Olubereberye 1
1
Ebyafaayo ebyasooka
(1:1—11:26)
Obutonzi
(1:1—2:3)
1Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n'ensi.#Yob 38:4-7, Is 42:5; 45:12,18, Yok 1:3, Bak 1:16, Beb 1:10; 11:3, Kub 4:11 2Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde; n'ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, n'Omwoyo gwa Katonda nga guseeyeeya ku ngulu ku mazzi.#Yer 4:23 3Katonda n'ayogera nti, “Wabeewo ekitangaala.” Ne wabaawo ekitangaala.#2 Kol 4:6 4Katonda n'alaba ng'ekitangaala kyali kirungi; Katonda n'ayawula ekitangaala ku kizikiza. 5Katonda ekitangaala n'akiyita emisana, n'ekizikiza n'akiyita ekiro. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwolubereberye.
6Katonda n'ayogera nti, “Wabeewo ebbanga wakati mu mazzi, lyawule amazzi n'amazzi.”#Yob 37:18, Zab 33:6, Yer 10:12 7Katonda n'assaawo ebbanga n'ayawula amazzi agali wansi w'ebbanga n'amazzi agali waggulu mu bbanga; era ne kiba bwe kityo. 8Katonda ebbanga n'aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokubiri.
9Katonda n'ayogera nti, “Amazzi agali wansi w'eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, olukalu lulabike.” Era ne kiba bwe kityo.#Yob 38:8,10,11, Zab 33:7; 95:5, Yer 5:22 10Katonda olukalu n'aluyita ensi, n'ekkuŋŋaaniro ly'amazzi n'aliyita ennyanja. Katonda n'alaba nga birungi. 11Katonda n'ayogera nti, “Ensi emere ebimera: ebimera ebizaala ensigo, n'emiti egy'ebibala ebya buli ngeri ku nsi egizaala ebibala ebirimu ensigo.” Era ne kiba bwe kityo.#Zab 104:14 12Ensi n'emera ebimera, ebimera ebizaala ensigo eza buli ngeri, n'emiti egya buli ngeri egizaala ebibala ebirimu ensigo. Katonda n'alaba nga kyali kirungi. 13Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokusatu.
14Katonda n'ayogera nti, “Wabeewo ebyaka mu bbanga ery'eggulu, byawulenga emisana n'ekiro, era bireteewo obubonero n'ebiro n'ennaku n'emyaka; 15era bibe ebyaka mu bbanga ery'eggulu, okuwa ekitangaala ku nsi.” Era ne kiba bwe kityo. 16Katonda n'akola ebyaka bibiri ebinene; ekyaka ekisinga obunene okufuganga emisana, n'ekyaka ekitono okufuganga ekiro, era n'akola n'emmunyeenye.#Zab 136:7-9 17Katonda n'abiteeka mu bbanga ery'eggulu byakenga ku nsi, 18bifugenga emisana n'ekiro, era byawulenga ekitangaala n'ekizikiza. Katonda n'alaba nga kyali kirungi.#Yer 31:35 19Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokuna.
20Katonda n'ayogera nti, “Amazzi gazaale ebitonde ebiramu bingi nnyo, era n'ebinyonyi bibuuke waggulu ku nsi mu bbanga.” 21Katonda n'atonda balukwata abanene, na buli kitonde ekiramu ekyewalula, amazzi kye gaazaala mu ngeri zaakyo, na buli ekibuuka ekirina ebyoya mu ngeri yaakyo. Katonda n'alaba nga kyali kirungi.#Zab 104:14 22Katonda n'abiwa omukisa n'ayogera nti, “Mweyongere mwale, mujjuze amazzi ag'omu nnyanja, era n'ebinyonyi byeyongere mu nsi.” 23Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokutaano.
24Katonda n'ayogera nti, “Ensi ereete ebirina obulamu ebya buli ngeri: ente n'ebyewalula, n'ensolo ez'omu nsiko eza buli ngeri.” Era ne kiba bwe kityo. 25Katonda n'akola ensolo ez'omu nsiko eza buli ngeri, n'ente eza buli ngeri, na buli ekyewalula ku nsi ekya buli ngeri. Katonda n'alaba nga kyali kirungi. 26Awo Katonda n'ayogera nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe, mu ngeri yaffe, afugenga eby'omu nnyanja n'ebinyonyi eby'omu bbanga, n'ente, n'ensolo ez'omu nsiko, na buli ekyewalula ku nsi.”#Lub 3:22; 5:1; 9:6; 11:7, Zab 8:6-8, Is 6:8, Yak 3:7,9, Mal 2:14,15, Mat 19:4, Mak 10:6, 1 Kol 11:7, Bef 4:24, Bak 3:10 27Bw'atyo Katonda n'atonda omuntu mu kifaananyi kye, mu kifaananyi kya Katonda mwe yabatondera; omusajja n'omukazi bwe yabatonda.#Mal 2:14,15, Mat 19:4, Mak 10:6, 1 Kol 11:7, Bef 4:24, Bak 3:10
28Katonda n'abawa omukisa, era Katonda n'abagamba nti, “Mweyongerenga mwalenga, mujjuze ensi mugifuge; mufugenga eby'omu nnyanja n'ebinyonyi eby'omu bbanga, na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi.”#Lub 9:1,7, Leev 26:9, 1 Tim 4:3 29Katonda n'ayogera nti, “Laba, mbawadde buli kimera eky'ensigo ekiri ku nsi, na buli muti ogubala ekibala ekirimu ensigo, binaabanga mmere yammwe.#Yob 36:31, Zab 104:14,15; 145:15,16 30N'eri buli nsolo ey'oku nsi, na buli kinyonyi eky'omu bbanga, na buli ekyewalula ku nsi, ekirimu omukka omulamu, mbiwadde buli kimera okuba emmere.” Era ne kiba bwe kityo.#Zab 104:27-28; 147:9, Dan 10:4 31Katonda n'alaba buli kye yali akoze; era, laba, nga kyali kirungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwomukaaga.#Zab 104:24, 1 Tim 4:4
Селектирано:
Olubereberye 1: LBR
Нагласи
Сподели
Копирај
Дали сакаш да ги зачуваш Нагласувањата на сите твои уреди? Пријави се или најави се
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.