Yokaana 8

8
1 # Luk 21:37 Naye Yesu n'agenda ku lusozi olwa Zeyituuni. 2N'akeera mu makya n'ajja nate mu yeekaalu, abantu bonna ne bajja gy'ali; n'atuula, n'abayigiriza. 3Abawandiisi n'Abafalisaayo ne baleeta omukazi gwe bakutte ng'ayenda; ne bamussa wakati, 4ne bamugamba nti Omuyigiriza, omukazi ono bamukutte ng'ayenda bamusisinkanirizza. 5#Leev 20:10, Ma 22:22-24Naye mu mateeka Musa yatulagira okubakubanga amayinja abakola bwe batyo: kale ggwe oyogera otya ku ye? 6#Mat 22:15Baayogera bati nga bamukema, babe n'ekigambo kye banaamuloopa. Naye Yesu n'akutama, n'awandiika n'engalo ku ttaka. 7#Ma 17:7Naye bwe baayongera okumubuuza, ne yeegolola n'abagamba nti Mu mmwe atayonoonangako, asooke okumukuba ejjinja. 8N'akutama nate, n'awandiika n'engalo ku ttaka. 9#Mat 22:22, Bar 2:22Nabo bwe baawulira ne bafuluma ebweru musoolesoole, abakadde be baasooka, okutuusa ku b'enkomerero: Yesu n'asigalawo yekka, n'omukazi we yali wakati. 10Yesu ne yeegolola, n'amugamba nti Omukyala, bazze wa? tewali asaze kukusinga? 11#Yok 5:14Naye n'agamba nti Mpaawo muntu, Mukama wange. Yesu n'agamba nti Nange sisala kukusinga: genda; okusooka leero toyonoonanga lwa kubiri.]
12 # Is 49:6, Yok 1:5,9; 12:46 Awo Yesu n'ayogera nabo nate, n'agamba nti Nze musana gw'ensi: angoberera taatambulirenga mu kizikiza, naye anaabanga n'omusana ogw'obulamu. 13Awo Abafalisaayo ne bamugamba nti Ggwe weetegeeza wekka; okutegeeza kwo si kwa mazima. 14#Yok 5:31Yesu n'addamu n'abagamba nti Newakubadde nga nneetegeeza nzekka, okutegeeza kwange kwa mazima; kubanga mmanyi gye nnava, ne gye ŋŋenda; naye mmwe temumanyi gye nva, newakubadde gye ŋŋenda. 15#Yok 7:24; 12:47Mmwe musala omusango ng'omubiri bwe guli; nze sisalira muntu musango. 16#Yok 8:29Naye newakubadde nga nze nsala omusango, okusala kwange kwa mazima; kubanga nze siri omu, naye nze ne Kitange eyantuma. 17#Ma 17:6; 19:15Era naye ne mu mateeka gammwe kyawandiikibwa nti okutegeeza kw'abantu ababiri kwa mazima. 18#Yok 14:7Nze nneetegeeza nzekka, ne Kitange eyantuma ategeeza ebyange. 19Awo ne bamugamba nti Kitaawo ali ludda wa? Yesu n'addamu nti Nze temummanyi, newakubadde Kitange. Singa mummanyi nze, ne Kitange mwandimumanye. 20#Yok 7:30; 13:1, Luk 22:53Ebigambo ebyo yabyogerera mu ggwanika, bwe yali ng'ayigiriza mu yeekaalu: so tewaali eyamukwata, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka.
21 # Yok 7:34; 13:33 Awo n'abagamba nate nti Nze ŋŋenda, nammwe mulinnoonya, mulifiira mu kibi kyammwe: nze gye ŋŋenda, mmwe temuyinza kujjayo. 22#Yok 7:35Awo Abayudaaya ne bagamba nti Anetta, kubanga agamba nti Nze gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo? 23#Yok 3:31N'abagamba nti Mmwe muli ba wansi; nze ndi wa waggulu mmwe muli ba mu nsi muno; nze siri wa mu nsi muno. 24Kyennava mbagamba nti Mulifiira mu bibi byammwe. Kubanga bwe mutakkiriza nga nze wuuyo, mulifiira mu bibi byammwe. 25#Yok 8:14Awo ne bamugamba nti Ggwe ani? Yesu n'abagamba nti Nga bwe nnabagambanga okuva ku lubereberye. 26#Yok 8:38; 12:49Nnina bingi eby'okuboogerako n'okubasalira omusango; naye oli eyantuma ye wa mazima; nange bye nnawulira gy'ali bye biibyo bye njogera eri ensi. 27Tebaategeera ng'abagambye ku Kitaffe. 28#Yok 3:14; 12:32Awo Yesu n'agamba nti Bwe mulimala okuwanika Omwana w'omuntu ne mulyoka mutegeera nga nze wuuyo, so nze siriiko kye nkola ku bwange, naye nga Kitange bwe yanjigiriza, bwe njogera bwe ntyo. 29#Yok 8:16, Mat 27:46N'oli eyantuma ali nange; Kitange tandekanga nzekka; kubanga nkola bulijjo by'asiima. 30#Yok 7:31; 10:42; 12:11Bwe yayogera ebigambo ebyo, abantu bangi ne bamukkiriza.
