Amas 3

3
1Omusota gwali mukupya okusinga ebiramu byonna eby'omu nsiko Omukama Katonda bye yali akoze. Gwagamba omukazi nti: “Ddala kituufu, Katonda yabagaana okulya ku buli muti ogw'omu nnimiro?” 2Omukazi n'ayanukula omusota nti: “Tusobola okulya ebibala ku miti gy'omu nnimiro, 3wabula ku kibala ky'omuti, oguli mu makkati g'ennimiro, Katonda yatulagira nti: ‘Temukiryangako era temukikwatangako sikulwa nga mufa.’ ” 4Omusota ne gugamba omukazi nti: “Temugenda kufa n'akatono. 5Ye Katonda amanyi nti: Olunaku lwonna lwe muliba mukiriddeko, amaaso gammwe gagenda kuzibuka, mugenda kubeera nga Katonda nga mumanyi ekirungi n'ekibi.” 6Awo omukazi n'alaba ng'omuti gwali mulungi okulya, nga gusanyusa amaaso, era nga gwegombesa olw'amagezi ge guwa, n'atoola ku kibala kyagwo n'alya, n'awa ne bba gwe yali naye n'alya. 7Awo amaaso gaabwe bombi ne gazibuka. Ne bamanya nga bali bwereere, ne batunga ebikoola by'omukunyu, ne beekolera eby'okwebikkako.
8Omusajja ne mukazi we bwe baawulira enswagiro z'Omukama Katonda eyali abaalabaala mu nnimiro mu kawewo ak'akawungeezi, ne beekweka Omukama Katonda mu miti gy'ennimiro. 9Omukama Katonda n'ayita omusajja n'amubuuza nti: “Oli ludda wa?” 10Ko ye nti: “Mpulidde enswagiro zo mu nnimiro, ne ntya, kubanga mbadde bwereere, ne neekweka.” 11N'amubuuza nti: “Ani akugambye nti oli bwereere? Olidde ku muti gwe nakugaana okulyako?” 12Omusajja n'ayanukula nti: “Omukazi gwe wampa abeere nange ye yampadde ekibala ekiva ku muti, ne ndya.” 13Awo Omukama Katonda n'agamba omukazi nti: “Kiki kino ky'okoze?” Omukazi n'ayanukula nti: “Omusota gwannimbye, ne ndya.”
14Omukama Katonda n'agamba omusota nti: “Kubanga okoze kino, ovumiriddwa mu bisolo byonna eby'awaka n'ebisolo byonna eby'omu nsiko. Oneewaluliranga ku lubuto lwo; onoolyanga nfuufu ennaku zonna ez'obulamu bwo.
15“Nzija kubakyawaganya, ggwe n'omukazi,
ezzadde lyo n'ezzadde lye;
lyo lirikubetenta omutwe,
ate ggwe olibojja ekisinziiro kyalyo.”
16N'agamba omukazi nti:
“Nzija kwongera nnyo okulumwa,
abaana bo onoobazaalanga mu bulumi,
ojja kuyaayaaniranga musajja wo,
ate ye anaakufuganga.”
17Ye omusajja n'amugamba nti: “Kubanga wawulidde eddoboozi lya mukazi wo, n'olya ku muti gwe nakukomereza nti: ‘Togulyangako,’
“ettaka livumiriddwa olw'okubeera ggwe.
Okuggyamu ky'olya onookuluusananga
ennaku zonna ez'obulamu bwo.
18Linaakumereza maggwa na matovu,
onoolyanga bimera bya ttale.
19Onoolyanga emmere ng'evudde mu ntuuyo zo,
okutuusa lw'olidda mu ttaka, kubanga mwe waggyibwa,
kubanga oli nfuufu,
era mu nfuufu mw'olidda.”
20Omusajja n'atuuma mukazi we Eva,#3,20 Mu y'Olweb. erinnya ye Khawā, ekitegeeza obulamu. Ey'Oluger. emuyita Eua (Eva). kubanga ye yafuuka nnyina w'abalamu bonna. 21Omukama Katonda n'akolera omusajja ne mukazi we ebyambalo eby'amaliba n'abambaza. 22#Okub 2,7; 22,2.14.19.Omukama Katonda n'agamba nti: “Laba, omusajja wuuno afuuse ng'omu ku ffe mu kumanya obulungi n'obubi, kati sikulwa ng'agololera omukono gwe ku muti ogw'obulamu n'alyako n'aba mulamu emirembe gyonna.” 23Omukama Katonda n'amugoba mu nnimiro y'e Edeni, alimenga ettaka mwe yaggyibwa. 24Katonda bwe yamala okugoba omusajja, ku ludda olw'ebuvanjuba, n'ateekayo bakerubi n'ekitala eky'omuliro nga kyetala, okukuuma ekkubo erigenda ku muti ogw'obulamu.
Kayini ne Abeli

Currently Selected:

Amas 3: BIBU1

Qaqambisa

Share

Copy

None

Ufuna ukuba iimbalasane zakho zigcinwe kuzo zonke izixhobo zakho? Bhalisela okanye ngena