Kubanga mpaawo yalinnya mu ggulu, wabula oyo eyava mu ggulu. 14#Emiw 21,9.Era nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n'Omwana w'Omuntu bw'ateekeddwa okuwanikibwa, 15buli amukkiriza abeere n'obulamu obutaggwaawo. 16Kubanga Katonda yayinga okwagala ensi, kyeyava awaayo Omwana we gwe yazaala omu, buli amukkiriza aleme kuzikirira, naye afune obulamu obutaggwaawo. 17Anti Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisingisa musango, wabula ensi erokokere mu ye. 18Amukkiriza tegumusinga; naye atamukkiriza nga gwamusinze dda, kubanga takkirizza mu linnya lya Mwana omu yekka owa Katonda. 19Leero nno guno gwe musango: nti ekitangaala kyajja mu nsi, sso abantu ne baagala enzikiza okusinga ekitangaala, kubanga ebikolwa byabwe byali bibi. 20Kubanga buli akola obubi akyawa ekitangaala, tajja eri kitangaala, ebikolwa bye bireme kwanikibwa. 21Sso buli akola ekituufu, ajja eri ekitangaala, ebikolwa bye biryoke birabibwe nga bikolebwa mu Katonda.”
Okujulira kwa Yowanna Batista ku Yezu
22Oluvannyuma, Yezu n'abayigirizwa be ne bagenda mu nsi y'e Buyudaaya; n'abeera eyo nabo, n'abatiza. 23Yowanna naye yali abatiza e Ayinoni, kumpi ne Salimu, kubanga amazzi gaaliyo mangi; abantu bajjanga ne babatizibwa. 24#Mat 14,3; Mar 6,17; Luk 3,19-20.Kubanga Yowanna yali tannaba kuteekebwa mu kkomera.
25Olumu ne wasituka empaka wakati w'abayigirizwa ba Yowanna n'Omuyudaaya ku by'okwetukuza. 26Ne bagenda ewa Yowanna, ne bamugamba nti: “Rabbi, oli eyali naawe emitala wa Yorudani, era gwe wayogerako, laba wuuli abatiza, na bonna bagenda gy'ali.” 27Yowanna n'ayanukula nti: “Omuntu tayinza kufuna kintu na kimu okuggyako ekyo ekimuweebwa okuva mu ggulu. 28#1,20.Nammwe mwennyini munjulira nga nagamba nti si nze Kristu; wabula natumibwa butumibwa okumukulembera. 29Alina omugole y'aba awasizza; mukwano gw'awasizza amubeera okumpi ng'awuliriza, abugaana essanyu ng'awulira eddoboozi lye. Awo nno eryo lye ssanyu lye mpulira, era lijjuuliridde. 30Oyo ateekeddwa okukula, nze nteekeddwa okufeeba. 31Ava waggulu y'akira bonna; ava mu nsi aba wa nsi, era ayogera bya nsi. Ava mu ggulu y'akira bonna. 32Akakasa ekyo kye yalaba era kye yawulira; sso tewali akkiriza kujulira kwe. 33Oli akkiriza okujulira kwe aba akakasa nti Katonda wa mazima. 34Kubanga Katonda gwe yatuma ayogera bigambo bya Katonda; anti Katonda Mwoyo we tamwegabyagabya. 35#Mat 11,27; Luk 10,22.Kitaffe ayagala Mwana, era byonna yabissa mu mikono gye. 36#3,16; 5,24.Akkiriza Mwana, alina obulamu obutaggwaawo; naye agaana okuwulira Mwana, taliraba ku bulamu; Katonda asigala akyamusunguwalidde.”
Yezu addayo mu Galilaaya
S'ha seleccionat:
Yow 3: BIBU1
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.