YouVersion Logo
Search Icon

YOWANNE 19

19
1Awo Pilaato n'atwala Yesu, n'amukuba n'embooko eriko amalobo agasuna. 2Abaserikale ne bawetaaweta amaggwa, ne bakolamu engule, ne bagimuteeka ku mutwe, ne bamwambaza olugoye olwa kakobe, 3ne bajja w'ali, ne bagamba nti: “Wangaala, Kabaka w'Abayudaaya!” Ne bamukuba empi.
4Pilaato era n'afuluma ebweru, n'agamba abantu nti: “Laba, mmubaleetera ebweru, mutegeere nga siraba musango ku ye.” 5Awo Yesu n'afuluma ng'atikkiddwa engule ey'amaggwa, era ng'ayambadde olugoye olwa kakobe. Pilaato n'abagamba nti: “Mulabe, omuntu wuuno!”
6Bakabona abakulu n'abaweereza bwe baamulaba, ne baleekaana nti “Mukomerere ku musaalaba, mukomerere ku musaalaba!”
Pilaato n'abagamba nti: “Mumutwale mmwe, mumukomerere ku musaalaba. Nze siraba musango ku ye.” 7Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Ffe tulina etteeka, era okusinziira ku tteeka eryo, ateekwa okuttibwa, kubanga yeefuula Omwana wa Katonda.”
8Pilaato bwe yawulira ekyo, ne yeeyongera okutya. 9N'ayingira mu lubiri, n'abuuza Yesu nti: “Oli wa wa?” Kyokka Yesu n'atamuddamu. 10Awo Pilaato n'amugamba nti: “Tonziramu? Tomanyi nga nnina obuyinza okukuta, era nga nnina obuyinza okukukomerera ku musaalaba?”
11Yesu n'amuddamu nti: “Tewandibadde na buyinza ku nze n'akatono, singa tebwakuweebwa Katonda. N'olwekyo ampaddeyo gy'oli ye alina ekibi ekisinga.” 12Okuva mu kaseera ako Pilaato n'asala amagezi okuta Yesu. Naye Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti: “Oyo bw'omuta, nga toli mukwano gwa Kayisaari. Buli muntu eyeefuula kabaka, awakanya Kayisaari.”
13Pilaato bwe yawulira ebigambo ebyo, n'afulumya Yesu ebweru, n'atuula ku ntebe ey'obulamuzi, mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, naye mu Lwebureeyi, Gabbata.
14Lwali lunaku lwa kuteekateeka Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Essaawa zaali nga mukaaga ez'omu ttuntu. Pilaato n'agamba Abayudaaya nti: “Kabaka wammwe wuuno!”
15Bo ne baleekaana nti: “Muggyeewo, muggyeewo, mukomerere ku musaalaba!” Pilaato n'ababuuza nti: “Kabaka wammwe gwe mba nkomerera ku musaalaba?” Bakabona abakulu ne baddamu nti: “Tetulina kabaka mulala, wabula Kayisaari.”
16Awo Pilaato n'abawa Yesu okumukomerera ku musaalaba.
Yesu akomererwa ku musaalaba
(Laba ne Mat 27:32-44; Mak 15:21-32; Luk 23:26-43)
Awo ne bakwata Yesu, ne bamutwala, 17n'afuluma nga yeetisse omusaalaba gwe, n'atuuka mu kifo ekiyitibwa eky'Ekiwanga, mu Lwebureeyi ekiyitibwa Golugoota. 18Ne bamukomerera ku musaalaba, mu kifo ekyo. Era ne bakomerera n'abalala babiri ku misaalaba, eruuyi n'eruuyi, Yesu nga ye ali wakati.
19Pilaato n'awandiika ekiwandiiko, n'akiteeka ku musaalaba, nga kiwandiikiddwa nti: “YESU OMUNAZAAREETI, KABAKA W'ABAYUDAAYA.”
20Ekifo kye baakomereramu Yesu ku musaalaba, kyali kumpi n'ekibuga. N'olwekyo Abayudaaya bangi ne basoma ekiwandiiko ekyo. Kyali kiwandiikiddwa mu Lwebureeyi, ne mu Lulattini, ne mu Luyonaani. 21Awo bakabona abakulu ab'Abayudaaya ne bagamba nti: “Towandiika nti: ‘Kabaka w'Abayudaaya,’ naye nti: ‘Oyo yagamba nti: Nze Kabaka w'Abayudaaya.’ ”
22Pilaato n'addamu nti: “Ekyo kye mpandiise, kye mpandiise.”
