ENTANDIKWA 15
15
Katonda akola endagaano ne Aburaamu
1Ebyo bwe byaggwa, Aburaamu n'alabikirwa, n'awulira Mukama ng'amugamba nti: “Aburaamu totya, ndikuwonya akabi, era ndikuwa empeera ennene ennyo.” 2Aburaamu, n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda, ky'olimpa kiringasa ki, nga sirina mwana? Omusika wange ye Eliyezeeri ow'e Damasiko! 3Nze tewampa mwana, era omuddu eyazaalibwa mu maka gange ye musika wange!”
4Olwo n'awulira nga Mukama amugamba nti: “Omuddu oyo si ye aliba omusika wo, naye omwana gw'olizaala ggwe wennyini ye alikusikira.” 5Awo Mukama n'atwala Aburaamu ebweru, n'agamba nti: “Tunuulira eggulu, obale emmunyeenye, bw'oba ng'oyinza okuzibala.” Era n'amugamba nti: “N'ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo obungi.”#Laba ne Bar 4:18; Beb 11:12
6Aburaamu n'akkiriza Mukama. Olw'ekyo Mukama n'amubala nga mutuukirivu.#Laba ne Bar 4:3; Bag 3:6; Yak 2:23 7N'amugamba nti: “Nze Mukama eyakuggya mu Wuuri eky'Abakaludaaya, okukuwa ensi eno ebe yiyo.” 8Aburaamu n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda, nnaamanyira ku ki ng'eriba yange?”
9Mukama n'agamba nti: “Ndeetera ente ennyana, n'embuzi enduusi, n'endiga eya sseddume, nga zonna za myaka esatu, era leeta ejjiba n'enjiibwa ento.”
10Aburaamu n'amuleetera ebyo byonna. Ensolo n'azitemamu wakati, ebitundu n'abiteeka bibiri bibiri, nga bitunuuliganye. Naye ennyonyi n'atazitemamu. 11Ensega ne zikka ne zigwa ku nnyama, Aburaamu n'azigoba.
12Enjuba bwe yali ng'egwa, Aburaamu n'akwatibwa otulo tungi, era n'ajjirwa entiisa olw'enzikiza ekutte.#Laba ne Yob 4:13,14 13Awo Mukama n'agamba nti: “Manyira ddala nga bazzukulu bo baliba bagwira mu nsi eteri yaabwe, era balifugirwayo n'obukambwe okumala emyaka ebikumi bina.#Laba ne Kuv 1:1-14; Bik 7:6 14Naye ndibonereza eggwanga eryo eriribafuga obuddu, olwo ne balivaamu nga balina ebintu bingi.#Laba ne Kuv 12:40-41; Bik 7:7 15Naye ggwe, bw'olimala okuwangaala obulungi, olifa mirembe, n'oziikibwa. 16Bazzukulu bo balikomawo wano, mu mulembe ogwokuna, kubanga obwonoonyi bw'Abaamori tebunnayitirira.”
17Awo enjuba bwe yamala okugwa, nga n'ekizikiza kikutte, ekikoomi ekinyooka n'omumuli ogwaka ne birabika nga biyita wakati w'ebitundu by'ensolo. 18Ku lunaku olwo, Mukama n'akola endagaano ne Aburaamu, n'agamba nti: “Ezzadde lyo ndiwadde ensi eno, okuva ku mugga gw'e Misiri, okutuuka ku mugga omunene Ewufuraate,#Laba ne Bik 7:5 19ng'otwaliddemu ensi z'Abakeeni, n'Abakenezi, n'Abakadumooni, 20n'Abahiiti, n'Abaperizi, n'Abareefa, 21n'Abaamori, n'Abakanaani, n'Abagirugaasi, n'Abayebusi.”
Currently Selected:
ENTANDIKWA 15: LB03
Tya elembo
Share
Copy
Olingi kobomba makomi na yo wapi otye elembo na baapareyi na yo nyonso? Kota to mpe Komisa nkombo
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: