YOWANNE 11

11
Okufa kwa Laazaro
1Awo omuntu ayitibwa Laazaro, eyali e Betaniya, n'alwala. Betaniya kye kibuga Mariya ne muganda we Marita mwe baali.#Laba ne Luk 10:38-39 2Mariya oyo, ye yasiiga Mukama waffe omuzigo ogw'akawoowo ku bigere, n'abisiimuuza enviiri ze, era ye yali mwannyina wa Laazaro omulwadde.#Laba ne Yow 12:3
3Bannyina ba Laazaro abo, ne batumira Yesu nga bagamba nti: “Ssebo, mukwano gwo alwadde.” 4Kyokka Yesu bwe yawulira, n'agamba nti: “Ekigendereddwa mu bulwadde buno, si kufa, wabula kitiibwa kya Katonda, era Omwana wa Katonda bujja kumuweesa ekitiibwa.”
5Yesu yali mukwano gwa Laazaro ne Marita era ne Mariya. 6Bwe yawulira nga Laazaro alwadde, gye yali n'asigalayo ate ennaku endala ssatu. 7Oluvannyuma n'agamba abayigirizwa be nti: “Tuddeyo mu Buyudaaya.”
8Abayigirizwa ne bamugamba nti: “Muyigiriza, Abayudaaya baali baagala kukukuba mayinja, ate eyo gy'oyagala okudda?”
9Yesu n'addamu nti: “Essaawa ez'emisana teziba kkumi na bbiri? Omuntu bw'atambula emisana teyeesittala, kubanga alaba ekitangaala ky'ensi eno. 10Naye omuntu bw'atambula ekiro, yeesittala, kubanga taba na kitangaala.”
11Bwe yamala okwogera ebyo, n'abagamba nti: “Mukwano gwaffe Laazaro yeebase, wabula ŋŋenda okumuzuukusa.”
12Abayigirizwa ne bamugamba nti: “Mukama waffe, oba yeebase, anaazuukuka.”
13Naye Yesu yayogera ku kufa kwa Laazaro, naye bo ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo. 14Awo Yesu n'alyoka ababuulira lwatu nti: 15“Laazaro afudde. Ku lw'obulungi bwammwe nsanyuse kubanga saaliyo, n'olwekyo mujja kukkiriza. Kale tugende gy'ali.”
16Awo Tomasi ayitibwa Omulongo, n'agamba bayigirizwa banne nti: “Naffe ka tugende tufiire wamu naye.”
Yesu kwe kuzuukira era bwe bulamu
17Yesu bwe yatuukayo, n'asanga nga Laazaro amaze ennaku nnya mu ntaana. 18Betaniya kyali kumpi ne Yerusaalemu, kilomita nga ssatu. 19Abayudaaya bangi, baali bazze ewa Marita ne Mariya okubakubagiza olw'okufiirwa mwannyinaabwe.
20Marita bwe yawulira nti Yesu ajja, n'agenda okumusisinkana, Mariya ye ng'ali mu nnyumba. 21Marita n'agamba Yesu nti: “Ssebo, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde! 22Naye mmanyi nti ne kaakano, byonna Katonda by'onoomusaba, anaabikuwa.”
23Yesu n'amugamba nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.” 24Marita n'amugamba nti: “Mmanyi nti alizuukira mu kuzuukira okw'olunaku olw'enkomerero.”
25Yesu n'amugamba nti: “Nze kuzuukira, era nze bulamu. Anzikiriza, ne bw'afa, aliba mulamu. 26Era buli mulamu anzikiriza, talifa emirembe n'emirembe. Ekyo okikkiriza?”
27Ye n'amuddamu nti: “Weewaawo Ssebo, nze nzikiriza nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda, ow'okujja mu nsi.”
Yesu akaaba amaziga
28Marita bwe yamala okwogera ebyo, n'agenda n'ayita muganda we Mariya, n'amugamba mu kyama nti: “Omuyigiriza azze, akuyita.” 29Mariya bwe yawulira, n'asituka mangu, n'agenda okusisinkana Yesu.
30Yesu yali tannatuuka mu kibuga, ng'akyali mu kifo Marita kye yamusangamu. 31Awo Abayudaaya abaali ne Mariya mu nnyumba nga bamukubagiza, bwe baalaba ng'asituse mangu n'afuluma, ne bamugoberera, nga balowooza nti alaga ku ntaana, akaabire eyo.
