LUKKA 8

8
Abakazi abaayitanga ne Yesu
1Oluvannyumako, Yesu n'atambula olugendo ng'ayita mu bibuga ne mu byalo, ng'ategeeza abantu era ng'abunyisa Amawulire Amalungi agafa ku Bwakabaka bwa Katonda. Abayigirizwa ekkumi n'ababiri, 2-3era n'abakazi bangi, baali naye. Abakazi bano bonna baatoolanga ku bintu byabwe, ne bayamba Yesu n'abayigirizwa be. Abamu ku bakazi bano, Yesu yali amaze okubawonya emyoyo emibi n'endwadde, be bano: Mariya ayitibwa Magudaleena, eyagobwako emyoyo emibi omusanvu, ne Yowanna muka Kuuza omuwanika wa Herode, era ne Susanna.#Laba ne Mat 27:55-56; Mak 15:40-41; Luk 23:49
Olugero lw'omusizi
(Laba ne Mat 13:1-9; Mak 4:1-9)
4Awo abantu bangi nnyo ne bakuŋŋaanira awali Yesu, nga bava mu buli kibuga, n'abagamba mu lugero nti:
5“Omusizi yagenda okusiga ensigo. Bwe yali ng'asiga, ezimu ne zigwa mu kkubo, ne zirinnyirirwa, era ebinyonyi ne bizirya. 6Ensigo endala ne zigwa ku ttaka ery'oku lwazi. Bwe zaamera, ne zikala, kubanga ettaka teryalimu mazzi. 7Endala ne zigwa mu ttaka eryameramu amaggwa, ne gakulira wamu nazo, ne gazitta. 8N'endala ne zigwa mu ttaka eddungi, ne zikula, buli emu n'ebala ensigo kikumi.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'akangula ku ddoboozi, n'agamba nti: “Alina amatu ag'okuwulira, awulire.”
Omugaso gw'engero
(Laba ne Mat 13:10-17; Mak 4:10-12)
9Awo abayigirizwa ba Yesu ne bamubuuza amakulu g'olugero olwo. 10Ye n'addamu nti: “Mmwe muweereddwa okumanya ebyama ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda, naye abantu abalala babibuulirwa mu ngero, balyoke balabe naye nga tebeetegereza, bawulirize naye nga tebategeera.#Laba ne Yis 6:9-10
Yesu annyonnyola amakulu g'olugero lw'omusizi
(Laba ne Mat 13:18-23; Mak 4:13-20)
11“Amakulu g'olugero olwo gaagano: ensigo, kye kigambo kya Katonda. 12Ensigo ezaagwa mu kkubo, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda, naye Sitaani n'ajja n'akiggya mu mitima gyabwe, baleme okukkiriza ne balokolebwa.
13“Ate ensigo ezaagwa ku ttaka ery'oku lwazi, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda, ne bakyaniriza n'essanyu, naye ne baba ng'ebimera ebitalina mirandira gisse nnyo wansi mu ttaka. Bakkiriza okumala ekiseera kitono, mu kiseera eky'okukemebwa ne baterebuka.
14“Ezo ezaagwa mu ttaka eryameramu amaggwa, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda, naye emitawaana, n'obugagga n'amasanyu eby'omu bulamu buno, ne bigenda nga bibamalamu amaanyi, ne batakola bikolwa birungi.
15“Ate ezo ezaagwa mu ttaka eddungi, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda n'omutima omulungi ddala, ne bakikuuma era ne bakola ebikolwa ebirungi nga bagumiikiriza.
Ettaala tesaanikirwa
(Laba ne Mak 4:21-25)
16“Omuntu takoleeza ttaala n'agibikkako ekibbo, oba n'agiteeka wansi wa kitanda, wabula agiteeka ku kikondo kyayo, abantu abayingira balyoke balabe ekitangaala.#Laba ne Mat 5:15; Luk 11:33
17“Buli kintu ekikwekeddwa kirikwekulwa, era buli kyama kirimanyibwa mu lwatu.#Laba ne Mat 10:26; Luk 12:2
