YouVersion logo
Ikona pretraživanja

Yokaana 4

4
Yesu n'omukazi Omusamaliya ku luzzi
1Awo Mukama waffe Yesu bwe yategeera nga Abafalisaayo bawulidde nti ayigiriza era abatiza bangi okusinga Yokaana, #Yok 3:22,26 2(naye Yesu yennyini teyabatiza, wabula abayigirizwa be),#1 Kol 1:17 3n'ava mu Buyudaaya, n'addayo e Ggaliraaya. 4Era kyamugwanira okuyita mu Samaliya.#Luk 9:52 5Awo n'atuuka mu kibuga eky'e Samaliya kye bayita Sukali, ekiriraanye olusuku Yakobo lwe yawa omwana we Yusufu.#Lub 48:22, Yos 24:32 6Mwalimu oluzzi lwa Yakobo. Awo Yesu yali akooye olw'olugendo, n'amala gatuula awo ku luzzi, obudde zaali nga ssaawa mukaaga. 7Omukazi Omusamaliya n'ajja okusena amazzi, Yesu n'amugamba nti, “Mpa ku mazzi nnyweko.” 8Kubanga abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugula emmere. 9Awo omukazi Omusamaliya n'amugamba nti, “Ggwe Omuyudaaya, kiki ekikusabya nze omukazi Omusamaliya amazzi okunywa?” (Kubanga Abayudaaya nga tebatabagana na Basamaliya). #Luk 9:53 10Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda n'oyo akugamba nti Mpa nnywe bw'ali, ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.”#Yok 7:38,39 11Omukazi n'amugamba nti, “Ssebo, tolina kya kusenya, n'oluzzi luwanvu; kale oggya wa amazzi ago amalamu? 12Ggwe oli mukulu okukira jjajjaffe Yakobo, eyatuwa oluzzi luno, eyanywangamu ye n'abaana be n'ensolo ze?” 13Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Buli muntu yenna anywa amazzi gano ennyonta erimuluma nate,#Yok 6:58 14naye anywa amazzi ago nze ge ndimuwa ennyonta terimulumira ddala emirembe gyonna; naye amazzi ge ndimuwa ganaafuukanga munda mu ye ensulo y'amazzi nga gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”#Yok 6:27,35, Yok 7:37-39 15Omukazi n'amugamba nti, “Ssebo, mpa amazzi ago, ennyonta ereme okunnumanga, n'okukoma nkome okutambula olugendo luno lwonna okujjanga wano okusena amazzi.” 16Yesu n'amugamba nti, “Genda oyite balo, okomewo wano.” 17Omukazi n'addamu n'amugamba nti, “Sirina baze.” Yesu n'amugamba nti, “Oyogedde bulungi nti Sirina baze; 18kubanga walina ba balo bataano, naye gw'olina kaakano si balo; ekyo ky'oyogedde mazima.” 19Omukazi n'amugamba nti, “Ssebo, ndaba nti oli nnabbi.#1 Kol 14:24,25, Yok 9:17 20Bajjajjaffe baasinzizanga ku lusozi luno; nammwe mugamba nti Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.”#Ma 12:5, Zab 122:1-9 21Yesu n'amugamba nti, “Omukyala, nzikiriza, ekiseera kijja kye batalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno newakubadde mu Yerusaalemi.#Mak 14:58 22Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi; kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya.#2 Bassek 17:29-41, Is 2:3 23Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza amazima lwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo n'amazima, kubanga Kitaffe anoonya abali ng'abo okubeera ab'okumusinzanga. 24Katonda gwe Mwoyo; n'abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n'amazima.”#Bar 12:1, 2 Kol 3:17 25Omukazi n'amugamba nti, “Mmanyi nga Kristo ajja (gwe bayita Eyafukibwako amafuta), ye bw'alijja alitubuulira ebigambo byonna.”#Yok 1:41 26Yesu n'amugamba nti, “Nze nzuuno ayogera naawe.”#Yok 9:37; 10:25
