YouVersion logo
Ikona pretraživanja

Olubereberye 33

33
Yakobo asisinkana Esawu
1Awo Yakobo n'ayimusa amaaso ge, n'alengera Esawu ng'ajja n'abasajja bina (400). Yakobo n'agabanyaamu abaana, wakati wa Leeya ne Laakeeri, n'abazaana bombi.#Lub 32:6 2N'ateeka abazaana n'abaana baabwe mu maaso, n'abaddiriza Leeya n'abaana be, n'akomerezaayo Laakeeri ne Yusufu. 3Naye ye yennyini n'abakulemberamu, n'avuunama ku ttaka emirundi musanvu nga bw'asemberera muganda we#Lub 18:2; 42:6 4Esawu n'adduka mbiro okumusisinkana, n'amukwata mu ngalo, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera, ne bakaaba amaziga.#Lub 32:28; 45:14 5Esawu bwe yayimusa amaaso ge, n'alaba abakazi n'abaana, n'abuuza nti, “Baani bano abali naawe?” Yakobo n'addamu nti, “Abo be baana, Katonda olw'ekisa kye be yawa omudduwo.”#Lub 48:9, Zab 127:3, Is 8:18 6Awo abazaana n'abaana baabwe ne basembera ne bavuunama. 7Era ne Leeya n'abaana be ne basembera, ne bavuunama; Yusufu ne Laakeeri nabo ne basembera, ne bavuunama. 8Esawu n'amubuuza nti, “Ekibiina ekyo kyonna kye nsisinkanye amakulu gaakyo ki?” N'amuddamu nti, “Okulaba ekisa mu maaso ga mukama wange.”#Lub 32:5,16 9Esawu n'amugamba nti, “Bye nnina bimmala; muganda wange, by'olina bibe bibyo.” 10Yakobo n'ayogera nti, “Nedda, nkwegayiridde! Kaakano oba nga ndabye ekisa mu maaso go, kkiriza ekirabo kyange mu mukono gwange; kubanga ndabye amaaso go, ne mba ng'omuntu bwe yandirabye amaaso ga Katonda, n'onsanyukira.#Lub 43:3, 2 Sam 14:24 11Nkwegayiridde, toola ekirabo kyange kye bakuleetedde; kubanga Katonda ankoledde eby'ekisa, era kubanga bye nnina bimmala.” N'amwegayirira, Esawu n'akitwala.#1 Sam 25:27, 2 Bassek 5:15,23 12Awo Esawu n'agamba nti, “Tukwate ekkubo tugende, nze nja kukulemberamu.” 13Yakobo n'addamu nti, “Mukama wange omanyi ng'abaana bakyali bato, tebannafuna maanyi, era ng'endiga n'ente eziri nange, ziyonsa. Bwe banaazigoba ennyo, wadde olunaku olumu, amagana gonna gajja kufa. 14Nkwegayiridde, mukama wange ggwe kulembera nange omuddu wo najja mpolampola nga bwe nnaasobola okutambula, n'ensolo ze nkulembezzaamu era n'abaana, nkutuukeko mu Seyiri.” 15Esawu n'agamba nti, “Kale ka nkulekere ku bantu abali nange.” Kyokka Yakobo n'agamba nti, “Ekyo tekyetaagisa, bwe mba nga ndabye ekisa mu maaso go Mukama wange.”#Luus 2:13 16Awo Esawu n'addayo ku lunaku olwo e Seyiri 17Naye Yakobo n'atambula n'agenda e Sukkosi,#33:17: Sukkosi Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Olugo.” ne yeezimbira ennyumba, n'akolera ensolo ze engo; erinnya ly'ekifo ekyo kye lyava liyitibwa Sukkosi.
18Yakobo bwe yava e Padanalaamu, n'atuuka mirembe mu kibuga kye Sekemu, ekiri mu nsi ya Kanani, n'asiisira okumpi n'ekibuga. 19N'agula ettaka ku baana ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu, ebitundu bya feeza kikumi (100), n'asimba eweema ye.#Yos 24:32, Yok 4:5, Bik 7:16 20N'azimbayo ekyoto, n'akituuma erinnya lyakyo Ererokeyisiraeri.#33:20: Ererokeyisiraeri Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Katonda wa Isiraeri.”

Trenutno odabrano:

Olubereberye 33: LBR

Istaknuto

Podijeli

Kopiraj

None

Želiš li svoje istaknute stihove spremiti na sve svoje uređaje? Prijavi se ili registriraj