ENTANDIKWA 14
14
Aburaamu adduukirira Looti
1Awo mu mirembe gya Amurafeeli, kabaka w'e Sinaari, ne Ariyooki, kabaka w'e Elasaari, ne Kedolawomeeri, kabaka w'e Elamu, ne Tidali, kabaka w'e Goyiimu, 2bakabaka abo ne balwanagana ne Bera, kabaka wa Sodoma, ne Birusa, kabaka w'e Gomora, ne Sinaabu, kabaka w'e Aduma, ne Semeberi, kabaka w'e Zeboyiimu, era ne kabaka w'e Bela, oba Zowari. 3Abo bonna ne beegattira mu kiwonvu ky'e Siddimu, kati ye Nnyanja y'Omunnyo. 4Baali bafugibwa Kedolawomeeri, okumala emyaka kkumi n'ebiri. Mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu ne bajeema. 5Mu mwaka ogw'ekkumi n'ena, Kedolawomeeri ne bakabaka abaali awamu naye, ne bajja, ne bawangulira Abareefa mu Asitarootikarunayimu, n'Abazuuzi mu Haamu, n'Abeemi, mu Savekiriyatayimu, 6n'Abahoori ku lusozi lwabwe Seyiri, ne babagoba okutuuka mu Eluparani, ekiri okumpi n'eddungu. 7Olwo ne bakyuka, ne balaga e Enumisapaati (kati ye Kadesi), ne bawangula ensi yonna ey'Abamaleki n'ey'Abaamori, ababeera mu Hazazonutamari.
8Awo bakabaka ow'e Sodoma n'ow'e Gomora, n'ow'e Aduma, n'ow'e Zeboyiimu, n'ow'e Bela oba Zowari, ne bategekera wamu olutalo, mu kiwonvu Siddimu, okulwanyisa 9bakabaka: Kedolawomeeri ow'e Elamu, Tidali ow'e Goyiimu, Amurafeeli ow'e Sinaari, ne Ariyooki ow'e Elisaari, bakabaka bano abana nga balwanyisa bali abataano. 10Ekiwonvu ky'e Siddimu kyali kijjudde obunnya obw'ebitosi. Awo bakabaka b'e Sodoma ne Gomora bwe badduka, ne bagwa omwo. Abalala abaasigalawo ne baddukira ku lusozi. 11Bakabaka bali abana ne banyaga ebintu byonna mu Sodoma ne Gomora nga mw'otwalidde n'ebyokulya byonna, ne bagenda. 12Looti mutabani wa muganda wa Aburaamu, yabeeranga mu Sodoma. Era naye ne bamunyaga awamu n'ebintu bye byonna.
13Awo omuntu omu eyawonawo, n'ajja n'abuulira Aburaamu Omwebureeyi, eyabeeranga okumpi n'emivule gya Mamure Omwamori, muganda wa Esukooli ne Aneri, abaali bakolagana obulungi ne Aburaamu. 14Aburaamu bwe yawulira nga baanyaga omwana wa muganda we, n'agenda n'abasajja ab'omu maka ge, abaatendekebwa mu by'okulwana, bonna nga bawera ebikumi bisatu mu kkumi na munaana, n'awondera bakabaka abana okutuuka e Daani. 15N'agabanyaamu basajja be mu bibinja, n'alumba abalabe ekiro, n'abawangula, n'abawondera okutuuka e Koba, mu bukiikakkono obwa Damasiko. 16N'akomyawo ebintu byonna bye baali banyaze, era n'akomyawo ne Looti, omwana wa muganda we, n'ebintu bye, n'abakazi n'abasibe abalala.
Melikizeddeki asabira Aburaamu omukisa
17Aburaamu bwe yakomawo, ng'amaze okutta Kedolawomeeri, ne bakabaka abalala abaali naye, kabaka w'e Sodoma n'ajja okumusisinkana mu Kiwonvu ky'e Save (era ekiyitibwa Ekiwonvu kya Kabaka). 18Ne Melikizeddeki, kabaka w'e Saalemu, era kabona wa Katonda Atenkanika, n'aleeta omugaati n'omwenge ogw'emizabbibu,#Laba ne Beb 7:1-10 19n'asabira Aburaamu omukisa ng'agamba nti:
“Katonda Atenkanika
eyakola eggulu n'ensi,
awe Aburaamu omukisa.
20Era Katonda Atenkanika,
eyakusobozesa okuwangula abalabe bo,
atenderezebwe!”
Aburaamu n'awa Melikizeddeki ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'omunyago gwonna.
21Kabaka w'e Sodoma n'agamba Aburaamu nti: “Sigaza ebintu, naye ompe abantu bange bonna.”
22Aburaamu n'addamu kabaka w'e Sodoma nti: “Ngolola omukono gwange eri Katonda Atenkanika eyakola eggulu n'ensi, 23ne ndayira nti: ‘Sijja kutwala kintu kyo na kimu, wadde akaguwa oba akakoba akasiba engatto,’ oleme okugamba nti: ‘Nze nagaggawaza Aburaamu!’ 24Nze sijja kutwala kintu kyo na kimu, wabula ebyo abavubuka bye balidde, n'omugabo gwa Aneri, Esukooli, ne Mamure, abaagenda nange. Abo bafune omugabo gwabwe.”
Currently Selected:
ENTANDIKWA 14: LB03
Tya elembo
Share
Copy
Olingi kobomba makomi na yo wapi otye elembo na baapareyi na yo nyonso? Kota to mpe Komisa nkombo
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: