LUKKA 20
20
Yesu bamubuuza ku buyinza bwe
(Laba ne Mat 21:23-27; Mak 11:27-33)
1Awo, ku lunaku olumu, Yesu bwe yali mu Ssinzizo ng'ayigiriza abantu, era ng'abategeeza Amawulire Amalungi, bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, wamu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bajja, 2ne bamugamba nti: “Tubuulire, olina buyinza bwa ngeri ki okukola ebintu bino? Era ani yakuwa obuyinza obwo?” 3Yesu n'abaddamu nti: “Nange ka mbabuuze ekibuuzo. Mumbuulire, 4ani yatuma Yowanne okubatiza, Katonda oba bantu?”
5Awo bo ne bakubaganya ebirowoozo nti: “Singa tugamba nti Katonda ye yamutuma, ajja kutubuuza nti lwaki Yowanne oyo temwamukkiriza? 6Ate singa tugamba nti abantu be baamutuma, abantu bonna bajja kutukuba amayinja, kubanga bakkiririza ddala nti Yowanne mulanzi.” 7Awo ne baddamu nti: “Tetumanyi yamutuma.” 8Ne Yesu n'abagamba nti: “Nange sijja kubabuulira buyinza bwe nnina kukola bintu bino.”
Olugero lw'abapangisa mu nnimiro y'emizabbibu
(Laba ne Mat 21:33-46; Mak 12:1-12)
9Awo Yesu n'agerera abantu olugero luno nti: “Waaliwo omuntu eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agissaamu abapangisa, n'alaga mu nsi ey'ewala, n'alwayo.#Laba ne Yis 5:1 10Ekiseera eky'amakungula bwe kyatuuka, n'atuma omuddu eri abapangisa, bamuwe ku bibala by'ennimiro y'emizabbibu. Kyokka abapangisa ne bamukuba, ne bamugoba nga tebamuwadde kantu. 11N'ayongera okutuma omuddu omulala. N'oyo ne bamukuba ne bamuswazaswaza, ne bamugoba nga tebamuwadde kantu. 12N'ayongera okutuma omuddu owookusatu. N'ono ne bamussaako ebiwundu, ne bamusuula ebweru. 13Awo nnannyini nnimiro y'emizabbibu n'agamba nti: ‘Kiki kye nnaakola? Nja kutuma omwana wange omwagalwa, mpozzi ye banaamussaamu ekitiibwa.’ 14Kyokka abapangisa bwe baamulaba, ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika. Tumutte, obusika bube bwaffe.’ 15Awo ne bamufulumya ebweru w'ennimiro y'emizabbibu, ne bamutta. Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu alibakola atya? 16Alijja n'azikiriza abapangisa abo, era ennimiro y'emizabbibu n'agissaamu abalala.”
Bwe baawulira ebyo ne bagamba nti: “Ekyo kireme kubaawo!” 17Kyokka Yesu n'abatunuulira, n'agamba nti: “Kale kino ekyawandiikibwa kitegeeza ki?
‘Ejjinja abazimbi lye baagaana,
lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro.’#Laba ne Zab 118:22
18Buli agwa ku jjinja eryo, alimenyekamenyeka, era oyo gwe ligwako, lirimubetenta.”
Ebifa ku kuwa omusolo
(Laba ne Mat 22:15-22; Mak 12:13-17)
19Awo abannyonnyozi b'amateeka ne bakabona abakulu ne bagezaako okukwata Yesu mu kaseera ako, kubanga baamanya nti olugero olwo yalugera nga lukwata ku bo, kyokka ne batya abantu. 20Bwe baali bakyalindirira akaseera akalala, ne batuma abakessi beefuule ng'abantu abalungi, bamukwase mu bigambo by'anaayogera, balyoke bamuweeyo eri omufuzi Omurooma. 21Abakessi bano ne bamugamba nti: “Muyigiriza, tumanyi nti by'oyogera ne by'oyigiriza bituufu, era tososola mu bantu, naye abantu obayigiriza mu mazima ebyo Katonda by'ayagala bakole. 22Kaakati ssebo, tubuulire: tukkirizibwa okuwa Kayisaari omusolo, oba tetukkirizibwa?”