18“Kale nno muwulirize n'obwegendereza: buli alina aliweebwa; ate buli atalina, n'ekyo ky'alowooza okuba nakyo, kirimuggyibwako.”#Laba ne Mat 25:29; Luk 19:26
Baganda ba Yesu ne nnyina
(Laba ne Mat 12:46-50; Mak 3:31-35)
19Awo baganda ba Yesu ne nnyina ne bajja gy'ali, kyokka ne batasobola kumutuukako olw'obungi bw'abantu. 20Awo abantu abamu ne bamugamba nti: “Nnyoko ne baganda bo bali wabweru, baagala okukulaba.”
21Yesu n'addamu nti: “Mmange ne baganda bange be bo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako.”
Yesu akkakkanya omuyaga
(Laba ne Mat 8:23-27; Mak 4:35-41)
22Awo ku lunaku olumu, Yesu n'asaabala mu lyato wamu n'abayigirizwa be, n'abagamba nti: “Tuwunguke tugende emitala w'ennyanja.” Ne bagenda. 23Bwe baali mu lyato nga bagenda, Yesu ne yeebaka. Awo omuyaga ogw'amaanyi ne gukunta ku nnyanja, eryato ne liba kumpi okujjula amazzi, bonna ne baba mu kabi. 24Awo abayigirizwa ne basembera awali Yesu ne bamuzuukusa nga bagamba nti: “Muyigiriza, Muyigiriza, tufa!”
Yesu n'azuukuka, n'aboggolera omuyaga n'amayengo g'ennyanja. Omuyaga ne gukoma, ennyanja n'eteeka. 25Awo n'agamba abayigirizwa be nti: “Lwaki temulina kukkiriza?” Bo nga batidde, era nga beewuunya, ne bagambagana nti: “Kale ono ye ani? Olaba n'omuyaga era n'amayengo abiragira ne bimuwulira!”
Yesu awonya omuntu aliko emyoyo emibi
(Laba ne Mat 8:28-34; Mak 5:1-20)
26Awo Yesu n'abayigirizwa be ne bagoba ku lukalu lw'ensi y'Abagerasa, etunuulidde Galilaaya. 27Yesu bwe yali nga ky'ajje atuuke ku lukalu, omusajja eyava mu kibuga, era aliko emyoyo emibi, n'amusisinkana. Omusajja oyo yali amaze ekiseera kiwanvu nga tayambala, era nga taba mu nnyumba, wabula mu mpuku eziziikibwamu abafu.
28Bwe yalaba Yesu, n'awowoggana nnyo, n'afukamira mu maaso ge, era n'aleekaana nnyo nti: “Onvunaana ki, ggwe Yesu Omwana wa Katonda Atenkanika? Nkwegayiridde tombonyaabonya!” 29Yagamba bw'atyo kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi guve ku muntu oyo. Emirundi mingi gwamukwatanga, ne bamukuuma nga musibe n'enjegere, kyokka n'azikutulanga, ne gumutwala mu malungu.
30Yesu n'agubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” Ne guddamu nti: “Nze Ggye,” kubanga emyoyo emibi gyali mingi ku muntu oyo. 31Awo ne gyegayirira Yesu aleme kugiragira kugenda magombe.
32Ku lusozi awo waaliwo eggana ly'embizzi ddene, nga zirya. Emyoyo emibi ne gyegayirira Yesu agikkirize giyingire mu mbizzi ezo. N'agikkiriza. 33Awo ne giva ku muntu, ne giyingira mu mbizzi. Eggana ne lifubutuka, ne liwanuka waggulu ku kagulungujjo k'olusozi, ne lyesuula mu nnyanja, embizzi zonna ne zifa amazzi.
34Abaali bazirabirira bwe baalaba ekiguddewo, ne badduka, ne bagenda bategeeza ab'omu kibuga n'ab'omu byalo. 35Abantu ne bajja okulaba ekiguddewo. Ne batuuka awali Yesu, ne basanga omuntu ng'emyoyo emibi gimuvuddeko. Baamusanga atudde kumpi n'ebigere bya Yesu, era ng'ayambadde, era ng'ategeera bulungi, ne batya. 36Abo abaaliwo ng'emyoyo emibi giva ku muntu oyo, ne banyumiza abantu nga bwe yawonyezeddwa. 37Olwo abantu bonna ab'omu nsi y'Abagerasa ne basaba Yesu ave ewaabwe, kubanga baali batidde nnyo.
