YOWANNE 18
18
Okukwatibwa kwa Yesu
(Laba ne Mat 26:46-56; Mak 14:43-50; Luk 22:47-53)
1Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'afuluma n'abayigirizwa be, ne balaga emitala w'akagga Kedurooni awaali ennimiro, n'agiyingiramu awamu n'abayigirizwa be. 2Ne Yuda, eyamulyamu olukwe, yali amanyi ekifo ekyo, kubanga emirundi mingi, Yesu yagendangayo n'abayigirizwa be.
3Awo Yuda n'ajja mu nnimiro ng'ali n'ekibinja ky'abaserikale, n'abakuumi b'Essinzizo, abaatumibwa bakabona abakulu n'Abafarisaayo. Baalina ettaala n'emimuli, n'ebyokulwanyisa.
4Awo Yesu ng'amanyi byonna ebigenda okumujjira, n'avaayo, n'abagamba nti: “Munoonya ani?” 5Ne bamuddamu nti: “Yesu Omunazaareeti.” Yesu n'abagamba nti: “Ye Nze.”
Yuda eyamulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo. 6Yesu bwe yabagamba nti: “Ye Nze”, ne badda emabega ne bagwa wansi. 7Yesu n'ababuuza omulundi ogwokubiri nti: “Munoonya ani?” Ne bagamba nti: “Yesu Omunazaareeti.”
8Yesu n'addamu nti: “Mbabuulidde nti Ye Nze. Kale oba nga munoonya Nze, bano mubaleke bagende.” 9Ekigambo kye yayogera nti: “Ku abo be wampa saabuzaako n'omu,” ne kituukirira.
10Simooni Peetero yalina ekitala. N'akisowolayo, n'atema omuddu wa Ssaabakabona, n'amukutulako okutu okwa ddyo. Erinnya ly'omuddu oyo nga ye Maluko. 11Yesu n'agamba Peetero nti: “Ekitala kizze mu kiraato kyakyo. Ekikopo eky'okubonaabona. Kitange ky'ampadde siikinywe?”#Laba ne Mat 26:39; Mak 14:36; Luk 22:42
Yesu mu maaso ga Anna
12Awo ekibinja ky'abaserikale n'omuduumizi waabwe, n'abaweereza b'Abayudaaya, ne bakwata Yesu, ne bamusiba. 13Ne bamutwala eri Anna okusooka, kubanga ye yali kitaawe wa muka Kayaafa, eyali Ssaabakabona mu mwaka ogwo. 14Kayaafa oyo ye yali awadde Abayudaaya amagezi nti kisaana omuntu omu okufiirira bonna.#Laba ne Yow 11:49-50
Peetero yeegaana Yesu
(Laba ne Mat 26:69-70; Mak 14:66-68; Luk 22:55-57)
15Simooni Peetero n'omuyigirizwa omulala ne bagoberera Yesu. Omuyigirizwa oyo yali amanyiddwa ssaabakabona, n'ayingira ne Yesu mu luggya lwa Ssaabakabona. 16Peetero n'asigala wabweru ku luggi. Omuyigirizwa oli omulala eyali amanyiddwa ssaabakabona, n'afuluma, n'ayogera n'omuwala omuggazi w'oluggi, n'ayingiza Peetero. 17Awo omuwala omuggazi w'oluggi, n'agamba Peetero nti: “Naawe oli omu ku bayigirizwa b'omuntu oyo?” Peetero n'addamu nti: “Nedda.”
18Abaddu n'abaweereza baali bakumye ekyoto ky'omuliro, nga bayimiridde awo boota, kubanga obudde bwali bunnyogovu. Ne Peetero yali ayimiridde nabo ng'ayota omuliro.
Ssaabakabona abuuza Yesu ebibuuzo
(Laba ne Mat 26:59-66; Mak 14:55-64; Luk 22:66-71)
19Awo Ssaabakabona n'abuuza Yesu ku bayigirizwa be, ne ku by'ayigiriza. 20Yesu n'amuddamu nti: “Nze nayogeranga lwatu mu bantu, bulijjo nayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu Ssinzizo, Abayudaaya bonna mwe bakuŋŋaanira. Soogeranga kintu na kimu mu kyama. 21Lwaki obuuza nze? Buuza abo abaawulira bye nabagambanga. Bamanyi bye nayogeranga.”
