EKY'ABALEEVI 20
20
Ebibonerezo by'abajeemu
1Mukama n'agamba Musa 2ategeeze Abayisirayeli nti: “Bwe wanaabangawo Omuyisirayeli oba omugwira abeera mu mmwe awaayo ku baana be eri lubaale Moleki, ekibiina kyonna kinaamukubanga amayinja n'afa. 3Era nange ndyefuulira omuntu oyo ne mmuboola, ne ssongera kumubalira mu bantu bange, kubanga awaddeyo ku baana be eri Moleki, n'ayonoona Ekifo kyange Ekitukuvu, n'avumisa erinnya lyange ettukuvu. 4Naye ekibiina ky'abantu bwe kitaafengayo ku ky'akoze, ne kitamutta, 5Nze nzennyini ndikyukira omuntu oyo n'ab'omu nnyumba ye bonna, n'abo bonna abamwegattako mu butaba beesigwa gye ndi, ne basinza Moleki. Siryongera kubabalira mu bantu bange.
6“Era omuntu bw'anaagendanga okwebuuza ku basamize, nnaamwefuuliranga, ne ssongera kumubalira mu bantu bange. 7Kale mwetukuze, mubenga batukuvu, kubanga nze Mukama Katonda wammwe. 8Mukuumenga amateeka gange, kubanga nze Mukama abafuula abatukuvu.
9“Buli akolimira kitaawe oba nnyina, anattibwanga. Ye anaabanga yeereetedde yekka okuttibwa.#Laba ne Kuv 21:17; Mat 15:4; Mak 7:10
10“Omusajja bw'anaayendanga ku muk'omusajja, abenzi bombi, omusajja n'omukazi, banattibwanga.#Laba ne Kuv 20:14; Leev 18:20; Ma 5:18 11N'omusajja eyeebaka n'omu ku baka kitaawe, aswaza kitaawe. Bombi, omusajja oyo n'omukazi banattibwanga. Be banaabanga beereetedde bokka okuttibwa.#Laba ne Leev 18:8; Ma 22:30; 27:20 12Omusajja bw'aneebakanga ne muka mwana we, bombi banattibwanga. Banaabanga bakoze kya kivve, nga be beereetedde bokka okuttibwa.#Laba ne Leev 18:15 13Era omusajja bw'aneebakanga ne musajja munne, nga bwe yandyebase n'omukazi, baba bakoze eky'omuzizo. Bombi banattibwanga, nga be beereetedde bokka okuttibwa.#Laba ne Leev 18:22 14Omusajja bw'awasanga omukazi ne nnyina w'omukazi oyo, ekyo kya kivve. Abasatu abo banaayokebwanga omuliro ne bafa. Era temukkirizenga ekibi ng'ekyo okubeera mu mmwe.#Laba ne Leev 18:17; Ma 27:23 15Omusajja bw'aneebakanga n'ensolo, anattibwanga era ensolo eyo nayo enettibwanga.#Laba ne Kuv 22:19; Leev 18:23; Ma 27:21 16Omukazi anaasembereranga ensolo ne yeebaka nayo anattibwanga, era ensolo eyo nayo enettibwanga, nga ye, nayo, be beereetedde bokka okuttibwa.
17“Omusajja bw'anaawasanga mwannyina, muwala wa kitaawe oba owa nnyina, banaabanga bakoze kya buwemu. Banaagobwanga mu kibiina ky'abantu baabwe. Omusajja oyo anaabanga yeebase ne mwannyina, era anaavunaanibwanga olw'ekibi kye.#Laba ne Leev 18:9; Ma 27:22 18Omusajja bw'aneebakanga n'omukazi ali mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, bombi banaagobwanga mu kibiina ky'abantu baabwe, kubanga bamenye amateeka agakwata ku bulongoofu.#Laba ne Leev 18:19
19“Teweebakenga na nnyoko omuto oba ne ssengaawo. Abakola ekyo baba bakoze kya kivve. Banaavunaanibwanga olw'ekibi kyabwe.#Laba ne Leev 18:12-14 20Omusajja bw'aneebakanga ne muka kitaawe omuto, oba ne muka kojjaawe, anaabanga aswazizza kitaawe omuto oba kojjaawe, era ye n'omukazi oyo banaavunaanibwanga olw'ekibi kyabwe. Balifa tebafunye baana. 21Era omusajja bw'anaawasanga muka muganda we, anaabanga akoze kibi, ng'aswazizza muganda we. Tebaliba na baana.#Laba ne Leev 18:16
22“Mukuumenga amateeka gange n'ebiragiro byange byonna, ensi y'e Kanaani gye ŋŋenda okubayingizaamu okubeerangamu ereme kubagaana. 23Temuugobererenga mpisa za bantu abo be ngobamu okuleetamu mmwe. Kubanga baakolanga ebyo byonna, kyennava mbakyawa. 24Naye mmwe nabasuubiza okubawa ensi eno engagga era engimu, era ndigibawa n'eba yammwe. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaawula mu mawanga amalala. 25Kale mwawulenga ensolo n'ebinyonyi ebirongoofu n'ebitali birongoofu. Temwejaajaamyenga nga mulya ensolo n'ebinyonyi, wadde ekintu ekirala kyonna ku nsi, ebitali birongoofu. 26Munaabeeranga batukuvu, era nga muli bange nzekka, kubanga nabaawula mu mawanga amalala, mulyoke mubeerenga bange nzekka.
27“Omusajja oba omukazi omusamize, oba omulogo, anattibwanga. Anaakubibwanga amayinja n'attibwa. Ye anaabanga yeereetedde yekka okuttibwa.”
Currently Selected:
EKY'ABALEEVI 20: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.