Olubereberye 5
5
1 #
Lub 1:26,27, 1 Byom 1:1, Luk 3:23-38 Kino kye kitabo eky'okuzaalibwa kwa Adamu. Olunaku Katonda lwe yatonderamu omuntu, mu kifaananyi kya Katonda mwe yamukolera; 2omusajja n'omukazi bwe yabatonda; n'abawa omukisa, n'abatuuma erinnya lyabwe Adamu ku lunaku lwe baatonderwamu. 3Adamu n'amala emyaka kikumi mu asatu, n'azaala omwana ow'obulenzi mu kifaananyi kye, mu ngeri ye; n'amutuuma erinnya lye Seezi: 4ennaku za Adamu bwe yamala okuzaala Seezi emyaka lunaana, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 5#Lub 3:19Ennaku zonna eza Adamu ze yamala ne ziba emyaka lwenda mu asatu; n'afa.
6Seezi n'amala emyaka kikumi mu ataano, n'azaala Enosi. 7Seezi n'awangaala bwe yamala okuzaala Enosi emyaka lunaana mu musanvu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala; 8ennaku zonna eza Seezi ne ziba emyaka lwenda mu kkumi n'ebiri; n'afa.
9Enosi n'amala emyaka kyenda, n'azaala Kenani: 10Enosi n'awangaala bwe yamala okuzaala Kenani emyaka lunaana mu kkumi n'etaano, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: 11ennaku zonna eza Enosi ne ziba emyaka lwenda mu etaano; n'afa.
12Kenani n'amala emyaka nsanvu, n'azaala Makalaleri: 13Kenani n'awangaala bwe yamala okuzaala Makalaleri emyaka lunaana mu ana, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: 14ennaku zonna eza Kenani ne ziba emyaka lwenda mu kkumi; n'afa.
15Makalaleri n'amala emyaka nkaaga mu etaano, n'azaala Yakedi: 16Makalaleri n'awangaala bwe yamala okuzaala Yaledi emyaka lunaana mu asatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: 17ennaku zonna eza Makalaleri ne ziba emyaka lunaana mu kyenda mu etaano; n'afa.
18 #
Yud 14
Yaledi n'amala emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri, n'azaala Enoka; 19Yaledi n'awangaala bwe yamala okuzaala Enoka emyaka lunaana, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: 20ennaku zonna eza Yaledi ne ziba emyaka lwenda mu nkaaga mu ebiri; n'afa.
21Enoka n'amala emyaka nkaaga mu etaano, n'azaala Mesuseera: 22#Lub 6:9; 17:1, 2 Bassek 20:3, Mi 6:8, Mal 2:6Enoka n'atambulira wamu ne Katonda bwe yamala okuzaala Mesuseera emyaka bisatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: 23ennaku zonna eza Enoka ne ziba emyaka bisatu mu nkaaga mu etaano: 24#2 Bassek 2:11, Beb 11:5Enoka n'atambulira wamu ne Katonda: so n'atabeerawo; kubanga Katonda yamutwala.
25Mesuseera n'amala emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu, n'azaala Lameka: 26Mesuseera n'awangaala bwe yamala okuzaala Lameka emyaka lusanvu mu kinaana mu ebiri, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: 27ennaku zonna eza Mesuseera ne ziba emyaka lwenda mu nkaaga mu mwenda; n'afa.
28Lameka n'amala emyaka kikumi mu kinaana mu ebiri, n'azaala omwana ow'obulenzi: 29#Lub 3:17n'amutuuma erinnya lye Nuuwa, ng'ayogera nti Ono ye alitusanyusa mu mulimu gwaffe ne mu kutegana okw'emikono gyaffe olw'ensi Mukama gye yakolimira. 30Lameka n'awangaala bwe yamala okuzaala Nuuwa emyaka bitaano mu kyenda mu etaano, n'azaala abaana ab'obulenzni n'ab'obuwala: 31ennaku zonna eza Lameka ne ziba emyaka lusanvu mu nsanvu mu musanvu; n'afa.
32Nuuwa yali nga yaakamala emyaka bitaano: Nuuwa n'azaala Seemu, Kaamu, ne Yafeesi.
Chwazi Kounye ya:
Olubereberye 5: LUG68
Pati Souliye
Pataje
Kopye
Ou vle gen souliye ou yo sere sou tout aparèy ou yo? Enskri oswa konekte
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.