YOWANNE 17
17
Yesu asabira abayigirizwa be
1Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'ayimusa amaaso eri eggulu, n'agamba nti: “Kitange, ekiseera kituuse. Gulumiza Omwana wo, Omwana wo alyoke akugulumize, 2kubanga wamuwa obuyinza ku bantu bonna, alyoke abawe obulamu obutaggwaawo. 3Obulamu obutaggwaawo bwe buno, abantu bonna okukumanya ggwe Katonda omu wekka ow'amazima, n'okumanya Yesu Kristo, gwe watuma. 4Nze nkugulumizza ku nsi. Mmalirizza omulimu gwe wampa okukola. 5Kitange, kaakano mpa ekitiibwa mu maaso go, kye nalina ng'ensi tennabaawo.
6“Nkumanyisizza mu bantu be wampa ng'obaggya mu nsi. Baali babo, n'obampa. Bakutte ekigambo kyo. 7Kaakano bamanyi nga byonna bye wampa byava gy'oli, 8kubanga ebigambo bye wampa mbibawadde, ne babikkiriza, ne bamanyira ddala nga nava gy'oli, ne bakkiriza nga ggwe wantuma.
9“Nze mbasabira abo. Sisabira nsi, wabula abo be wampa, kubanga babo. 10Byonna bye nnina bibyo, n'ebibyo byange, era ngulumizibwa mu bo. 11Kaakano nzija gy'oli. Sikyali mu nsi, naye bo bali mu nsi. Kitange omutuukirivu, bakuumenga mu buyinza bwo bwe wampa, babeerenga bumu nga ffe.
12“Bwe nali nabo, nabakuuma mu buyinza bwo bwe wampa, ne kutabula n'omu ku bo, wabula oyo eyali ateekwa okubula, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire.#Laba ne Zab 41:9; Yow 13:18 13Naye kaakano nzija gy'oli, era ebyo mbyogerera mu nsi, essanyu lyange liryoke libajjule.
14“Nabawa ekigambo kyo, ensi n'ebakyawa, kubanga si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi. 15Sikusaba kubaggya mu nsi, wabula bakuumenga, obawonye Omubi. 16Si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi. 17Batukuze mu mazima. Ekigambo kyo ge mazima. 18Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe mbatuma mu nsi. 19Nze nneewaayo gy'oli ku lwabwe, nabo bennyini balyoke beeweereyo ddala gy'oli.
20“Sisabira bano bokka, naye n'abo abanzikiriza olw'obubaka bwa bano. 21Bonna babeerenga bumu. Kitange, nga ggwe bw'oli mu nze, nange bwe ndi mu ggwe, nabo babeerenga mu ffe, ensi eryoke ekkirize nga ggwe wantuma. 22Era ekitiibwa kye wampa nkibawadde, balyoke babeerenga bumu, nga ffe bwe tuli obumu, 23nze mu bo, naawe mu nze, balyoke babeerere ddala bumu, ensi etegeere nga ggwe wantuma, era ng'obaagala nga bw'onjagala.
24“Kitange, be wampa, njagala we ndi, nabo we baba babeeranga, balabe ekitiibwa kyange kye wampa. Wanjagala ng'ensi tennatondebwa. 25Kitange omutuukirivu, ensi teyakumanya, naye nze nkumanyi, na bano bamanyi nga ggwe wantuma. 26Era nabamanyisa erinnya lyo, era nja kwongera okulimanyisa, okwagala kwe wanjagala, kubeere mu bo, nange mbeere mu bo.”
Currently Selected:
YOWANNE 17: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.