Awo Yesu n'asaabala mu lyato, agende. 38Omuntu eyagobwako emyoyo emibi ne yeegayirira Yesu amukkirize ayitenga naye. Kyokka Yesu n'amusiibula ng'agamba nti: 39“Ddayo ewammwe, onyumize abantu byonna Mukama by'akukoledde.”
Awo omuntu oyo n'atambula ekibuga kyonna ng'ategeeza abantu byonna ebyamukolerwa Yesu.
Muwala wa Yayiro n'omukazi eyakwata ku kyambalo kya Yesu
(Laba ne Mat 9:18-26; Mak 5:21-43)
40Yesu bwe yakomawo, abantu bangi ne bamwaniriza, kubanga bonna baali bamulindirira. 41Awo omusajja ayitibwa Yayiro, omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'ajja n'afukamira kumpi n'ebigere bya Yesu, n'amwegayirira agende ayingire mu nnyumba ye, 42kubanga muwala we ow'emyaka ekkumi n'ebiri, ate nga ye mwana gwe yalina yekka, yali kumpi okufa.
Yesu bwe yali ng'agenda, ebibiina by'abantu ne bimunyigiriza. 43Waaliwo omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky'omusaayi okumala emyaka kkumi n'ebiri, era ng'awaddeyo ebintu bye byonna mu basawo, kyokka nga tewali asobola kumuwonya. 44Awo n'ajja emabega wa Yesu, n'amukwata ku lukugiro lw'ekyambalo kye. Amangwago ekikulukuto ky'omusaayi gwe ne kikalira. 45Yesu n'abuuza nti: “Ani ankutteko?” Bonna ne beegaana. Peetero n'agamba nti: “Muyigiriza, abantu bangi abakwekuusaako, era abakunyigiriza!”
46Kyokka Yesu n'agamba nti: “Waliwo ankutteko, kubanga mpulidde ng'obuyinza bwange obuwonya bukoze.”
47Omukazi bwe yalaba nga tasobodde kwekweka, n'ajja ng'akankana, n'afukamira awali Yesu, n'amutegeeza ng'abantu bonna bawulira, ensonga kye yavudde amukwatako, era nga bwe yawonye amangwago. 48Yesu n'amugamba nti: “Muwala, owonye olw'okukkiriza kwo. Genda mirembe.”
49Yesu yali akyayogera, omubaka eyava mu maka g'omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'ajja, n'ategeeza omukulu oyo nti: “Muwala wo afudde. Leka kuteganya Muyigiriza.” 50Kyokka Yesu bwe yawulira, n'agamba omukulu w'ekkuŋŋaaniro nti: “Totya, kkiriza bukkiriza, muwala wo ajja kulamuka.”
51Yesu bwe yatuuka ku nnyumba, n'agaana abalala bonna okuyingira naye, okuggyako Peetero, ne Yowanne, ne Yakobo, n'abazadde b'omwana. 52Abantu bonna abaaliwo, baali bakaaba era nga bakuba ebiwoobe olw'omwana oyo. Kyokka Yesu n'agamba nti: “Temukaaba, kubanga tafudde, wabula yeebase.”
53Bonna ne bamusekerera, kubanga baali bamanyi nti omwana afudde. 54Kyokka Yesu n'amukwata ku mukono, n'amuyita nti: “Omwana, golokoka!” 55Awo omwana n'alamuka, era n'ayimirira amangwago. Yesu n'alagira nti: “Mumuwe emmere alye.” 56Abazadde b'omwana ono ne beewuunya. Kyokka Yesu n'abakuutira obutabuulirako muntu n'omu ekibaddewo.

اکنون انتخاب شده:

LUKKA 8: LB03

های‌لایت

به اشتراک گذاشتن

کپی

None

می خواهید نکات برجسته خود را در همه دستگاه های خود ذخیره کنید؟ برای ورودثبت نام کنید یا اگر ثبت نام کرده اید وارد شوید