YouVersion logo
Ikona pretraživanja

Olubereberye 32

32
Yakobo yeeteekateeka okusisinkana Esawu
1Yakobo ne yeeyongera mu lugendo lwe, bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana. 2Yakobo bwe yabalaba n'ayogera nti, “Lino lye ggye lya Katonda!” N'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Makanayimu.#32:2: Makanayimu Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Amagye abiri”#Yos 5:14, Zab 103:21, Luk 2:13
3Awo Yakobo n'atuma ababaka okumukulemberamu okugenda eri Esawu muganda we, eyali e Seyiri mu nsi ya Edomu.#Lub 36:8,9, Ma 2:4,5 4N'abalagira nti, “Mugambe mukama wange Esawu nti Yakobo omuweereza wo agamba nti, ‘N'abeeranga ne Labbaani, era mbadde naye okutuusa kaakano. 5Era nnina ente n'endogoyi n'ebisibo by'endiga n'embuzi, abaddu n'abazaana. Nkutumidde okukutegeeza mukama wange, onkwatirwe ekisa.’ ”#Lub 33:8,15 6Ababaka ne bakomawo eri Yakobo, ne bagamba nti, “Twatuuka eri muganda wo Esawu, era ajja okukusisinkana, ng'ali n'abasajja bina (400).”#Lub 33:1 7Yakobo n'alyoka atya nnyo ne yeeraliikirira. N'ayawulamu ebibinja bibiri mu bantu abaali naye, ne mu bisibo by'embuzi, n'endiga, n'ente, n'eŋŋamira. 8N'ayogera nti, “Esawu bw'anaatuukira ku kibiina ekimu n'akikuba, ekibiina ekinaasigalawo kinaawona.” 9Yakobo n'ayogera nti, “Ayi Katonda wa jjajjange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, ayi Mukama, eyaŋŋamba nti, ‘Ddayo mu nsi y'ewammwe era eri baganda bo, nange nnaakukolanga bulungi,’#Lub 28:13; 31:3 10sisaanira, n'akatono ekisa kyonna n'obwesigwa bwonna bye wandaga nze omuweereza wo. Nasomoka omugga guno Yoludaani, nga nnina muggo gwokka. Naye kaakano nkomyewo, nga nnina ebibiina bibiri.#2 Sam 7:18 11Nkwegayirira, mponya mu mukono gwa muganda wange Esawu, kubanga mmutya, aleme okunzita n'abaana bange ne bannyaabwe.#Nge 18:19 12Naawe wayogera nti, ‘Siiremenga ku kukola bulungi, era nnaafuulanga ezzadde lyo ng'omusenyu ogw'oku nnyanja, ogutabalika olw'obungi.’ ”#Lub 28:13-15 13N'asula awo ekiro ekyo, n'atoola ku ebyo bye yali nabyo okuba ekirabo kya Esawu muganda we;#Lub 43:11 14embuzi enkazi bibiri (200), n'ennume abiri (20), endiga enkazi bibiri (200), n'ennume abiri (20), 15eŋŋamira ezikamibwa asatu (30) n'abaana baazo, ente enkazi ana (40), n'eza sseddume kkumi (10), endogoyi enkazi abiri (20) n'abaana baazo kkumi (10). 16N'abikwasa abaddu be, buli kisibo nga kiri kyokka; n'abagamba nti, “Munkulembere musomoke, naye mulekeewo ebbanga wakati w'ekisibo n'ekisibo.” 17N'alagira eyakulembera ng'ayogera nti, “Esawu muganda wange bw'anaakusisinkana, n'akubuuza nti, ‘Oli w'ani? Ogenda wa? Ebyo by'oli nabyo by'ani?’ 18Oddamu nti, ‘Bya muddu wo Yakobo; Kye kirabo ky'aweerezza mukama wange Esawu. Era Yakobo yennyini atuvaako mabega.’ ” 19Era n'alagira n'ow'okubiri, n'ow'okusatu ne bonna abaagoba ebisibo, ng'ayogera nti, “Esawu bwe munaamusisinkana, 20Munaamugamba nti, ‘omudduwo Yakobo atuvaako mabega.’ ” Yakobo yagamba nti, “Nja kumuwooyawooya n'ekirabo ekinankulemberamu, olwo bwe nnaamusisinkana, aboolyawo anannyaniriza.” 21Awo ekirabo ne kimukulemberamu, kyokka ye n'asula awo mu lusiisira ekiro ekyo.
Yakobo amegganira e Penueri
22Yakobo n'agolokoka ekiro ekyo, n'atwala bakazi be bombi, n'abazaana be bombi, n'abaana be ekkumi n'omu (11), n'asomoka Omugga Yabboki. 23N'abatwala, n'abasomosa akagga, n'asomosa ne byonna bye yalina. 24Kyokka ye n'asigalayo yekka. Awo omusajja n'ajja, n'ameggana naye, okutuusa emmambya lwe yasala. 25Awo omusajja bwe yalaba nga tajja kumegga Yakobo, n'amukoma ku bbunwe; bbunwe wa Yakobo n'anuuka ng'ameggana naye. 26N'agamba Yakobo nti, “Nta ŋŋende, kubanga emmambya esala.” Yakobo n'ayogera nti, “Sijja kukuta, wabula ng'ompadde omukisa.”#Luk 18:1 27Omusajja n'amubuuza nti, “Erinnya lyo ggwe ani?” N'amuddamu nti, “Nze Yakobo.” 28N'ayogera nti, “Erinnya lyo terikyali Yakobo, wabula onooyitibwanga Isiraeri,#32:28: Isiraeri Erinnya lino mu Lwebbulaniya litegeeza “Awakanye ne Katonda” kubanga owakanye ne Katonda, n'abantu, era owangudde.”#Lub 35:10, Kos 12:3-4 29Yakobo n'amugamba nti, “Nkwegayiridde, mbuulira erinnya lyo.” Omusajja n'addamu nti, “Kiki ekikumbuuzisa erinnya lyange?” N'amuweera mu kifo ekyo omukisa.#Balam 13:18 30Yakobo n'atuuma ekifo ekyo erinnya Penueri, ng'agamba nti, “Ndabaganye ne Katonda maaso n'amaaso ne nsigala nga ndi mulamu.”#Lub 16:13, Kuv 24:10,11, Balam 6:22; 13:22, Is 6:5 31Enjuba n'emwakako ng'ava e Penueri, ng'awenyera olwa bbunwe we.#32:31 Penueri Mu Lwebbulaniya litegeeza “Amaaso ga Katonda.” 32N'okutuusa kaakati Abaisiraeri kye bava tebalya ekinywa ekiri ku bbunwe, kubanga ku kinywa ekyo, omusajja kwe yakoma.

Trenutno odabrano:

Olubereberye 32: LBR

Istaknuto

Podijeli

Kopiraj

None

Želiš li svoje istaknute stihove spremiti na sve svoje uređaje? Prijavi se ili registriraj