Olubereberye 5
5
Abantu abaasibuka mu Adamu (5:1—6:8)
1Kino kye kitabo ky'olunnyiriri lwa Adamu. Katonda bwe yatonda omuntu, yamukolera mu kifaananyi kya Katonda.#Lub 1:26,27, 1 Byom 1:1, Luk 3:23-38 2Ya batonda omusajja n'omukazi; n'abawa omukisa. Bwe yabatonda n'abayita omuntu.#5:2 Omuntu Ekigambo “omuntu” ne linnya “Adamu,” mu Lwebbulaniya birina ennukuta ze zimu. N'olw'ekyo “Adamu,” kivvuunulwa “omuntu” 3Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu (130), n'azaala omwana ow'obulenzi amufaananira ddala mu byonna; n'amutuuma erinnya lye Seezi. 4Adamu yawangaala emyaka emirala lunaana (800) ng'amaze okuzaala Seezi. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala; 5Adamu n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu asatu (930).#Lub 3:19
6Seezi bwe yaweza emyaka kikumi mu etaano (105), n'azaala Enosi. 7Seezi n'awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu (807) ng'amaze okuzaala Enosi. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala; 8Seezi n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu kkumi n'ebiri (912).
9Enosi bwe yaweza emyaka kyenda (90), n'azaala Kenani. 10Enosi n'awangaala emyaka emirala lunaana mu kkumi n'etaano (815) ng'amaze okuzaala Kenani. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. 11Enosi n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu etaano (905).
12Kenani bwe yaweza emyaka nsanvu (70) n'azaala Makalaleri. 13Kenani n'awangaala emyaka emirala lunaana mu ana (840). Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. 14Kenani n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu kkumi (910). 15Makalaleri bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano (65) n'azaala Yaledi. 16Makalaleri n'awangaala emyaka emirala lunaana mu asatu (830) ng'amaze okuzaala Yaledi. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. 17Makalaleri n'afa ng'awezezza emyaka lunaana mu kyenda mu etaano (895).
18Yaledi bwe yaweza emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri (162) n'azaala Enoka.#Yud 14 19Yaledi n'awangaala emyaka emirala lunaana (800) ng'amaze okuzaala Enoka. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. 20Yaledi n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu nkaaga mu ebiri (962).
21Enoka bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano (65), n'azaala Mesuseera. 22Enoka bwe yamala okuzaala Mesuseera n'awangaala emyaka emirala bisatu (300), ng'atambulira wamu ne Katonda. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.#Lub 6:9; 17:1, 2 Bassek 20:3, Mi 6:8, Mal 2:6 23Enoka yawangaala emyaka bisatu mu nkaaga mu etaano (365). 24Enoka n'atambulira wamu ne Katonda, so n'atabeerawo; kubanga Katonda yamutwala.#2 Bassek 2:11, Beb 11:5
25Mesuseera bwe yaweza emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu (187) n'azaala Lameka. 26Mesuseera n'awangaala emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri (782). Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. 27Mesuseera n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu nkaaga mu mwenda (969).
28Lameka bwe yaweza emyaka kikumi mu kinaana mu ebiri (182), n'azaala omwana ow'obulenzi, 29n'amutuuma erinnya lye Nuuwa,#5:29: Nuuwa Mu Lwebbulaniya “Nuuwa” kitegeeza “ekiwummulo” oba “obuweerero.” ng'ayogera nti, “Ono ye alituleetera okuweerako mu mirimu gyaffe, ne mu kutegana kwaffe mu nsi Mukama gye yakolimira.”#Lub 3:17 30Lameka n'awangaala emyaka emirala bitaano mu kyenda mu etaano (595). Yazaala n'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 31Lameka n'afa ng'awezezza emyaka lusanvu mu nsanvu mu musanvu (777).
32Nuuwa nga awezeza emyaka bitaano (500), n'azaala Seemu, Kaamu, ne Yafeesi.
Trenutno odabrano:
Olubereberye 5: LBR
Istaknuto
Podijeli
Kopiraj
Želiš li svoje istaknute stihove spremiti na sve svoje uređaje? Prijavi se ili registriraj
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.