23Kyokka Yesu n'ategeera olukwe lwabwe, n'abagamba nti: 24“Mundage essente. Ekifaananyi n'amannya ebiriko by'ani?” Ne bagamba nti: “Bya Kayisaari.” 25Yesu n'abagamba nti: “Awo nno ebya Kayisaari mubiwe Kayisaari, n'ebya Katonda mubiwe Katonda.”
26Ne batasobola kumukwasa mu kintu na kimu kye yayogera mu maaso g'abantu. Ne beewuunya ky'azzeemu, ne basirika.
Ebifa ku kuzuukira
(Laba ne Mat 22:23-33; Mak 12:18-27)
27Awo Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti:#Laba ne Bik 23:8 28“Muyigiriza, Musa yatuwandiikira ekiragiro nti: ‘Singa omuntu afa, n'aleka nnamwandu, kyokka n'ataleka mwana, muganda w'omufu ateekwa okuwasa nnamwandu oyo, alyoke azaalire muganda we abaana.’#Laba ne Ma 25:5 29Kale waaliwo abooluganda musanvu. Omubereberye n'awasa, kyokka n'afa nga talese mwana. 30N'owookubiri n'awasa nnamwandu oyo. 31Era n'owookusatu bw'atyo. Bonna omusanvu baamuwasa, ne bafa nga tebalese mwana. 32Oluvannyuma, omukazi naye n'afa. 33Kale ku lunaku olw'okuzuukira, omukazi oyo aliba muk'ani, nga bonna omusanvu baamuwasa?” 34Awo Yesu n'abagamba nti: “Abantu ab'oku nsi bawasa era bafumbirwa. 35Naye abo abalisaanyizibwa okuba mu mulembe ogwo, n'okuzuukira mu bafu, baliba tebakyawasa era nga tebakyafumbirwa, 36“kubanga baliba tebakyayinza kufa nate. Baliba nga bamalayika, era baliba baana ba Katonda olw'okuba baliba bazuukidde. 37Ne Musa alaga nti abafu bazuukira, kubanga mu kitundu ekifa ku kisaka, ayogera ku Mukama nti Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo.#Laba ne Kuv 3:6 38Katonda si wa bafu wabula wa balamu, kubanga bonna eri Katonda balamu.”
39Abamu ku bannyonnyozi b'amateeka ne baddamu nti: “Muyigiriza, oyogedde bulungi.” 40Baayogera batyo kubanga tewaali yaguma kwongera kumubuuza bibuuzo.
Kristo ne Dawudi
(Laba ne Mat 22:41-46; Mak 12:35-37)
41Awo Yesu n'abagamba nti: “Bayinza batya okugamba nti Kristo muzzukulu wa Dawudi? 42Dawudi yennyini mu kitabo kya Zabbuli, agamba nti:
‘Katonda yagamba Mukama wange nti
tuula ng'onninaanye,
ku ludda lwange olwa ddyo,#Laba ne Zab 110:1
43okutuusa lwe ndifuula abalabe bo
ekirinnyibwako ebigere byo.’
44Oba nga Dawudi amuyita Mukama we, ate olwo ayinza atya okuba muzzukulu we?”
Okwekuuma abannyonnyozi b'amateeka
(Laba ne Mat 23:1-36; Mak 12:38-40)
45Abantu bonna nga bawulira, Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: 46“Mwekuume abannyonnyozi b'amateeka abaagala okutambula nga bambadde engoye empanvu ezikweya, era abaagala okulamusibwa mu butale, n'okutuula mu bifo eby'oku manjo mu makuŋŋaaniro, ne mu bifo ebyekitiibwa ku mbaga, 47era abanyaga ebintu byonna mu mayumba ga bannamwandu, era abasinza Katonda mu bigambo ebingi olw'okweraga. Baliweebwa ekibonerezo ekisinga obunene.”
Currently Selected:
LUKKA 20: LB03
Tya elembo
Share
Copy
Olingi kobomba makomi na yo wapi otye elembo na baapareyi na yo nyonso? Kota to mpe Komisa nkombo
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.