YouVersion Logo
Search Icon

OKUVA E MISIRI 21

21
Amateeka ku baddu ne ku bakama baabwe
(Laba ne Ma 15:12-18)
1“Gano ge mateeka g'onoowa Abayisirayeli. 2Bw'ogula omuddu Omwebureeyi, anaakuweerezanga okumala emyaka mukaaga. Mu mwaka ogw'omusanvu anaaweebwanga eddembe lye n'agenda, nga tewali ky'asasudde.#Laba ne Leev 25:39-46 3Bw'aba nga we yafuukira omuddu wo teyalina mukazi, bw'abanga agenda, tagendanga na mukazi. Bw'aba nga yalina omukazi, mukazi we agendanga wamu naye. 4Mukama we bw'aba nga ye yamuwa omukazi, n'amuzaalira abaana ab'obulenzi oba ab'obuwala, omukazi n'abaana be baliba ba mukama we, era omusajja anaagendanga bwomu. 5Naye omuddu bw'ayatulanga mu lwatu nti: ‘Njagala mukama wange, ne mukazi wange, n'abaana bange, saagala kulekebwa kugenda mbe wa ddembe,’ 6olwo mukama we amutwalanga we basinziza, n'amuyimiriza ku luggi oba ku mufuubeeto, n'amuwummula okutu n'olukato, n'amusigaza nga muddu we ennaku zonna.
7“Omuntu bw'atundanga muwala we abe omuzaana, omuzaana oyo taalekebwenga kugenda abe wa ddembe ng'abaddu bwe balekebwa. 8Kyokka mukama we eyamugula ng'agenderera okumuwasa, bw'ataasiimenga muzaana oyo, anaamulekanga n'anunulibwa kitaawe, era taabenga na buyinza kumuguza bagwira, kubanga aba amuyisizza bubi nnyo. 9Omuntu bw'agula omuzaana okumuwa mutabani we, anaamuyisanga nga muwala we. 10Omusajja bw'awasanga omukazi owookubiri, emmere n'engoye n'ebikwata ku bufumbo by'awa mukazi we omubereberye, taabikendeezengako. 11Bw'ataamuwenga ebyo byonsatule, anaalekanga omukazi oyo okugenda abe wa ddembe, awatali kusabayo bintu.
Amateeka ku bikolwa eby'obukambwe
12“Buli anaakubanga omuntu n'amutta, naye anattibwanga.#Laba ne Leev 24:17 13Kyokka anattanga omuntu nga tagenderedde, ndikuteerawo ekifo gy'ayinza okuddukira n'atakolebwako kabi.#Laba ne Kubal 35:10-34; Ma 19:1-13; Yos 20:1-9 14Naye omuntu bw'attanga muntu munne mu lukwe ng'agenderedde, ne bw'abanga addukidde ku alutaari yange okuwona, aggyibwangayo n'attibwa.
15“Buli anaakubanga kitaawe oba nnyina, anattibwanga.
16“Buli anaabuzangawo omuntu n'amutunda, oba n'asangibwa naye, anattibwanga.#Laba ne Ma 24:7
17“Buli anaakolimiranga kitaawe oba nnyina, anattibwanga.#Laba ne Leev 20:9; Mat 15:4; Mak 7:10
18“Abantu bwe banalwanagananga, omu n'akuba munne ejjinja oba ekikonde, akubiddwa n'atafa, naye n'alwazibwa ku kitanda, 19bw'asitukanga n'asenvulira ku muggo, eyamukuba taabonerezebwenga, wabula anaamugattanga olw'ebiseera, bye yamufiiriza, n'amujjanjaba okutuusa lw'awonera ddala.
20“Omuntu bw'anaakwatanga omuggo, n'akuba omuddu we, oba omuzaana we, omukube n'afiirawo, omuntu oyo akubye anaabonerezebwanga. 21Naye omuddu bw'anaamalangawo olunaku olumu oba ebbiri nga tannafa, mukama we taabonerezebwenga, kubanga gw'afiiriddwa muddu we, yamugula.
22“Abantu bwe banaalwanagananga, ne balumya omukazi ali olubuto, olubuto ne luvaamu, naye omukazi n'atatuukibwako kabi kalala, amulumizza anaaliyisibwanga byonna bba w'omukazi by'anaamusaliranga, ne bikakasibwa abalamuzi. 23Naye omukazi oyo bw'anaatuukibwangako akabi, olwo ekibonerezo kinaabeeranga kya kuliwa bulamu ku bulamu, 24liiso ku liiso, linnyo ku linnyo, mukono ku mukono, kigere ku kigere,#Laba ne Leev 24:19-20; Ma 19:21; Mat 5:38 25kwokebwa ku kwokebwa, kiwundu ku kiwundu, kinuubule ku kinuubule.
26“Omuntu bw'akubanga omuddu we, oba omuzaana we mu liiso ne lifa, amulekanga n'agenda nga wa ddembe olw'okuliyirira eriiso lye. 27Omuntu bw'anaakubanga omuddu we, oba omuzaana we n'amuggyamu erinnyo, anaamulekanga n'agenda nga wa ddembe olw'okuliyirira erinnyo lye.
Obuvunaanyizibwa bwa bannannyini
28“Ente bw'eneetomeranga omusajja oba omukazi n'emutta, eneekubibwanga amayinja n'ettibwa, era ennyama yaayo teeriibwenga, kyokka nnannyiniyo taavunaanibwenga musango. 29Naye ente bw'eba nga yamanyiira okutomeranga abantu, nnannyiniyo n'alabulwa, kyokka n'atagisiba, olwo bw'eneetomeranga omusajja oba omukazi n'emutta, ente eneekubibwanga amayinja n'ettibwa, era ne nnannyiniyo anattibwanga. 30Naye nnannyiniyo bwe banaamusaliranga omutango okununula obulamu bwe, anaawangayo byonna bye bamusalidde.
31“Bw'eneetomeranga omwana ow'obulenzi oba ow'obuwala n'emutta, nnannyiniyo anaavunaanibwanga mu ngeri ye emu. 32Ente bw'eneetomeranga omuddu, oba omuzaana n'emutta, nnannyini nte anaasasulanga nnannyini muddu oba muzaana, ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza, era ente eneekubibwanga amayinja n'ettibwa.
33“Omuntu bw'anaabikkulanga obunnya, oba bw'anaasimanga obunnya n'atabubikkako, ente oba endogoyi n'ebugwamu, 34anaaliwanga olw'ensolo eyo, ng'awaayo ensimbi eri nnannyiniyo, ensolo efudde n'eba yiye.
35“Ente y'omuntu bw'eneetomeranga ey'omulala n'egitta, abo bombi banaatundanga ente ekyali ennamu, ne bagabana ensimbi ezivuddemu, era n'ente efudde banaagigabananga. 36Naye bwe kinaamanyikanga ng'ente yamanyiira okutomeranga, nnannyiniyo n'atagisiba, anaaliwanga ng'awaayo ente ennamu, kyokka eyo efudde n'eba yiye.

Currently Selected:

OKUVA E MISIRI 21: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in