Olubereberye 31
31
Yakobo adduka ku Labbaani
1Yakobo n'awulira ebigambo by'abatabani ba Labbaani, nga boogera nti, “Yakobo atutte ebintu byonna ebyali ebya kitaffe; era mu byo mw'afunidde obugagga obwo bwonna.” 2Yakobo n'alaba nga Labbaani takyamusanyukira ng'olubereberye. 3Mukama n'agamba Yakobo nti, “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo, era eri baganda bo; nange nnaabeeranga wamu naawe.”#Lub 28:15 4Yakobo n'atumya Laakeeri ne Leeya bajje mu ddundiro awali ekisibo kye, 5n'abagamba nti, “Ndabye nga kitammwe takyansanyukira ng'olubereberye; naye Katonda wa kitange abadde wamu nange.#Lub 21:22, Is 41:10 6Era mumanyi nga nnaweerezanga kitammwe n'amaanyi gange gonna.#Lub 30:29 7Era kitammwe yannimba, n'akyusanga empeera yange emirundi kkumi (10); naye Katonda teyamuganya kunkola bubi.#Lub 15:1, Kubal 14:22, Yob 19:3 8Bwe yayogeranga bw'ati nti, ‘Eza bujagijagi ze zinaabanga empeera yo,’ ekisibo kyonna ne kizaala eza bujagijagi; era bwe yayogeranga bw'ati nti, ‘Eza biwuuga ze zinaabanga empeera yo,’ ekisibo kyonna ne kizaala eza biwuga.#Lub 30:32 9Bw'atyo Katonda ensolo za kitammwe yazimuggyako, n'azimpa.#Lub 31:1,16 10Awo olwatuuka mu biro ebisibo mwe biwakira nnaloota ne ndaba ng'ebuzi ennume ezaalinnyira ebisibo zaali za biwuga, bujagijagi ne kiweewoweewo. 11Malayika wa Katonda n'aŋŋambira mu kirooto nti, ‘Yakobo,’ ne nziramu nti, ‘Nze nzuuno.’ 12N'ayogera nti, ‘Yimusa kaakano amaaso go, olabe, embuzi zonna ennume ezirinnyira ekisibo za biwuuga, bujagijagi, ne kiweewoweewo; kubanga ndabye byonna Labbaani by'akukola.#Kuv 3:7 13Nze Katonda w'e Beseri, gye wafukira amafuta ku mpagi, gye wanneeyamira obweyamo; kaakano golokoka, ove mu nsi eno, oddeyo mu nsi gye wazaalirwamu.’ ”#Lub 28:18-22; 31:3; 32:9 14Laakeeri ne Leeya ne baddamu ne bamugamba nti, “Tukyalina omugabo oba busika mu nnyumba ya kitaffe?#Lub 2:24, 2 Sam 20:1, 1 Bassek 12:16 15Tetubalibwa nga bannamawanga gy'ali? kubanga yatutunda, era n'ebintu byaffe abiriiridde ddala.#Lub 29:20,30 16Kubanga obugagga bwonna Katonda bw'aggye ku kitaffe, bwe bwaffe era bwa baana baffe: kale kaakano, kyonna Katonda ky'akugambye, kikole.” 17Yakobo n'alyoka agolokoka, ne yeebagaza abaana be ne bakazi be ku ŋŋamira; 18n'atwala ebisibo bye byonna, n'ebintu byonna bye yafunira e Padanalaamu, addeyo eri kitaawe Isaaka, mu nsi ya Kanani. 19Labbaani yali agenze okusala ebyoya by'endiga ze; Laakeeri n'abba baterafi ba kitaawe.#Balam 17:5, 1 Sam 19:13, Ez 21:21, Kos 3:4 20Yakobo n'agenda mu kyama Labbaani Omusuuli nga tamanyi, kubanga teyamubuulira ng'adduka. 21Bw'atyo n'adduka n'ebibye byonna bye yalina, n'asomoka omugga Fulaati, n'ayolekera Gireyaadi, ensi ey'ensozi.#2 Bassek 12:17, Luk 9:51
Labbaani awondera Yakobo
