LUKKA 9
9
Yesu atuma abayigirizwa ekkumi n'ababiri
(Laba ne Mat 10:5-15; Mak 6:7-13)
1Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri ne bakuŋŋaanira w'ali, n'abawa amaanyi n'obuyinza okugoba emyoyo emibi gyonna ku bantu n'okuwonya endwadde. 2N'abatuma bagende bategeeze abantu ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda, era bawonye abalwadde. 3N'abagamba nti: “Mu lugendo luno, temugenda na kantu konna, newaakubadde omuggo, newaakubadde ensawo ng'ez'abasabiriza, newaakubadde emmere, wadde ensimbi, era temuba na kkanzu yaakubiri.#Laba ne Luk 10:4-11; Bik 13:51 4Ennyumba gye muyingiramu ne babaaniriza, mwe mubanga musula okutuusa lwe muliva mu kibuga ekyo. 5Mu kibuga gye bagaana okubaaniriza, muveeyo era bwe muba nga muvaayo, mwekunkumuleko n'enfuufu eba ebakutte ku bigere, olw'okulabula abantu abo.”
6Awo abayigirizwa ne bagenda, ne batambula wonna wonna mu byalo, nga bategeeza abantu Amawulire Amalungi era nga bawonya abalwadde buli wantu.
Herode asoberwa
(Laba ne Mat 14:1-12; Mak 6:14-29)
7Awo Herode, omufuzi wa Galilaaya, n'awulira byonna ebyaliwo, n'asoberwa nnyo, kubanga abantu abamu baagambanga nti: “Yowanne Omubatiza azuukidde!”#Laba ne Mat 16:14; Mak 8:28; Luk 9:19 8Abalala nga bagamba nti: “Eliya alabise”, n'abalala nti: “Omu ku balanzi ab'edda azuukidde.” 9Herode n'agamba nti: “Yowanne nze nalagira n'atemwako omutwe, ate oyo ani gwe mpulirako ebyenkana awo?” N'agezaako okumulaba.
Yesu akkusa abantu enkumi ttaano
(Laba ne Mat 14:13-21; Mak 6:30-44; Yow 6:1-14)
10Abatume ne bakomawo, ne bategeeza Yesu byonna bye baakola. N'abatwala, ne bagenda naye bokka mu kibuga ekiyitibwa Betusayida. 11Abantu bangi nnyo bwe baakimanya, ne bamugoberera. Bwe yamala okubaaniriza, n'ababuulira ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda, era n'awonya abaali beetaaga okuwonyezebwa.
12Obudde bwe bwali butandika okuwungeera, abayigirizwa ekkumi n'ababiri ne batuukirira Yesu, ne bamugamba nti: “Abantu basiibule bagende mu bubuga ne mu byalo ebiriraanye wano, bafune emmere ne we banaasula, kubanga wano tuli mu kifo kya ddungu.”
13Kyokka Yesu n'abagamba nti: “Mmwe muba mubawa emmere balye.” Ne baddamu nti: “Tulinawo emigaati etaano gyokka, n'ebyennyanja bibiri. Mpozzi okuggyako nga tugenda ne tugulira abantu bano bonna emmere!” 14Abasajja baali bawera ng'enkumi ttaano.
Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mubatuuze mu bibinja nga buli kimu kirimu ng'amakumi ataano.” 15Ne bakola bwe batyo, bonna ne babatuuza.
16Yesu n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'ayimusa amaaso ge eri eggulu, ne yeebaza Katonda, n'abimenyaamenyamu, n'abiwa abayigirizwa be babigabire abantu. 17Bonna ne balya ne bakkuta. Obutundutundu obwalemerawo, ne bukuŋŋaanyizibwa, ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri.
Peetero kye yayatula ekifa ku Yesu
(Laba ne Mat 16:13-19; Mak 8:27-29)
18Lwali lumu, Yesu yali asinza Katonda, nga n'abayigirizwa be weebali, n'ababuuza nti: “Abantu bwe baba banjogerako bampita ani?”