27Amangu ago abayigirizwa be ne bajja; ne beewuunya kubanga abadde ayogera n'omukazi, naye tewali muntu eyabuuza omukazi nti, “Onoonya ki?” Oba eyabuuza Yesu nti, “Kiki ekikwogeza naye?” 28Awo omukazi n'aleka ensuwa ye, n'agenda mu kibuga, n'abuulira abantu nti, 29“Mujje mulabe omuntu aŋŋambye bye nnakolanga byonna; ayinza okuba nga ye Kristo?” 30Ne bava mu kibuga, ne bagenda Yesu gye yali. 31Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali nga bamwegayirira nga bagamba nti, “Labbi, lya ku mmere.” 32Naye n'abagamba nti, “Nnina eky'okulya kye ndya kye mutamanyi.”#Yok 4:34 33Awo abayigirizwa ne boogera bokka na bokka nti, “Waliwo omuntu amuleetedde eky'okulya?” 34Yesu n'abagamba nti, “Eky'okulya kyange kwe kukolanga eyantuma by'ayagala n'okutuukiriza omulimu gwe.#Yok 17:4 35Mmwe temwogera nti Esigaddeyo emyezi ena okukungula kulyoke kutuuke? Laba, mbagamba nti Muyimuse amaaso mulabe ennimiro nga zimaze okutukula okukungulibwa.#Mat 9:37, Luk 10:2 36Akungula aweebwa empeera, n'akuŋŋaanya ebibala olw'obulamu obutaggwaawo; asiga n'akungula basanyukire wamu. 37Kubanga ekigambo kino bwe kiri bwe kityo eky'amazima nti, ‘Asiga mulala, n'akungula mulala.’#Mi 6:15 38Nze nnabatuma okukungula kye mutaatengejjera; abalala baakola emirimu, nammwe muyingidde emirimu gyabwe.”
39Ab'omu kibuga omwo Abasamaliya bangi ku bo abaamukkiriza olw'ekigambo ky'omukazi, eyategeeza nti Aŋŋambye bye nnakolanga byonna. 40Awo Abasamaliya bwe baatuuka w'ali ne bamwegayirira abeere nabo; n'asulayo ennaku bbiri. 41Bangi nnyo ne beeyongera okukkiriza olw'ekigambo kye, 42ne bagamba omukazi nti, “Kaakano tukkiriza, si lwa kwogera kwo kwokka: kubanga twewuliridde fekka, n'okutegeera tutegedde nga mazima ono ye Mulokozi w'ensi.”#1 Yok 4:14
Yesu awonya omwana w'omukungu
43Ennaku ezo ebbiri bwe zaayitawo, n'avaayo n'agenda e Ggaliraaya.#Mat 4:12 44Kubanga Yesu yennyini yategeeza nti, “Nnabbi mu nsi y'ewaabwe tebamussaamu kitiibwa.”#Mat 13:57, Mak 6:4, Luk 4:24 45Awo bwe yatuuka e Ggaliraaya, Abagaliraaya ne bamusembeza, bwe baalaba byonna bye yakolera e Yerusaalemi ku mbaga, kubanga nabo baagenda ku mbaga.#Yok 2:23
46Awo n'ajja nate e Kaana eky'e Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi envinnyo. Era yaliyo omukungu wa kabaka, eyalina omwana we omulenzi yali alwalidde mu Kaperunawumu. #Yok 2:1,9 47Oyo bwe yawulira nti Yesu avudde e Buyudaaya ng'atuuse e Ggaliraaya, n'ajja gy'ali, n'amwegayirira aserengete awonye omwana we; kubanga yali ng'agenda kufa.#Luk 7:2 48Awo Yesu n'amugamba nti, “Bwe mutaliraba bubonero n'eby'amagero temulikkiriza n'akatono.”#Yok 2:18, 1 Kol 1:22 49Omukungu n'amugamba nti, “Ssebo, serengeta akaana kange nga tekannaba kufa.” 50Yesu n'amugamba nti, “Genda; omwana wo mulamu.” Omuntu oyo n'akkiriza ekigambo Yesu ky'amugambye, n'agenda. 51Bwe yali ng'akyaserengeta, abaddu be ne bamusisinkana ne boogera nti, “Omwana we mulamu.”#Mat 8:6 52Awo n'ababuuliriza essaawa mwe yassuukidde. Awo ne bamugamba nti, “Jjo obudde nga ssaawa ya musanvu omusujja ne gumuwonako.” 53Awo kitaawe n'ategeera nti mu ssaawa eyo Yesu mwe yamugambira nti, “Omwana wo mulamu;” ye n'akkiriza n'ennyumba ye yonna.#Luk 19:9, Bik 16:15,31 54Kano ke kabonero ak'okubiri Yesu ke yakola ng'akomyewo e Buyudaaya okuva e Ggaliraaya.#Yok 2:11,23

Trenutno odabrano:

Yokaana 4: LBR

Istaknuto

Podijeli

Kopiraj

None

Želiš li svoje istaknute stihove spremiti na sve svoje uređaje? Prijavi se ili registriraj