31Awo Yesu n'agamba Abayudaaya bali abaamukkiriza nti Bwe munywerera mu kigambo kyange, nga muli bayigirizwa bange ddala; 32era mulitegeera amazima, n'amazima galibafuula ba ddembe. 33#Mat 3:9, Nek 9:36Ne bamuddamu nti Ffe tuli zzadde lya Ibulayimu, so tetufugibwanga muntu yenna: oyogera otya ggwe nti Mulifuuka ba ddembe? 34#Bar 6:16,20, 1 Yok 3:8Yesu n'abaddamu nti Ddala ddala mbagamba nti Buli muntu yenna akola ebibi, ye muddu w'ekibi. 35#Bag 4:30Omuddu tabeerera mu nnyumba mirembe na mirembe: omwana abeerera emirembe n'emirembe. 36#Bar 6:18,22Kale Omwana bw'alibafuula ab'eddembe, muliba ba ddembe ddala. 37Mmanyi nti muli zzadde lya Ibulayimu: naye musala amagezi okunzita, kubanga ekigambo kyange tekyeyabya mu mmwe. 38Nze njogera bye nnalaba eri Kitange: kale nammwe mukola bye mwawulira eri kitammwe. 39Ne baddamu ne bamugamba nti Ibulayimu ye kitaffe. Yesu n'abagamba nti Singa mubadde baana ba Ibulayimu, mwandikoze ebikolwa bya Ibulayimu. 40Naye kaakano musala amagezi okunzita omuntu ababuulidde eby'amazima, bye nnawulira eri Katonda: Ibulayimu teyakola bw'atyo. 41Mmwe mukola emirimu gya kitammwe. Ne bamugamba nti Ffe tetuli baana beebolereze; tulina Kitaffe omu, ye Katonda. 42Yesu n'abagamba nti Singa Katonda ye Kitammwe, mwandinjagadde nze: kubanga nnava eri Katonda, ne njija, so sajja ku lwange nzekka, naye oyo ye yantuma. 43Kiki ekibalobedde okutegeera enjogera yange? Kubanga temuyinza kuwulira kigambo kyange. 44Mmwe muli ba kitammwe Setaani, era mwagala okukola okwegomba kwa kitammwe. Oyo okuva ku lubereberye ye mussi, so teyanywerera mu mazima, kubanga amazima tegaali mu ye. Bw'ayogera obulimba, ayogera ekiva mu bibye; kubanga ye mulimba era kitaawe w'obulimba. 45Naye kubanga njogera amazima, temunzikiriza. 46Ani ku mmwe annumiriza ekibi? Bwe njogera amazima kiki ekibalobedde okunzikiriza? 47Owa Katonda awulira ebigambo bya Katonda: mmwe kyemuva mulema okuwulira, kubanga temuli ba Katonda. 48Abayudaaya ne baddamu ne bamugamba nti Tetwogera bulungi ffe nti Ggwe oli Musamaliya, era oliko dayimooni? 49Yesu n'addamu nti Siriiko dayimooni; naye nze nzisaamu ekitiibwa Kitange, nammwe temunzisaamu kitiibwa. 50Naye nze sinoonya kitiibwa kyange; w'ali anoonya era asala omusango. 51Ddala ddala mbagamba nti Omuntu bw'akwata ekigambo kyange taliraba kufa emirembe n'emirembe. 52Abayudaaya ne bamugamba nti Kaakano tutegedde ng'oliko dayimooni. Ibulayimu yafa ne bannabbi; naawe ogamba nti Omuntu bw'akwata ekigambo kyange, talirega ku kufa emirembe n'emirembe. 53#Yok 4:12Ggwe mukulu okukira jjajjaffe Ibulayimu eyafa? ne bannabbi baafa: weeyita ani? 54Yesu n'addamu nti Bwe nneegulumiza nzekka, okugulumira kwange kuba kwa busa: angulumiza ye Kitange: mmwe gwe mwogerako nti ye Katonda wammwe: 55#Yok 7:28so temumutegeera nga: naye nze mmumanyi; bwe nnaagamba nti Simumanyi, nnaafaanana nga mmwe, mulimba: naye mmumanyi, era nkwata ekigambo kye. 56Ibulayimu jjajjammwe yasanyuka okulaba olunaku lwange; n'alulaba n'asanyuka. 57Awo Abayudaaya ne bamugamba nti Tonnaba kuweza myaka makumi ataano, naye Ibulayimu wamulaba? 58Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu nga tannaba kuzaalibwa, nze nga wendi. 59#Yok 10:31Awo ne baddira amayinja okumukuba: naye Yesu ne yeekweka, n'afuluma mu yeekaalu.

Одоогоор Сонгогдсон:

Yokaana 8: LUG68

Тодруулга

Хуваалцах

Хувилах

None

Тодруулсан зүйлсээ бүх төхөөрөмждөө хадгалмаар байна уу? Бүртгүүлэх эсвэл нэвтэрнэ үү