19Ne baddamu nti: “Abamu bakuyita Yowanne Omubatiza, abalala Eliya, n'abalala bagamba nti omu ku balanzi ab'edda azuukidde.”#Laba ne Mat 14:1-2; Mak 6:14-15; Luk 9:7-8
20Awo Yesu n'ababuuza nti: “Naye mmwe, mumpita ani?” Peetero n'addamu nti: “Ggwe Kristo wa Katonda.”#Laba ne Yow 6:68-69
Yesu alanga okufa kwe n'okuzuukira kwe
(Laba ne Mat 16:20-28; Mak 8:30–9:1)
21Awo Yesu n'abakuutira nnyo ekyo obutakibuulirako muntu n'omu. 22Era n'agamba nti: “Omwana w'Omuntu ateekwa okubonaabona ennyo, n'okwegaanibwa abantu abakulu mu ggwanga ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, n'okuttibwa, era n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu.”
23Awo n'agamba bonna nti: “Buli muntu ayagala okuba omugoberezi wange, ateekwa okwefeebya, ne yeetikka omusaalaba gwe buli lunaku, n'angoberera.#Laba ne Mat 10:38; Luk 14:27 24Buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa. Wabula buli afiirwa obulamu bwe ku lwange, alibulokola.#Laba ne Mat 10:39; Luk 7:33; Yow 12:25 25Kale omuntu kimugasa ki okufuna obugagga bwonna obw'oku nsi, ate ne yeezikiriza, oba ne yeeretera okufiirwa obulamu bwe?
26“Buli muntu akwatirwa nze n'ebigambo byange ensonyi, n'Omwana w'Omuntu alimukwatirwa ensonyi bw'alijjira mu kitiibwa kye, ne mu kitiibwa kya Kitaawe, ne mu kya bamalayika abatukuvu. 27Mazima mbagamba nti abamu ku bantu abali wano, balifa bamaze okulaba Obwakabaka bwa Katonda.”
Okufuuka kw'endabika ya Yesu
(Laba ne Mat 17:1-8; Mak 9:2-8)
28Bwe waayitawo ennaku nga munaana nga Yesu amaze okwogera ebyo, n'atwala Peetero ne Yowanne ne Yakobo, n'alinnya ku lusozi okusinza Katonda.#Laba ne 2 Peet 1:17-18 29Bwe yali ng'akyasinza, endabika y'amaaso ge n'efuuka, era ebyambalo bye ne bitukula, ne byakaayakana.
30Awo abasajja babiri, Musa ne Eliya, ne balabika nga boogera naye. 31Baalabikira mu kitiibwa, era ne boogera ku ngeri y'okufa kwe, kwe yali agenda okutuukiriza mu Yerusaalemu.
32Peetero ne banne be yali nabo, baali bakwatiddwa otulo, kyokka bwe baazuukuka, ne balaba ekitiibwa kya Yesu, n'abasajja ababiri abaali bayimiridde naye. 33Abasajja bano bwe baali bava awali Yesu, Peetero n'amugamba nti: “Mukama waffe, kirungi tubeere wano. Leka tuzimbewo ensiisira ssatu, emu yiyo, eyookubiri ya Musa, n'eyookusatu ya Eliya.” Yali tamanyi ky'agamba.
34Bwe yali ng'akyayogera ebyo, ekire ne kijja ne kibabikka n'ekisiikirize kyakyo, awo abayigirizwa ne batya nga kibabikka. 35Eddoboozi ne lyogerera mu kire ekyo, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange, Omulonde wange, mumuwulirize.”#Laba ne Yis 42:1; Mat 3:17; 12:18; Mak 1:11; Luk 3:22
36Eddoboozi bwe lyamala okwogera, abayigirizwa ne balaba Yesu ng'asigaddewo yekka. Kye baalaba ne bakisirikira, ne batakibuulirako muntu mulala mu nnaku ezo.
Yesu awonya omulenzi aliko omwoyo omubi
(Laba ne Mat 17:14-18; Mak 9:14-27)
37Ku lunaku olwaddirira, Yesu n'abayigirizwa be abasatu bwe baava ku lusozi, ekibiina ky'abantu kinene ne kijja okusisinkana Yesu. 38Awo omusajja eyali mu kibiina ky'abantu n'aleekaana nti: “Muyigiriza, nkwegayiridde, kwatirwa mutabani wange ekisa, ye mwana wange yekka! 39Omwoyo omubi gumukwata, amangwago n'awowoggana, ne gumujugumiza, n'abimba ejjovu, era okumuvaako, gumala kumumaliramu ddala maanyi. 40Neegayiridde abayigirizwa bo okugumugobako, ne balemwa.”
41Yesu n'addamu nti: “Bantu mmwe ab'omulembe guno ogutalina kukkiriza era omubi, ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza?” Awo n'agamba kitaawe w'omulenzi nti: “Mutabani wo muleete wano.”
