YouVersion logo
Ikona pretraživanja

Yokaana 3

3
Yesu ayigiriza Nikoodemo omufalisaayo
1Awo waaliwo omuntu ow'omu Bafalisaayo, erinnya lye Nikoodemo, omufuzi mu Bayudaaya.#Yok 7:50; 19:39 2Omusajja oyo n'ajja eri Yesu ekiro, n'amugamba nti, “Labbi, tumanyi nti Oli muyigiriza eyava eri Katonda: kubanga tewali muntu ayinza okukola obubonero buno bw'okola ggwe, wabula nga Katonda ali naye.”#Mat 22:16 3Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mulundi gwa kubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.”#Mat 19:3, Luk 17:21, 1 Peet 1:23 4Nikoodemo n'amugamba nti, “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw'aba nga mukadde? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina n'azaalibwa omulundi ogwokubiri?” 5Yesu n'addamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mazzi na Mwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.#Ez 36:25-27, Bef 5:26, Tit 3:5 6Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri; n'ekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo.#Yok 1:13, Lub 5:3, Zab 51:5 7Teweewuunya kubanga nkugambye nti Kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogwokubiri. 8Empewo ekuntira gy'eyagala, n'owulira okuwuuma kwayo, naye tomanyi gy'eva, newakubadde gy'egenda; bw'atyo bw'abeera buli muntu yenna azaalibwa Omwoyo.”#Mak 4:41, Mub 11:5 9Nikoodemo n'addamu n'amugamba nti, “Ebyo biyinza bitya okubaawo?” 10Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Ggwe Omuyigiriza wa Isiraeri, n'ototegeera ebyo? 11Ddala ddala nkugamba nti Twogera kye tumanyi, tutegeeza kye twalaba; so temukkiriza kutegeeza kwaffe.#Yok 7:16; 8:26,28; 12:49 12Bwe mbabuulidde eby'ensi, ne mutakkiriza, mulikkiriza mutya bwe nnaababuulira eby'omu ggulu?#Luk 22:67 13Tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, wabula eyava mu ggulu, ye Mwana w'omuntu.#Nge 30:4, Bef 4:9 14Nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n'Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa:#Kubal 21:8,9 15buli muntu yenna amukkiriza abeere n'obulamu obutaggwaawo mu ye.”
16 “ Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo. # Bar 5:8; 8:32, 1 Yok 4:9 17Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye.#Yok 5:22; 12:47, Luk 19:10, Bik 17:31 18Amukkiriza tegumusinga; atamukkiriza gumaze okumusinga, kubanga takkirizza linnya lya Mwana eyazaalibwa omu yekka owa Katonda.#Yok 3:36; 5:24 19Guno gwe musango kubanga omusana guzze mu nsi, abantu ne baagala enzikiza okukira omusana; kubanga ebikolwa byabwe byali bibi.#Yok 1:5,9-11; 12:48 20Kubanga buli muntu yenna akola ebitasaana akyawa omusana, so tajja eri omusana, ebikolwa bye bireme okunenyezebwa.#Bef 5:13 21Naye akola amazima ajja eri omusana ebikolwa bye birabike nga byakolerwa mu Katonda.”
Yokaana Omubatiza ategeeza obukulu bwa Yesu
22Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'ajja n'abayigirizwa be mu nsi y'e Buyudaaya; n'alwayo nabo, n'abatiza.#Yok 4:1,2 23Naye Yokaana yali ng'abatiriza mu Enoni kumpi n'e Salimu, kubanga ye eri amazzi amaangi; ne bajjanga, ne babatizibwanga.#Mat 4:12 24Kubanga Yokaana yali nga tannateekebwa mu kkomera.#Mat 14:3 25Abayigirizwa ba Yokaana n'Omuyudaaya ne baba n'empaka, mu bigambo eby'okutukuza. 26Ne bajja eri Yokaana, ne bamugamba nti, “Labbi oli eyali naawe emitala wa Yoludaani, gwe wategeeza, laba, oyo abatiza; n'abantu bonna bagenda gy'ali.”#Yok 1:26-34 27Yokaana n'addamu n'agamba nti, “Omuntu tayinza kuba na kintu kyonna wabula ng'akiweereddwa okuva mu ggulu.#Beb 5:4 28Mmwe bennyini muli bajulirwa bange nga nnayogera nti Si nze Kristo, naye nga nnatumibwa kumukulembera.#Yok 1:20,23,27, Mak 1:2, Mat 11:10 29Alina omugole ye awasa; naye mukwano gw'oyo awasa, ayimirira ng'amuwulira, asanyukira nnyo eddoboozi ly'oyo awasizza; kale essanyu lyange eryo lituukiridde.#Mat 9:15; 22:2 30Ye kimugwanira okukula, naye nze okutoowala.”#2 Sam 3:1
31Ava mu ggulu ye afuga byonna; ow'omu nsi aba wa mu nsi, ayogera bya mu nsi, ava mu ggulu ye afuga byonna. 32Kye yalaba era kye yawulira ky'ategeeza; so tewali muntu akkiriza kutegeeza kwe. 33Akkiriza okutegeeza kwe, ng'ataddeko akabonero ke nti Katonda wa mazima. 34Kubanga Katonda gwe yatuma ayogera bigambo bya Katonda; kubanga Katonda amuwa Omwoyo we omujjuvu.#Yok 1:33,34 35Kitaffe ayagala Omwana, era yamuwa byonna mu mukono gwe.#Yok 5:20; 17:2, Mat 11:27 36Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye.#Yok 3:18, Luk 3:7, 1 Yok 5:12

Trenutno odabrano:

Yokaana 3: LBR

Istaknuto

Podijeli

Kopiraj

None

Želiš li svoje istaknute stihove spremiti na sve svoje uređaje? Prijavi se ili registriraj