22Ku lunaku olwokusatu ne babuulira Labbaani nti Yakobo yadduka. 23Labbani n'atwala baganda be, n'amuwondera olugendo lwa nnaku musanvu; n'amutuukako mu Gireyaadi, ensi ey'ensozi. 24Katonda n'alabikira Labbaani Omusuuli mu kirooto ekiro, n'amugamba nti Weegendereze tobaako kintu kyonna ky'oyogera ne Yakobo, oba kirungi oba kibi.#Lub 20:3; 24:50, 2 Sam 13:22 25Labbaani n'atuuka ku Yakobo. Yakobo yali asimbye eweema ye mu nsi ey'ensozi; ne Labbaani ne baganda be nabo ne basimba eweema yabwe mu Gireyaadi ensi ey'ensozi. 26Labbaani n'agamba Yakobo nti, “Wakola ki, okugenda ekyama nga simanyi, n'otwalira ddala abaana bange ng'abaanyagibwa n'ekitala? 27Kiki ekyakuddusa ekyama n'onkisa ng'ogenda; n'otombuulira, ndyoke nkusiibule n'ekinyumu n'ennyimba, n'ebitaasa n'ennanga;#Lub 31:20 28n'otoŋŋanya kunywegera batabani bange ne bawala bange? Ky'okoze kya busirusiru.#Luus 1:9, 1 Bassek 19:20, Bik 20:37 29Nnina obuyinza okukukolako obubi, naye Katonda wa kitammwe yayogedde nange ekiro nti, ‘Weegendereze tobaako kintu kyonna ky'oba oyogera ne Yakobo, oba kirungi oba kibi.’#Lub 31:24 30Mmanyi ng'oyagala okugenda, kubanga olumirwa nnyo ennyumba ya kitaawo. Naye lwaki wabba bakatonda bange?”#Lub 31:19, Balam 18:24 31Yakobo n'addamu n'agamba Labbaani nti, “Kubanga nnatya nti oyinza okunzigyako bawalabo olw'empaka. 32Buli gw'onoosanga ne bakatonda bo attibwe. Kaakano nga tuliwano mu maaso ga baganda baffe, yawulamu ebibyo ebiri mu byange obitwale.” Yakobo yali tamanyi nga Laakeeri yabba bakatonda ba kitaawe.#Lub 44:9 33Labbaani n'ayingira mu weema ya Yakobo, ne mu weema ya Leeya, ne mu weema ey'abazaana bombi; naye n'atabalaba. N'ava mu weema ya Leeya, n'ayingira mu weema ya Laakeeri. 34Laakeeri yali atutte baterafi, ng'abakweese mu matandiiko g'eŋŋamira ng'abatuddeko. Labbaani n'ayaza mu weema yonna, naye n'atabalaba. 35Laakeeri n'agamba kitaawe nti, “Mukama wange tosunguwala kubanga siyinza kuyimirira w'oli nga ndi mu mpisa y'abakazi.” Labbaani n'anoonya, naye n'atalaba baterafi.#Kuv 20:12, Leev 19:32 36Yakobo n'asunguwala, n'ayomba ne Labbaani ng'agamba nti, “Nsobezza ki? Nkoze kibi ki ekikunnondooza bw'otyo? 37Oyazizza ebintu byange byonna, kiki ky'olabyemu ekikyo? Kiteeke wano mu maaso ga baganda bange ne baganda bo, batusalire omusango ffembi.#1 Sam 12:3 38Emyaka egyo abiri (20) gye n'abeeranga naawe; endiga zo n'embuzi zo enkazi tezaasowola, n'ennume ez'omu kisibo kyo saazirya. 39Eyataagulwanga ensolo saagikuleeteranga; nze nnafiirwanga; eyabbibwanga emisana oba ekiro waginvunaananga.#Kuv 22:10,12 40Bwe ntyo bwe nnaabeeranga. Emisana, omusana gwanzigwerangako, ate ekiro empewo n'enfuuwa; era n'otulo twambulanga. 41Emyaka egyo abiri (20) gye nnali mu nnyumba yo; nnakuweerereza emyaka kkumi n'ena (14) olwa bawala bo bombi, n'emyaka mukaaga (6) olw'ebisibo byo; naye ggwe wakyusakyusa empeera yange emirundi kkumi (10).#Lub 29:20,30; 31:7 42Singa Katonda wa kitange, Katonda wa Ibulayimu, era Entiisa ya Isaaka, teyabeeranga nange, kaakano tewandiremye kunsindika bwereere. Katonda alabye okubonaabona kwange n'okutegana kw'emikono gyange, kye yavudde akunenya ekiro.”#Lub 29:32; 31:24, Zab 124:1,2, Is 8:13
