Yokaana 10
10
1Ddala ddala mbagamba nti Atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, naye n'alinnyira awalala, oyo ye mubbi era omunyazi. 2Naye ayita mu mulyango, ye musumba w'endiga. 3Oyo omuggazi amuggulirawo; n'endiga zimuwulira eddoboozi: aziyita endiga ze amannya; azifulumya ebweru. 4Bw'amala okufulumya ezize zonna, azikulembera, n'endiga zimugoberera: kubanga zimumanyi eddoboozi. 5#Yok 10:27Omulala tezirimugoberera, naye zirimudduka buddusi: kubanga tezimanyi ddoboozi lya balala. 6#Yok 16:25Yesu n'abagerera olugero luno, naye bo tebaategeera bigambo bwe biri bye yabagamba.
7 #
Zab 118:20, Yok 14:6, Mat 7:13,14 Awo Yesu n'abagamba nate nti Ddala ddala mbagamba nti Nze mulyango gw'endiga. 8#Yer 23:1,2Bonna abansooka baali babbi era abanyazi: naye endiga tezaabawulira. 9#Zab 118:20, Yok 14:6, 1 Kol 2:15Nze mulyango: omuntu bw'ayingirira mu nze alirokoka, aliyingira, alifuluma, aliraba eddundiro. 10Omubbi tajja wabula okubba, n'okutta, n'okuzikiriza. Nze najja zibe n'obulamu, era zibe nabwo obungi. 11#Zab 23:1, Luk 15:4-7, Is 40:11, Ez 34:11-23; 37:24, Yok 15:13Nze musumba omulungi: omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw'endiga. 12#Mat 10:16, Bik 20:29, Tit 1:11, 1 Peet 5:2,3Alundirira empeera, atali musumba, endiga nga si zize ye, bw'alaba omusege nga gujja, aleka endiga n'adduka, n'omusege guzisikula guzisaasaanya. 13Adduka kubanga wa mpeera, so endiga tazissaako mwoyo. 14#2 Tim 2:19Nze musumba omulungi: era ntegeera ezange, n'ezange zintegeera 15#Mat 11:27nga Kitange bw'antegeera, nange bwe ntegeera Kitange; nange mpaayo obulamu bwange olw'endiga. 16#Ez 37:24; 34:23, Yok 11:52, 1 Peet 2:25, Bef 4:5Era nnina n'endiga endala ezitali za mu kisibo kino: nazo kiŋŋwanira okuzireeta, ziriwulira eddoboozi lyange; era ziriba ekisibo kimu, omusumba omu. 17#Baf 2:8,9Kitange kyava anjagala, kubanga nze mpaayo obulamu bwange, ndyoke mbutwale ate. 18#Yok 5:26; 19:11Tewali abunziyako, naye nze nzekka mbuwaayo. Nnina obuyinza obw'okubuwaayo, era nnina obuyinza obw'okubutwala nate. Ekiragiro ekyo nakiweebwa Kitange.
19 #
Yok 7:43; 9:16 Ne wabaawo nate okwawukana mu Bayudaaya olw'ebigambo ebyo. 20#Yok 7:20; 8:48, Mak 3:21Abamu ku bo bangi ne bagamba nti Aliko dayimooni era alaluse; mumuwulirira ki? 21Abalala ne bagamba nti Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni ayinza okuzibula amaaso ga bamuzibe?
22Yali mbaga ey'okutukuza mu Yerusaalemi; byali biro bya mpewo; 23#Bik 3:11; 5:12Yesu n'atambulira mu yeekaalu mu kisasi kya Sulemaani. 24#Luk 22:67Awo Abayudaaya ne bamwetooloola, ne bamugamba nti Olituusa wa okutubuusisabuusisa? Oba nga ggwe Kristo, tubuulirire ddala. 25#Yok 4:26; 5:36; 9:37Yesu n'abaddamu nti Nnabagamba, naye temukkiriza: emirimu gye nkola mu linnya lya Kitange, gye gintegeeza nze. 26#Yok 6:64; 8:45Naye mmwe temukkiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange. 27#Yok 8:47; 10:3,4Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nange nzitegeera, era zingoberera; 28#Yok 5:28; 6:39; 17:12; 18:9nange nziwa obulamu obutaggwaawo; so teziribula emirembe n'emirembe, so tewali alizisikula mu mukono gwange. 29Kitange eyazimpa ye mukulu okusinga bonna, so tewali ayinza okuzisikula mu mukono gwa Kitange. 30Nze ne Kitange tuli omu. 31#Yok 8:59Abayudaaya ne baddira nate amayinja okumukuba. 32Yesu n'abaddamu nti Emirimu mingi emirungi egyava eri Kitange nagibalaga mmwe; mulimu guluwa mu egyo ogubankubya amayinja? 33#Yok 5:18, Mat 26:65Abayudaaya ne bamuddamu nti Olw'omulimu omulungi tetukukuba mayinja, naye olw'okuvvoola; era kubanga ggwe oli muntu ne weefuula Katonda. 34#Zab 82:6Yesu n'abaddamu nti Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti Nze nnagamba nti Muli bakatonda? 35#Mat 5:17,18Oba nga yabayita abo bakatonda, abajjirwa ekigambo kya Katonda, (so n'ebyawandiikibwa tebiyinza kudiba), 36#Yok 5:17-20mwe mumugambira ki ye, Kitaawe gwe yatukuza, n'amutuma mu nsi, nti Ovvodde; kubanga ŋŋambye nti Ndi Mwana wa Katonda? 37Bwe sikola mirimu gya Kitange, temunzikiriza. 38Naye bwe ngikola, newakubadde nga temunzikiriza nze, naye mukkirize emirimu: mumanye mutegeere nga Kitange ali mu nze nange mu Kitange. 39#Yok 8:59, Luk 4:30Ne basala amagezi nate okumukwata: n'ava mu mikono gyabwe.
40 #
Yok 1:28
N'agenda nate emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yali olubereberye ng'abatiza; n'abeera eyo. 41Abantu bangi ne bajja gy'ali; ne bagamba nti Yokaana teyakola kabonero: naye byonna Yokaana bwe yayogera ku ono byali bya mazima. 42#Yok 8:30Ne bamukkiriza eyo bangi.
Zvasarudzwa nguva ino
Yokaana 10: LUG68
Sarudza vhesi
Pakurirana nevamwe
Sarudza zvinyorwa izvi
Unoda kuti zviratidziro zvako zvichengetedzwe pamidziyo yako yose? Nyoresa kana kuti pinda
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: