YouVersion Logo
Search Icon

OKUVA E MISIRI 35

35
Amateeka agafuga Sabbaato
1Musa n'ayita ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli. Ne bakuŋŋaana, n'abagamba nti: “Bino Mukama by'abalagidde mmwe okukola. 2Ennaku omukaaga ze zinaakolerwangamu emirimu, naye olunaku olw'omusanvu lunaabanga lunaku lwammwe, lukulu lwa kuwummula, oluweereddwayo eri Mukama. Buli anaakolanga omulimu ku lunaku olwo, anattibwanga.#Laba ne Kuv 20:8-11; 23:12; 31:15; 34:21; Leev 23:3; 15:12-14 3Temuukumenga muliro mu nnyumba zammwe ku lunaku olwa Sabbaato.”
Ebiweebwayo ebya Weema Entukuvu
(Laba ne Kuv 25:1-9)
4Musa n'agamba ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli nti: “Kino Mukama ky'alagidde. 5Muweeyo ekirabo eri Mukama. Buli alina omutima omugabi, aleetere Mukama ekirabo: zaabu, ffeeza n'ekikomo, 6olugoye olulungi olweru, n'olwa bbululu, n'olwa kakobe, n'olumyufu, n'olukoleddwa mu byoya by'embuzi; 7amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'embuzi, omuti ogwa akasiya, 8amafuta g'ettaala, ebyakawoowo ebitabulwa mu muzigo ogusiigibwa, ne mu bubaane obw'okunyookeza; 9amayinja ag'omuwendo agayitibwa onika, n'amayinja amalala ag'omuwendo, ag'okuwunda ku kkanzu ne ku kyambalo eky'omu kifuba, ebya ssaabakabona.
Ebikozesebwa mu Weema Entukuvu
(Laba ne Kuv 39:32-43)
10“Buli mukozi omukugu mu mmwe, ajje akole byonna Mukama by'alagidde: 11Eweema Entukuvu n'eky'okubikkako, amalobo gaayo n'embaawo zaayo, emikiikiro gyayo, n'ebikondo byayo, n'ebinnya byayo; 12Essanduuko ey'Endagaano n'emisituliro gyayo, n'entebe ey'obusaasizi, n'olutimbe olwawulamu; 13emmeeza n'emisituliro gyayo, n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egiweebwayo eri Katonda, 14ekikondo ky'ettaala n'ebintu byakyo, ettaala zaakyo n'amafuta g'ettaala; 15n'ekyoterezo ky'obubaane n'emisituliro gyakyo, omuzigo ogusiigibwa, n'obubaane obw'akawoowo, n'olutimbe olw'omu mulyango gw'Eweema Entukuvu, 16alutaari eyokerwako ebiweebwayo, era n'ekitindiro kyayo eky'ekikomo; n'emisituliro gyayo, n'ebintu byayo byonna; ebbenseni ne ky'etuulako; 17entimbe ez'okutimba oluggya, n'ebikondo byalwo n'ebinnya byabyo, n'olutimbe olw'omu mulyango gw'oluggya; 18enkondo ez'Eweema Entukuvu, n'ez'oluggya, n'emiguwa gyabyo; 19n'ebyambalo ebirungi ebya bakabona, eby'okuweererezaamu mu Kifo Ekitukuvu, ebyo bye byambalo ebitukuvu, Arooni ne batabani be bye bambala nga baweereza mu bwakabona.”
Abantu baleeta ebirabo byabwe
20Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kiva mu maaso ga Musa. 21Buli muntu eyayagala, n'aleetera Mukama ekirabo, olw'omulimu ogw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'okukola ebyetaagibwa mu yo, era n'okukola ebyambalo bya bakabona. 22Abasajja n'abakazi bonna abaayagala, ne baleeta ebikwaso, empeta ez'oku matu n'ez'oku ngalo, emikuufu egy'omu bulago, n'eby'omuwendo byonna ebya zaabu, ne babiwaayo eri Mukama. 23Buli muntu eyalina olugoye olulungi olweru, olwa bbululu, olwa kakobe, olumyufu, n'olukoleddwa mu byoya by'embuzi; amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'embuzi; n'abireeta. 24Buli muntu eyasobola okuwaayo ekirabo ekya ffeeza oba eky'ekikomo, n'akireetera Mukama. Buli muntu eyalina omuti ogwa akasiya oguyinza okukozesebwa ku mulimu, n'aguleeta. 25Abakazi bonna abamanyi eby'emikono, ne baleeta engoye eza bbululu, n'eza kakobe, n'Emmyufu, n'enjeru, ze baakola. 26Era ne bakola engoye mu byoya by'embuzi. 27Abakulembeze ne baleeta amayinja ag'omuwendo agayitibwa onika n'amalala ag'okuwunda ku kkanzu ne ku kyambalo eky'omu kifuba. 28Ne baleeta n'ebyakawoowo, n'amafuta, eby'okuteeka mu ttaala, ne mu muzigo ogw'okusiigibwa, ne mu bubaane obuwunya obulungi. 29Abayisirayeli bonna abasajja n'abakazi abaayagala okubaako bye baleeta ebyetaagibwa ku mulimu, Mukama gwe yalagira Musa okukola, ne babireetera Mukama, awatali kuwalirizibwa.
Ab'okukola Eweema Entukuvu
(Laba ne Kuv 31:1-11)
30Musa n'agamba Abayisirayeli nti: “Mukama alonze Bezaleeli, mutabani wa Wuuri, era muzzukulu wa Huri, ow'omu Kika kya Yuda. 31Katonda amujjuzizza mwoyo we, era amuwadde amagezi n'okutegeera, era n'okumanya okukola emirimu egya buli ngeri, 32n'okutetenkanya eby'okukola mu zaabu ne mu ffeeza ne mu kikomo; 33n'okusala amayinja ag'omuwendo ag'okuwanga, n'okwola emiti, n'okukola emirimu egy'amagezi egya buli ngeri. 34Mukama amuwadde ye, ne Oholiyaabu, mutabani wa Ahisamaki, ow'omu Kika kya Daani, amagezi okuyigiriza abalala. 35Abawadde amagezi okukola emirimu egya buli ngeri, egikolebwa abasazi b'amayinja n'abayiiya; n'abalusi b'engoye ennungi eza bbululu, n'eza kakobe, n'Emmyufu, n'engoye endala. Basobola okukola emirimu gyonna egya buli ngeri, era n'okuyiiya eby'amagezi.

Currently Selected:

OKUVA E MISIRI 35: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in