1
Olubereberye 25:23
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Mukama n'amugamba nti Amawanga abiri gali mu lubuto lwo, N'ebika ebibiri biryawukana n'okuva mu byenda byo: N'eggwanga erimu linaasinganga eggwanga eddala amaanyi; N'omukulu anaaweerezanga omuto.
Paghambingin
I-explore Olubereberye 25:23
2
Olubereberye 25:30
Esawu n'agamba Yakobo nti Ndiisa, nkwegayirira, omugoyo ogwo omumyufu; kubanga sirina maanyi: erinnya lye kye lyava liyitibwa Edomu.
I-explore Olubereberye 25:30
3
Olubereberye 25:21
Isaaka ne yeegayiririra Mukama mukazi we, kubanga yali mugumba: Mukama n'awulira okwegayirira kwe, ne Lebbeeka mukazi we n'aba olubuto.
I-explore Olubereberye 25:21
4
Olubereberye 25:32-33
Esawu n'ayogera nti Laba, mbulako katono okufa: n'eby'obukulu biringasa bitya? Yakobo n'amugamba nti Ndayirira leero; n'amulayirira: n'aguza Yakobo eby'obukulu bwe.
I-explore Olubereberye 25:32-33
5
Olubereberye 25:26
Muganda we n'amuddirira n'avaamu, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; n'erinnya lye ne bamutuuma Yakobo: era Isaaka yali yaakamaze emyaka nkaaga, mukazi we bwe yabazaala.
I-explore Olubereberye 25:26
6
Olubereberye 25:28
Era Isaaka n'ayagala Esawu, kubanga yalyanga ku muyiggo gwe: ne Lebbeeka n'ayagala Yakobo.
I-explore Olubereberye 25:28
Home
Biblia
Mga Gabay
Mga Palabas