23Abaserikale bwe baamala okukomerera Yesu ku musaalaba, ne batwala engoye ze, ne baziteeka emiteeko ena, buli muserikale n'afunako gumu. Ne batwala n'ekkanzu ye, eyali tetungiddwa, naye ng'erukiddwa bulukibwa yonna. 24Abaserikale ne bagambagana nti: “Tuleme kugiyuzaamu, naye tugikubire akalulu, tulabe anaaba nnyiniyo.” Kino kyabaawo, okutuukiriza ekyawandiikibwa, ekigamba nti: “Baagabana engoye zange, ekkanzu yange ne bagikubira akalulu.” Abaserikale ekyo kyennyini kye baakola.#Laba ne Zab 22:18; Mat 27:35; Mak 15:24; Luk 23:34
25Okumpi n'omusaalaba gwa Yesu, waali wayimiriddewo nnyina, ne muganda wa nnyina, Mariya muka Kuloopaasi, ne Mariya Magudaleena. 26Yesu bwe yalaba nnyina, era n'omuyigirizwa, ye Yesu gwe yayagalanga, ng'ayimiridde awo, n'agamba nnyina nti: “Maama, laba, omwana wo wuuyo.” 27Ate n'agamba omuyigirizwa nti: “Laba, nnyoko wuuyo.” Okuva olwo omuyigirizwa oyo n'amutwala eka ewuwe.
Okufa kwa Yesu
(Laba ne Mat 27:45-56; Mak 15:33-41; Luk 23:44-49)
28Ebyo bwe byaggwa, Yesu ng'amanyi nti kaakano byonna biwedde, olw'okwagala okutuukiriza ekyawandiikibwa, n'agamba nti: “Ennyonta ennuma.”#Laba ne Zab 22:15; 69:21
29Waali wateekeddwawo ekibya ekijjudde omwenge omukaatuufu. Ne bannyika ekyangwe mu mwenge ogwo, ne bakiteeka ku kati akayitibwa yisopu, ne bakituusa ku mumwa gwe. 30Yesu bwe yamala okuweebwa omwenge omukaatuufu, n'agamba nti: “Kiwedde.” N'akutamya omutwe, n'afa.
Yesu afumitibwa effumu mu mbiriizi
31Olunaku nga bwe lwali olw'okweteekateeka, Abayudaaya ne batayagala mirambo kusigala ku misaalaba ku lwa Sabbaato, kubanga olunaku lwa Sabbaato eyo, lwali lukulu nnyo. Kyebaava basaba Pilaato, abaakomererwa ku misaalaba bamenyebwe amagulu, era bawanulweyo. 32Awo abaserikale ne bajja, ne bamenya amagulu ag'omubereberye, n'ag'omulala eyakomererwa ne Yesu. 33Bwe baatuuka ku Yesu, ne balaba nga yafudde dda, ne batamumenya magulu, 34naye omu ku baserikale n'amufumita effumu mu mbiriizi, amangwago ne muvaamu omusaayi n'amazzi.
35Kino eyakiraba nga kibaawo ye yakyogera, nammwe mulyoke mukkirize. Ky'ayogera kya mazima, era amanyi ng'ayogera mazima. 36Ebyo byabaawo, ekyawandiikibwa kituukirire nti: “Talimenyebwa ggumba na limu.”#Laba ne Kuv 12:48; Kubal 9:12; Zab 34:20 37Era ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti: “Balimulaba gwe baafumita.”#Laba ne Zek 12:10; Kub 1:7
Okuziikibwa kwa Yesu
(Laba ne Mat 27:57-61; Mak 15:42-47; Luk 23:50-56)
38Ebyo bwe byaggwa, Yosefu ow'e Arimataya, eyali omuyigirizwa wa Yesu, naye mu kyama olw'okutya Abayudaaya, ne yeegayirira Pilaato, amukkirize okutwala omulambo gwa Yesu. Pilaato n'akkiriza. Awo Yosefu n'ajja n'agutwala.
39Nikodemo, olumu eyagenda eri Yesu ekiro, naye n'ajja, ng'aleese kilo ng'amakumi asatu mu ssatu ez'ebyakawoowo ebitabule#19:39 kilo ng'amakumi asatu mu ssatu: Mu Luyonaani, “Litra kikumi.” Laba ebinnyonnyola ku 12:3., ebya mirra ne alowe.#Laba ne Yow 3:1-2 40Ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye enjeru wamu n'ebyakawoowo, ng'empisa y'Abayudaaya ey'okuziika bwe yali.
41Mu kifo, Yesu we yakomererwa ku musaalaba, waaliwo ennimiro omwali entaana empya ey'empuku, eyali teziikibwangamu muntu. 42Nga bwe lwali olunaku olw'okweteekateeka kw'Abayudaaya, ate entaana eno nga eri kumpi, Yesu ne bamuteeka omwo.

Currently Selected:

YOWANNE 19: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in