22Yesu bwe yayogera ebyo, omu ku baweereza eyali ayimiridde okumpi naye, n'amukuba oluyi nga bw'agamba nti: “Bw'otyo bw'oddamu Ssaabakabona?” 23Yesu n'amuddamu nti: “Oba njogedde bubi, laga ekibi kye njogedde. Naye oba njogedde bulungi, onkubira ki?”
24Awo Anna n'aweereza Yesu nga musibe eri Kayaafa, Ssaabakabona.
Peetero ayongera okwegaana Yesu
(Laba ne Mat 26:71-75; Mak 14:69-72; Luk 22:58-62)
25Simooni Peetero yali ayimiridde ng'ayota omuliro. Ne bamugamba nti: “Naawe oli omu ku bayigirizwa be?” Ye ne yeegaana n'agamba nti: “Nedda.”
26Omu ku baddu ba ssaabakabona, era muganda w'oyo, Peetero gwe yakutulako okutu, n'agamba nti: “Nze saakulabye naye mu nnimiro?” 27Peetero n'addamu okwegaana. Amangwago enkoko n'ekookolima.
Yesu mu maaso ga Pilaato
(Laba ne Mat 27:1-2,11-14; Mak 15:1-5; Luk 23:1-5)
28Awo Yesu ne bamuggya ewa Kayaafa, ne bamutwala mu lubiri lw'omufuzi Omurooma. Obudde bwali bwakakya. Abayudaaya ne batayingira mu lubiri, baleme kusobya mukolo gwa kwetukuza, naye basobole okulya Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
29Awo Pilaato n'afuluma n'agenda gye bali, n'ababuuza nti: “Musango ki gwe muwawaabira omuntu ono?” 30Ne bamuddamu nti: “Singa abadde talina musango gwe yazza, tetwandimuleese gy'oli.”
31Pilaato n'abagamba nti: “Kale nno mmwe mumutwale, mumusalire omusango ng'amateeka gammwe bwe gali.” Abayudaaya ne bamugamba nti: “Ffe tetukkirizibwa kutta muntu n'omu.” 32Ekyo Yesu kye yayogera, ng'alanga engeri gye yali agenda okufaamu, ne kituukirira.#Laba ne Yow 3:14; 12:32 33Awo Pilaato n'addayo mu lubiri, n'ayita Yesu, n'amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?”
34Yesu n'addamu nti: “Ekyo okyogedde ku bubwo, oba balala be bakubuulidde ebifa ku nze?” 35Pilaato n'addamu nti: “Nze ndi Muyudaaya? Abantu b'eggwanga lyo, ne bakabona baabwe abakulu, be bakuleese gye ndi. Okoze ki?”
36Yesu n'addamu nti: “Obwakabaka bwange si bwa ku nsi kuno. Singa obwakabaka bwange bubadde bwa ku nsi kuno, abantu bange bandirwanye, ne siweebwayo mu Bayudaaya. Naye obwakabaka bwange si bwa ku nsi kuno.”
37Awo Pilaato n'amubuuza nti: “Kwe kugamba oli Kabaka?”
Yesu n'addamu nti: “Nga bw'oyogedde. Ndi kabaka. Nze nazaalibwa ne nzija ku nsi, nga nzijiridde kino: okumanyisa amazima. Buli ayagala amazima, awulira eddoboozi lyange.”
38Pilaato n'amugamba nti: “Amazima kye ki?”
Yesu asalirwa ogw'okufa
(Laba ne Mat 27:15-31; Mak 15:6-20; Luk 23:13-25)
Pilaato bwe yamala okwogera ebyo, n'afuluma nate, n'agenda awali Abayudaaya, n'abagamba nti: “Siraba musango ku ye. 39Naye mwamanyiira, nze okubateeranga omusibe omu ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Kale mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya?”
40Awo ne baleekaana nti: “Si oyo, wabula Barabba!” Barabba oyo yali munyazi.
Currently Selected:
YOWANNE 18: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.