42Omulenzi bwe yali ng'ajja, omwoyo omubi ne gumukuba ekigwo, era ne gumujugumiza. Yesu n'aguboggolera, n'awonya omulenzi era n'amuddiza kitaawe. 43Bonna ne bawuniikirira olw'obuyinza bwa Katonda.
Yesu ayogera nate ku kufa kwe
(Laba ne Mat 17:22-23; Mak 9:30-32)
Abantu baali bakyewuunya byonna Yesu by'akoze, ye n'agamba abayigirizwa be nti: 44“Muwulirize n'obwegendereza ebigambo byange bino: Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bantu.” 45Kyokka bo ne batategeera ky'agambye. Kyali kibakwekeddwa baleme kukitegeera, ate ne batya okumubuuza amakulu gaakyo.
Ani asinga okuba oweekitiibwa mu bo?
(Laba ne Mat 18:1-5; Mak 9:33-37)
46Awo abayigirizwa ne bawakana nga beebuuzaganya nti ani asinga okuba oweekitiibwa mu bo.#Laba ne Luk 22:24 47Yesu n'amanya kye balowooza, n'aleeta omwana omuto, n'amuyimiriza kumpi naye. 48N'abagamba nti: “Buli ayaniriza omwana ng'ono ku lwange, aba ayanirizza nze. Ate buli annyaniriza, aba ayanirizza Katonda eyantuma, kubanga oyo asinga okuba omwetoowaze mu mmwe mwenna, ye asinga okuba oweekitiibwa.”#Laba ne Mat 10:40; Luk 10:16; Yow 13:20
Atabalwanyisa taba mulabe wammwe
(Laba ne Mak 9:38-40)
49Yowanne n'agamba nti: “Muyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba emyoyo emibi ku bantu ng'akozesa erinnya lyo, ffe ne tumuziyiza, kubanga takugoberera wamu naffe.” 50Yesu n'amugamba nti: “Temumuziyiza, kubanga atabalwanyisa taba mulabe wammwe.”
Ab'omu kabuga k'omu Samariya bagaana okwaniriza Yesu
51Awo olwatuuka, ennaku za Yesu ez'okutwalibwa mu ggulu bwe zaali nga ziri kumpi okutuuka, n'amalirira okugenda e Yerusaalemu. 52N'atuma ababaka bamukulemberemu, ne bagenda ne bayingira mu kabuga k'Abasamariya akamu, okumutegekera byonna. 53Kyokka abantu baayo ne bagaana okumwaniriza, kubanga yali alabikira ddala nti agenda Yerusaalemu. 54Abayigirizwa be, Yakobo ne Yowanne, bwe baalaba ekyo, ne bagamba nti: “Mukama waffe, oyagala tulagire omuliro guve mu ggulu gubazikirize?”#Laba ne 2 Bassek 1:9-16
55Yesu n'abakyukira n'abanenya. 56Awo ne bagenda mu kabuga akalala.
Abandibadde abayigirizwa ba Yesu
(Laba ne Mat 8:19-22)
57Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali nga batambula, omuntu omu n'agamba Yesu nti: “Nnaayitanga naawe gy'onoogendanga yonna.”
58Yesu n'amugamba nti: “Ebibe birina ebinnya, n'ebinyonyi birina ebisu, naye Omwana w'Omuntu talina w'assa mutwe.”
59Ate n'agamba omulala nti: “Yitanga nange.” Kyokka oyo n'addamu nti: “Ssebo, nzikiriza nsooke ŋŋende nziike kitange.”
60Yesu n'amugamba nti: “Leka abo abali ng'abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda otegeeze abantu ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda.”
61Omuntu omulala n'agamba nti: “Ssebo, nja kuyitanga naawe, naye nzikiriza mmale okusiibula ab'ewaffe.”#Laba ne 1 Bassek 19:20
62Yesu n'amugamba nti: “Buli akwata enkumbi okulima ate n'aba ng'akyatunula emabega, tayinza kuba wa mugaso mu Bwakabaka bwa Katonda.”
اکنون انتخاب شده:
LUKKA 9: LB03
هایلایت
به اشتراک گذاشتن
کپی
می خواهید نکات برجسته خود را در همه دستگاه های خود ذخیره کنید؟ برای ورودثبت نام کنید یا اگر ثبت نام کرده اید وارد شوید
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.