YouVersion logo
Ikona pretraživanja

Olubereberye 34

34
Dina ne Sekemu
1Awo Dina, omuwala Leeya gwe yazaalira Yakobo, n'agenda okukyalira abawala Abakanani.#Lub 30:21 2Sekemu omwana wa Kamoli Omukiivi, omukulu w'ensi, n'amulaba, n'amutwala n'amukwata lwa mpaka, n'amusobyako 3Omutima gwe ne gwe gatta ne Dina muwala wa Yakobo, n'amwagala nnyo, n'ayogera naye n'ekisa.#Is 40:2, Kos 2:14 4Sekemu n'agamba kitaawe Kamoli nti, “Mpasiza omuwala oyo.”#Balam 14:2 5Yakobo n'awulira nga Sekemu yasobya ku Dina muwala we; naye kubanga batabani be baali n'ensolo ze mu ddundiro, n'asirika okutuusa lwe badda. 6Kamoli kitaawe wa Sekemu n'afuluma eri Yakobo okuteesa naye. 7Batabani ba Yakobo ne bakomawo nga bava mu ddundiro. Bwe baakiwulira, ne banakuwala, ne basunguwala nnyo, kubanga Sekemu yali akoze eky'omuzizo mu Baisiraeri, bwe yasobya ku muwala wa Yakobo, ekitagwanira kukola.#Lub 20:9; 49:7, Yos 7:15, Balam 20:6, 2 Sam 13:12,21 8Kamoli n'ayogera nabo nti, “Mutabani wange Sekemu ayagala kuwasa muwala wammwe. Mbeegayiridde mumumuwe amuwase. 9Era mufumbiriganwenga naffe; mutuwenga ffe abawala bammwe, era muwasenga mmwe abawala baffe.#Lub 24:3; 28:1,2 10Munaabeeranga wamu naffe mu nsi yaffe, mubeerenga we mwagala, musuubulirenga muno, mwefunire ebintu.”#Lub 20:15; 42:34; 30:21; 49:5-7 11Sekemu n'agamba kitaawe wa Dina ne bannyina nti, “Singa ndabye ekisa mu maaso gammwe, kyonna kye munansalira nnaakibawa.#Lub 32:5 12Ebintu eby'obuko n'ebirabo bye munansalira, ne bwe binenkana wa obungi, nnaabibawa, kasita munaampa omuwala okumuwasa.”#Kuv 22:16,17, Ma 22:29 13Abaana ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne Kamoli kitaawe nga bakuusa, kubanga yali agwagwawazizza Dina mwannyinaabwe, 14ne babagamba nti, “Tetuyinza kukola kino, okuwa mwannyinaffe omusajja atali mukomole; kubanga ekyo kyandibadde kya nsonyi gyetuli.#Yos 5:2,9 15Tunaabakkiriza lwa kino kyokka: bwe munakkiriza okuba nga ffe, buli musajja mummwe okukomolebwanga. 16Olwo tunaabawanga abawala baffe, naffe tunaawasanga abawala bammwe, naffe tunaatuulanga wamu nammwe, era tulifuuka ggwanga limu. 17Naye bwe mutaatuwulire, okukomolebwa; olwo tunaatwala omuwala waffe, ne tugenda.” 18Ebigambo byabwe ne bisanyusa Kamoli, ne mutabani we Sekemu. 19Omuvubuka n'atalwawo kukola ekyo, kubanga yayagala nnyo muwala wa Yakobo. Omuvubuka oyo yalina ekitiibwa okusinga abalala bonna ab'omu nnyumba ya kitaawe. 20Kamoli ne Sekemu omwana we, ne bajja mu wankaaki w'ekibuga kyabwe, ne bateesa n'abasajja ab'omu kibuga kyabwe, nga boogera nti,#Luus 4:1, 2 Sam 15:2 21“Abasajja abo, tebaagala kutulwanyisa. Tubaleke babeerenga mu nsi eno wamu naffe, era basuubulirengamu, kubanga ensi ngazi ekimala. Ffe tuwasenga abawala baabwe, era nabo tubawenga abawala baffe. 22Endagaano eno yokka ye ejja okubakkirizisa abasajja abo okutuula awamu naffe, okufuuka eggwanga erimu naffe, singa buli musajja muffe anaakomolebwanga nga bo bwe bakomolebwa. 23Ente zaabwe n'ebintu byabwe n'ensolo zaabwe zonna tebiriba byaffe? Kale tukkiriziganye nabo, batuulenga naffe.” 24Abasajja bonna abaali mu wankaaki w'ekibuga, ne bakkiriza ebya Kamoli ne Sekemu mutabani we; buli musajja n'akomolebwa.#Lub 23:10 25Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, bwe baali nga balumwa ebiwundu, batabani ba Yakobo babiri, Simyoni ne Leevi, bannyina Dina, ne bakwata ebitala byabwe, ne bazinduukiriza ekibuga ne batta abasajja bonna.#Lub 29:33-34; 30:21; 49:5-7 26Ne battiramu Kamoli ne mutabani we Sekemu, ne baggya Dina mu nnyumba ya Sekemu, ne bavaayo. 27Batabani ba Yakobo abalala bwe basanga nga babasse, ne banyaga eby'omu kibuga nga beesasuza olwa mwannyinaabwe gwe baagwagwawaza. 28Baanyaga endiga, embuzi n'endogoyi zaabwe, n'ebintu byonna ebyali mu kibuga n'ebyali mu nnimiro. 29N'obugagga bwabwe bwonna, n'abaana baabwe bonna abato n'abakazi baabwe, ne babasiba ne babanyaga, ne byonna ebyali mu nnyumba. 30Yakobo n'agamba Simyoni ne Leevi nti, “Mundeetedde omutawaana; okunkyayisa mu Bakanani ne mu Baperizi. Nnina abantu batono. Kale singa bali bonna balyekuŋŋaanya ne bannumba, balisaanyawo ennyumba yange yonna.”#Lub 13:7, Kuv 5:21, Yos 7:25, 1 Sam 13:4, 2 Sam 10:6, Zab 105:12 31Naye bo ne baddamu nti, “Yakola kirungi okuyisa mwannyinaffe ng'omwenzi?”

Trenutno odabrano:

Olubereberye 34: LBR

Istaknuto

Podijeli

Kopiraj

None

Želiš li svoje istaknute stihove spremiti na sve svoje uređaje? Prijavi se ili registriraj