32Awo Mariya bwe yatuuka awali Yesu, n'amulaba, n'agwa kumpi n'ebigere bye, n'amugamba nti: “Ssebo, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde!”
33Yesu bwe yalaba Mariya ng'akaaba, n'Abayudaaya abazze naye nabo nga bakaaba, n'anyolwa mu mutima, n'ajjula obuyinike, 34n'ababuuza nti: “Mwamuteeka wa?” Ne bamugamba nti: “Ssebo, jjangu olabeyo.”
35Yesu n'akaaba amaziga. 36Awo Abayudaaya ne bagamba nti: “Mulabe nga bw'abadde amwagala!”
37Naye abamu ku bo ne bagamba nti: “Ono eyazibula amaaso ga muzibe, teyandiyinzizza kubaako ky'akola, Laazaro n'atafa?”
Laazaro azuukizibwa
38Awo Yesu n'addamu okujjula obuyinike, n'atuuka ku ntaana. Yali mpuku, ng'eggaliddwawo n'ejjinja. 39Yesu n'agamba nti: “Muggyeewo ejjinja.” Marita mwannyina w'omufu, n'agamba Yesu nti: “Ssebo, kaakano awunya, kubanga amaze ennaku nnya!”
40Yesu n'amugamba nti: “Sikugambye nti bw'onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda?” 41Ne baggyawo ejjinja. Yesu n'ayimusa amaaso waggulu, n'agamba nti: “Kitange, nkwebaza kubanga ompulidde. 42Nze mmanyi ng'ompulira bulijjo, naye njogedde olw'abantu abali wano, balyoke bakkirize nga ggwe wantuma.”
43Bwe yamala okwogera ebyo, n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Laazaro, fuluma ojje!” 44Eyali afudde n'avaayo ng'amagulu ge n'emikono bizingiddwa mu ngoye eziziikibwamu abafu, nga n'ekiremba kisibiddwa ku maaso ge. Yesu n'abagamba nti: “Mumusumulule, mumuleke agende.”
Olukwe olw'okutta Yesu
(Laba ne Mat 26:1-5; Mak 14:1-2; Luk 22:1-2)
45Awo bangi mu Bayudaaya abaali bazze ewa Mariya, bwe baalaba Yesu ky'akoze, ne bamukkiriza. 46Naye abamu ku bo ne bagenda eri Abafarisaayo, ne bababuulira Yesu ky'akoze.
47Awo bakabona abakulu n'Abafarisaayo ne batuuza olukiiko, ne bagamba nti: “Tukole ki? Omuntu ono akola ebyamagero bingi. 48Bwe tumuleka bwe tutyo, bonna bajja kumukkiriza, n'Abarooma balijja ne bazikiriza ekibuga kyaffe n'eggwanga lyaffe!”
49Awo omu ku bo, Kayaafa, eyali Ssaabakabona mu mwaka ogwo, n'abagamba nti: “Mmwe temuliiko kye mumanyi. 50Temulaba nti kibagasa omuntu omu okufiirira abantu, eggwanga lyonna lireme kuzikirira?”
51Ekyo teyakyogera ku bubwe, wabula nga bwe yali Ssaabakabona omwaka ogwo, yalanga nti Yesu agenda okufiirira eggwanga eryo, 52sso si ggwanga eryo lyokka, naye n'okukuŋŋaanya abaana ba Katonda abaasaasaana.
53Okuva ku lunaku olwo, ne bakola olukwe okutta Yesu. 54N'olwekyo Yesu n'atatambula mu Buyudaaya mu lwatu, wabula n'avaayo, n'alaga mu kifo ekiriraanye eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efurayimu, n'abeera eyo n'abayigirizwa.
55Embaga y'Abayudaaya Ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, bangi ne bava mu byalo, ne bambuka e Yerusaalemu, okukola omukolo ogw'okwetukuza, ng'Embaga tennatuuka. 56Ne banoonya Yesu. Era nga bakuŋŋaanidde mu Ssinzizo, ne beebuuzaganya nti: “Mulowooza mutya? Tajje ku Mbaga?” 57Bakabona abakulu n'Abafarisaayo baali balagidde nti bwe wabaawo amanyi Yesu w'ali, ababuulire, balyoke bamukwate.

اکنون انتخاب شده:

YOWANNE 11: LB03

های‌لایت

به اشتراک گذاشتن

کپی

None

می خواهید نکات برجسته خود را در همه دستگاه های خود ذخیره کنید؟ برای ورودثبت نام کنید یا اگر ثبت نام کرده اید وارد شوید