1
Yokaana 4:24
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
Katonda gwe Mwoyo; n'abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n'amazima.”
موازنہ
تلاش Yokaana 4:24
2
Yokaana 4:23
Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza amazima lwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo n'amazima, kubanga Kitaffe anoonya abali ng'abo okubeera ab'okumusinzanga.
تلاش Yokaana 4:23
3
Yokaana 4:14
naye anywa amazzi ago nze ge ndimuwa ennyonta terimulumira ddala emirembe gyonna; naye amazzi ge ndimuwa ganaafuukanga munda mu ye ensulo y'amazzi nga gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”
تلاش Yokaana 4:14
4
Yokaana 4:10
Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda n'oyo akugamba nti Mpa nnywe bw'ali, ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.”
تلاش Yokaana 4:10
5
Yokaana 4:34
Yesu n'abagamba nti, “Eky'okulya kyange kwe kukolanga eyantuma by'ayagala n'okutuukiriza omulimu gwe.
تلاش Yokaana 4:34
6
Yokaana 4:11
Omukazi n'amugamba nti, “Ssebo, tolina kya kusenya, n'oluzzi luwanvu; kale oggya wa amazzi ago amalamu?
تلاش Yokaana 4:11
7
Yokaana 4:25-26
Omukazi n'amugamba nti, “Mmanyi nga Kristo ajja (gwe bayita Eyafukibwako amafuta), ye bw'alijja alitubuulira ebigambo byonna.” Yesu n'amugamba nti, “Nze nzuuno ayogera naawe.”
تلاش Yokaana 4:25-26
8
Yokaana 4:29
“Mujje mulabe omuntu aŋŋambye bye nnakolanga byonna; ayinza okuba nga ye Kristo?”
تلاش Yokaana 4:29
صفحہ اول
بائبل
مطالعاتی منصوبہ
Videos