OKUVA E MISIRI 32
32
Ekifaananyi ky'ente ekya zaabu
(Laba ne Ma 9:6-29)
1Awo abantu bwe baalaba nga Musa aluddewo okukka okuva ku lusozi, ne bakuŋŋaanira awali Arooni, ne bamugamba nti: “Tetumanyi kyatuuka ku Musa, eyatuggya mu nsi y'e Misiri. Kale tukolere balubaale abanaatukulemberangamu.”#Laba ne Bik 7:40
2Arooni n'abagamba nti: “Muggyeeko empeta eza zaabu eziri ku matu ga bakazi bammwe, n'ag'abaana bammwe ab'obulenzi n'ab'obuwala, muzindeetere.” 3Awo abantu bonna ne baggyako empeta zaabwe eza zaabu ezaali ku matu gaabwe, ne bazireetera Arooni. 4N'azibaggyako, n'azisaanuusa, zaabu n'amuyiwa mu lutiba, n'akolamu ennyana. Abantu ne bagamba nti: “Yisirayeli, bano be balubaale abaakuggya mu nsi y'e Misiri.”#Laba ne 1 Bassek 12:28; Bik 7:41
5Arooni bwe yalaba ennyana eyo, n'azimba alutaari mu maaso gaayo, n'alangirira nti: “Enkya wanaabeerawo embaga okussaamu Mukama ekitiibwa.” 6Enkeera ne bazuukuka mu makya, ne bawaayo ebitambiro eby'okwokya, n'ebirala ebiriirwa awamu olw'okutabagana. Abantu ne batuula ne balya era ne banywa, ne basituka okuzina.#Laba ne 1 Kor 10:7
7Mukama n'agamba Musa nti: “Serengeta oddeyo, kubanga abantu bo, be waggya mu nsi y'e Misiri, boonoonye. 8Bavudde mangu mu kkubo lye nabalagira okutambulirangamu. Beekoledde ennyana mu zaabu, ne bagiwa ebitambiro, ne bagamba nti: ‘Yisirayeli, bano be balubaale abaakuggya mu nsi y'e Misiri.’ ” 9Mukama n'agamba Musa nti: “Abantu bano mbalabye nga ba mitima mikakanyavu. 10Kale kaakano ndeka, mbamalireko obusungu bwange, era mbazikirize. Naye ggwe, ndikufuula eggwanga eddene.”
11Naye Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n'agamba nti: “Mukama lwaki omalira obusungu bwo ku bantu bo, be waggya mu nsi y'e Misiri, ng'okozesa amaanyi amangi era n'obuyinza?#Laba ne Kubal 14:13-19 12Lwaki okuleka Abamisiri okugamba nti: ‘Yabaggya mu Misiri, ng'agenderedde okubattira mu nsozi, n'okubasaanyizaawo ddala ku nsi?’ Leka obusungu bwo obukambwe. Weerowooze, oleme kutuusa kabi ako ku bantu bo. 13Jjukira abaweereza bo Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, ggwe wennyini be weerayirira n'ogamba nti: ‘Ndibawa abazzukulu bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, n'ensi eno yonna gye mbasuubizza mmwe, ndigiwa bazzukulu bammwe, ebe yaabwe emirembe gyonna!’ ”#Laba ne Nta 22:16-17; 17:8
14Mukama ne yeerowooza, n'atatuusa ku bantu be kabi, ke yali agambye okubatuusaako.
15Musa n'avaayo, n'aserengeta okuva ku lusozi, ng'akutte mu ngalo ze, ebipande by'amayinja ebibiri, ebiwandiikiddwako ebiragiro ku njuyi zaabyo zombi. 16Katonda yennyini ye yakola ebipande ebyo eby'amayinja, era ye yawandiika ebiragiro ng'abyolako.
17Yoswa bwe yawulira abantu nga baleekaana, n'agamba Musa nti: “Mpulira abantu mu lusiisira, nga baleekaana ng'abalwana.”
18Musa n'agamba nti:
“Eryo si ddoboozi
ly'abaleekaana olw'obuwanguzi
oba ery'abakaaba olw'okuwangulwa
naye ddoboozi ly'abayimba
lye mpulira.”
19Musa bwe yasemberera olusiisira, n'alaba ennyana n'abazina, n'asunguwala nnyo, n'akasuka ebipande by'amayinja bye yali akutte mu ngalo ze, n'abyasiza wansi w'olusozi. 20N'addira ennyana gye baali bakoze, n'agisaanuusa n'omuliro, n'agisekulasekula, n'efuuka ng'enfuufu, n'agitabula mu mazzi, n'aginywesa Abayisirayeli. 21N'agamba Arooni nti: “Abantu bano baakukola ki, olyoke obaleke okukola ekibi ekyenkanidde awo obunene?”
22Arooni n'addamu nti: “Mukama wange, tonsunguwalira, omanyi ng'abantu bano bulijjo balowooza kukola bibi. 23Baŋŋamba nti: ‘Tukolere balubaale abanaatukulemberamu, kubanga tetumanyi kyatuuka ku Musa, eyatuggya mu nsi y'e Misiri.’ 24Nze ne mbagamba nti: ‘Buli alina zaabu amuleete.’ Ne bamumpa, ne mmuteeka mu muliro, ne muvaamu ennyana eno.”
25Awo Musa bwe yalaba nga Arooni alese abantu okujeema ne basekererwa abalabe baabwe, 26n'ayimirira mu mulyango gw'olusiisira, n'agamba nti: “Buli ali ku ludda lwa Mukama ajje gye ndi.” Abaleevi bonna ne bakuŋŋaanira w'ali. 27N'abagamba nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Buli omu ku mmwe akwate ekitala kye, ayiteeyite mu lusiisira, okuva ku mulyango ogumu, okutuuka ku mulyango omulala, atte baganda be ne mikwano gye, ne baliraanwa be.’ ” 28Abaleevi ne bakola nga Musa bwe yalagira: ne batta abantu ng'enkumi ssatu ku lunaku olwo. 29Musa n'agamba Abaleevi nti: “Olwaleero mwewaddeyo okuweereza Mukama, wadde nga mufiiriddwa abaana bammwe ne baganda bammwe, Mukama alyoke abawe mmwe omukisa.”
30Enkeera Musa n'agamba abantu nti: “Mukoze ekibi kinene nnyo! Kaakano ka nnyambuke eri Mukama, oboolyawo nnaabafunira ekisonyiwo olw'ekibi kyammwe.” 31Awo Musa n'addayo eri Mukama, n'agamba nti: “Kitalo! Abantu bano bakoze ekibi kinene nnyo: beekoledde balubaale aba zaabu. 32Nkwegayiridde, basonyiwe ekibi kyabwe. Naye bw'otoobasonyiwe, nsangula mu kitabo mwe wawandiika abantu bo.”#Laba ne Zab 69:28; Kub 3:5
33Mukama n'agamba Musa nti: “Buli akoze ekibi mu maaso gange, gwe nnaasangula mu kitabo kyange. 34Kaakano genda, otwale abantu mu kifo kye nakutegeezaako. Kale malayika wange anaakukulemberanga. Naye ekiseera kijja kutuuka mbonereze abantu bano olw'ekibi kyabwe.”
35Mukama n'abonereza abantu, kubanga baasinza ennyana, Arooni gye yakola.
Currently Selected:
OKUVA E MISIRI 32: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.