1
Yokaana 6:35
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Yesu n'abagamba nti Nze mmere ey'obulamu: ajja gye ndi enjala terimuluma, anzikiriza ennyonta terimuluma n'akatono.
Yenzanisa
Ongorora {{vhesi}}
2
Yokaana 6:63
Omwoyo gwe guleeta obulamu; omubiri teguliiko kye gugasa: ebigambo bye mbagambye gwe mwoyo, bwe bulamu.
3
Yokaana 6:27
Temukolerera kyakulya ekiggwaawo, naye ekyokulya ekirwawo okutuuka ku bulamu obutaggwaawo, Omwana w'omuntu ky'alibawa: kubanga Kitaffe ye Katonda amussizzaako oyo akabonero.
4
Yokaana 6:40
Kubanga Kitange ky'ayagala kye kino buli muntu yenna alaba Omwana n'amukkiriza abe n'obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero.
5
Yokaana 6:29
Yesu n'addamu n'abagamba nti Guno gwe mulimu gwa Katonda, okukkiriza oyo gwe yatuma.
6
Yokaana 6:37
Buli Kitange gw'ampa, alijja gye ndi: ajja gye ndi sirimugobera bweru n'akatono.
7
Yokaana 6:68
Simooni Peetero n'amuddamu nti Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby'obulamu obutaggwaawo.
8
Yokaana 6:51
Nze mmere ennamu eyava mu ggulu: omuntu bw'alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n'emirembe: era emmere gye ndigaba gwe mubiri gwange, olw'obulamu bw'ensi.
9
Yokaana 6:44
Tewali ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma bw'atamuwalula; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero.
10
Yokaana 6:33
Kubanga emmere ya Katonda ye eyo eva mu ggulu ereetera ensi obulamu.
11
Yokaana 6:48
Nze mmere ey'obulamu.
12
Yokaana 6:11-12
Awo Yesu n'atoola emigaati ne yeebaza; n'agabira bali abatudde; n'ebyennyanja bw'atyo nga bwe baayagala. Bwe bakkuta n'agamba abayigirizwa be nti Mukuŋŋaanye obukunkumuka obusigaddewo, waleme okubula ekintu.
13
Yokaana 6:19-20
Awo bwe baamala okuvuga esutadyo ng'amakumi abiri mu ttaano, oba makumi asatu, ne balaba Yesu ng'atambulira ku nnyanja, ng'asemberera eryato; ne batya. Naye n'abagamba nti Nze nzuuno, temutya.
Pekutangira
Bhaibheri
Zvirongwa
Mavideo