YouVersion Logo
تلاش

Olubereberye 13

13
Ibulaamu ne Lutti baawukana
1Ibulaamu n'ayambuka ne mukazi we, ne Lutti, n'ebyabwe byonna okuva mu Misiri; ne bagenda mu bukiikaddyo obwa Kanani.#Lub 12:9 2Era Ibulaamu yalina obugagga bungi: ente, effeeza, ne zaabu.#Lub 24:35, Zab 112:3, Nge 10:22 3N'agenda ng'atambula n'ava mu bukiikaddyo n'atuuka e Beseri, mu kifo eweema ye mwe yasooka okubeera, wakati w'e Beseri ne Ayi; 4mu kifo eky'ekyoto kye yakola eyo olubereberye; n'asinziza eyo erinnya lya Mukama.#Lub 12:8 5Era ne Lutti, eyagenda ne Ibulaamu, yalina embuzi n'ente n'eweema. 6Ensi n'etabamala bombi okutuula awamu; kubanga ebintu byabwe byali bingi.#Lub 36:7 7Ne wabalukawo enkaayana wakati w'abasumba b'ente za Ibulaamu n'abasumba b'ente za Lutti. Era Omukanani n'Omuperizi baali ba kyatuula mu nsi eyo mu nnaku ezo.#Lub 12:6; 26:20 8Ibulaamu n'agamba Lutti nti, “Nkwegayiridde waleme okubaawo okukaayana wakati wange naawe ne wakati w'abasumba bange n'ababo; kubanga tuli ba luganda.#Zab 133:1, Bik 7:26, 1 Kol 6:7 9Ensi yonna teri mu maaso go? Kale nkwegayiridde twawukane. Bw'oneeroboza omukono ogwa kkono, nze n'agenda ku gwa ddyo. Bw'oneeroboza ogwa ddyo, nze n'agenda ku gwa kkono.”#Lub 20:15; 34:10; 47:6 10Lutti n'ayimusa amaaso ge, n'alaba olusenyi olwa Yoludaani lwonna, okutuukira ddala e Zowaali, nga lulimu amazzi mangi, nga lufaanana ng'olusuku lwa Mukama, oba ng'ensi y'e Misiri. Mu kiseera ekyo, Mukama yali tannazikiriza Sodoma ne Gomora.#Lub 2:8; 19:17,24-25; 28, Ma 34:3, Zab 107:34 11Awo Lutti ne yeeroboza olusenyi lwonna olwa Yoludaani, n'atambula ng'ayolekedde obuvanjuba; ne baawukana ne Ibulaamu. 12Ibulaamu n'atuula mu nsi ya Kanani, ne Lutti n'atuula mu bibuga eby'omu lusenyi, n'ajjulula eweema ye n'agituusa e Sodoma. 13N'abantu ab'omu Sodoma baali babi era boonoonyi nnyo nnyini mu maaso ga Mukama.#Lub 18:20, Ez 16:49, 2 Peet 2:7,8
Ibulaamu Agenda e Kebbulooni
14Mukama n'agamba Ibulaamu, Lutti bwe yamala okwawukana naye, nti, “Yimusa kaakano amaaso go, otunule ng'oyima mu kifo mw'oli, obukiikakkono n'obwaddyo n'ebuvanjuba n'ebugwanjuba;#Lub 28:14 15kubanga ensi yonna gy'olabye, ndigikuwa ggwe, n'ezzadde lyo emirembe gyonna.#Lub 12:7, 2 Byom 20:7, Bik 7:5 16Era ndifuula n'ezzadde lyo ng'enfuufu ey'oku nsi; era oba nga waliwo ayinza okubala enfuufu eri ku nsi, oyo mpozzi y'aliyinza okubabala.#Lub 22:17; 28:14; 32:12, Kubal 23:10, Beb 11:12 17Situka olambule ensi eyo yonna, kubanga ndigikuwa.” 18Ibulaamu n'ajjulula eweema ye, n'ajja n'atuula awali emivule gya Mamule egiri mu Kebbulooni, n'azimbira Mukama eyo ekyoto.#Lub 35:27

موجودہ انتخاب:

Olubereberye 13: LBR

سرخی

شئیر

کاپی

None

کیا آپ جاہتے ہیں کہ آپ کی سرکیاں آپ کی devices پر محفوظ ہوں؟ Sign up or sign in