Yakobo ne Labbaani bakola endagaano
43Labbaani n'addamu Yakobo nti, “Abawala bano, bawala bange, n'abaana baabwe be baana bange, n'ebisibo bino bisibo byange, ne byonna by'olaba wano byange; kaakati nnyinza kukolera ki bawala bange bano, oba abaana be baazaala. 44Kale nno kaakano, tukole endagaano, nze naawe; ebeerenga omujulirwa wakati wo nange.”#Lub 26:28 45Awo Yakobo n'addira ejjinja, n'alisimba libe ekijjukizo#Lub 28:18 46Yakobo n'agamba abantu be nti, “Mukuŋŋaanye amayinja,” ne baddira amayinja, ne bagatuuma entuumu; ne baliira awo awali entuumu. 47Labbaani n'agituuma erinnya Yegalusakadusa;#31:47: Yegalusakadusa Mu Aramaica kitegeeza “entuumu ey'okutujjukiza.” naye Yakobo n'agituuma Galeedi.#31:47: Galeedi Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Entuumu ey'okutujjukiza.” 48Labbaani n'ayogera nti, “Entuumu eno ye mujulirwa eri nze naawe leero.” Erinnya lyayo kye lyava libeera Galeedi;#Yos 24:27 49era Mizupa,#31:49: Mizupa Mulwebbulaniya kitegeeza “Ekifo awasinziirwa okukuuma.” kubanga yayogera nti, “Mukama atunulenga wakati wange naawe, bwe tuliba nga tetukyalabagana. 50Bw'onoobonyaabonyanga bawala bange, oba bw'oliwasa abakazi abalala awali bawala bange, wadde tewaliba muntu mulala ali naffe, jjukira nga Katonda ye mujulirwa wakati wo nange.”#Balam 11:10, Yer 42:5, Mi 1:2 51Labbaani n'agamba Yakobo nti, “Laba entuumu eno ey'amayinja n'empagi eno gye nsimbye wakati wo nange. 52Entuumu eno n'empagi eno binaabanga abajulirwa baffe nga nze siriyita ku ntuumu eno ku kulumba, era naawe nga toliyita ku ntuumu eno ne ku mpagi eno kunnumba. 53Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Nakoli, Katonda wa kitaabwe, alamulenga wakati waffe.” Yakobo n'alayira Katonda wa kitaawe Isaaka, ng'anaakuumanga endagaano eyo.#Lub 16:5; 31:42#31:53 Nakoli Nakoli yali muganda wa Ibulayimu. Kitaabwe yali Teera nga Mukaludaaya ( Lub 11:26-31). 54Yakobo n'aweerayo ssaddaaka ku lusozi, n'ayita abantu be okulya emmere; ne balya emmere, ne babeera ku lusozi okukeesa obudde. 55Awo enkya mu makya Labbaani n'agolokoka, n'anywegera bazzukulu be ne bawala be, n'abasabira omukisa; Labbaani n'asituka n'addayo ewuwe.#Lub 31:28
Trenutno odabrano:
Olubereberye 31: LBR
Istaknuto
Podijeli
Kopiraj
![None](/_next/image?url=https%3A%2F%2Fimageproxy.youversionapistaging.com%2F58%2Fhttps%3A%2F%2Fweb-assets.youversion.com%2Fapp-icons%2Fhr.png&w=128&q=75)
Želiš li svoje istaknute stihove spremiti na sve svoje uređaje? Prijavi se ili registriraj
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

:
Istaknuto
Podijeli
Kopiraj
![None](/_next/image?url=https%3A%2F%2Fimageproxy.youversionapistaging.com%2F58%2Fhttps%3A%2F%2Fweb-assets.youversion.com%2Fapp-icons%2Fen.png&w=128&q=75)