Yokaana 9
9
1 #
Bik 3:2; 14:8 Bwe yali ng'ayita, n'alaba omuntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. 2#Luk 13:2, Kuv 20:5Abayigirizwa be ne bamubuuza, nga bagamba nti Labbi, ani eyayonoona, ono oba abazadde be, kye kyamuzaaza nga muzibe wa maaso? 3#Yok 11:4Yesu n'addamu nti Ono teyayonoona, newakubadde abazadde be, naye emirimu gya Katonda girabikire ku ye. 4#Yok 5:17,20; 11:9Ffe kitugwanira okukola emirimu gy'oyo eyantuma, obudde nga misana. Ekiro kijja omuntu mw'atayinziza kukolera. 5#Yok 8:12; 12:35Bwe mba mu nsi, ndi musana gwa nsi. 6#Mak 8:23Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'awanda amalusu ku ttaka, n'atabula ettaka n'amalusu, n'amusiiga ettaka ku maaso, 7n'amugamba nti Genda, onaabe mu kidiba kya Sirowamu (okutegeezebwa kwakyo nti Eyatumibwa). Awo n'agenda, n'anaaba, n'akomawo ng'alaba. 8Awo baliraanwa be n'abaamulabanga edda ng'atudde ng'asabiriza, ne bagamba nti Si ye wuuno eyatuulanga ng'asabiriza? 9Abalala ne bagamba nti Ye wuuyo: abalala ne bagamba nti Nedda, naye afaanana naye. Ye n'agamba nti Nze nzuuno. 10Awo ne bamugamba nti Kale amaaso go gaazibuka gatya? 11Ye n'addamu nti Omuntu ayitibwa Yesu yatabula ettaka, n'ansiiga ku maaso, n'aŋŋamba nti Genda ku Sirowamu, onaabe: awo ne ŋŋenda, ne nnaaba, ne nzibula. 12Ne bamugamba nti Ali ludda wa oyo? N'agamba nti Simanyi.
13Ne bamutwala eri Abafalisaayo oli eyali edda omuzibe w'amaaso. 14#Yok 5:9Naye lwali lwa ssabbiiti olunaku olwo Yesu lwe yatabulirako ettaka, n'amuzibula amaaso. 15Awo Abafalisaayo ate ne bamubuuza bwe yazibula. N'abagamba nti Yansiiga ttaka ku maaso, ne nnaaba, ne nzibula. 16#Yok 3:2; 7:43; 9:31,33Awo Abafalisaayo abamu ne bagamba nti Omuntu oyo si wa Katonda, kubanga takwata ssabbiiti. Naye abalala ne bagamba nti Omuntu alina ebibi ayinza atya okukola obubonero obwenkanidde wano? Ne wabaawo okwawukana mu bo. 17#Yok 4:19Awo ne bamugamba nate omuzibe w'amaaso nti Ggwe omuyita otya, kubanga yakuzibula amaaso? Naye n'agamba nti Ye nnabbi. 18Kale Abayudaaya tebakkiriza bigambo bye, nga yali muzibe w'amaaso n'azibula, okutuusa lwe baamala okuyita abazadde b'eyazibula 19ne bababuuza nga bagamba nti Ono ye mwana wammwe mmwe gwe mugamba nti yazaalibwa nga muzibe w'amaaso? kale kaakano alaba atya? 20Abazadde be ne baddamu ne bagamba nti Tumanyi ng'ono ye mwana waffe, era nga yazaalibwa nga muzibe wa maaso: 21naye bw'alaba kaakano tetumanyi: so n'eyamuzibula amaaso ffe tetumanyi bw'ali: mumubuuze; musajja mukulu; aneeyogerera yekka. 22#Yok 7:13; 12:42; 16:2Abazadde ekyaboogeza bwe batyo kubanga baali batya Abayudaaya; kubanga Abayudaaya baali nga bamaze okulagaana buli muntu anaamwatulanga okuba Kristo, agobebwenga mu kkuŋŋaaniro. 23Abazadde be kyebaava boogera nti Musajja mukulu; mumubuuze ye. 24#Yos 7:19Awo ne bayita omulundi ogw'okubiri oli omuntu eyali omuzibe w'amaaso, ne bamugamba nti Gulumiza Katonda: ffe tumanyi ng'omuntu oyo alina ebibi. 25Ye n'addamu nti Oba ng'alina ebibi simanyi; ekigambo kimu kye mmanyi nti Nnali muzibe wa maaso, naye kaakano ndaba. 26Awo ne bamugamba nti Yakukola atya? yakuzibula atya amaaso go? 27N'abaddamu nti Mmaze okubabuulira naye temuwulidde: ekibaagaza okuwulira omulundi ogw'okubiri kiki? era nammwe mwagala okufuuka abayigirizwa be? 28Ne bamuvuma, ne bagamba nti Ggwe oli muyigirizwa we: naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa. 29Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa: naye omuntu oyo tetumumanyi gy'ava. 30Omuntu n'addamu n'abagamba nti Kino kitalo! mmwe obutamanya gy'ava, omuntu eyasobola okunzibula amaaso! 31#Is 1:15, Nge 15:29, Bik 10:35Tumanyi nga Katonda tawulira balina bibi; naye buli muntu atya Katonda, ng'akola ky'ayagala, oyo amuwulira. 32Okuva edda n'edda tewawulirwanga nga waaliwo omuntu eyazibula amaaso g'omuntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. 33#Yok 9:16Omuntu oyo singa teyava wa Katonda, teyandiyinzizza kukola kigambo. 34#Yok 9:2, Zab 51:5Ne baddamu ne bamugamba nti Ggwe wazaalibwa mu bibi byereere, naawe otuyigiriza ffe? Ne bamusindikira ebweru.
35Yesu n'awulira nga bamusindikidde ebweru; n'amulaba n'agamba nti Ggwe okkiriza Omwana wa Katonda? 36Ye n'addamu, n'agamba nti Mukama wange, ye ani, mmukkirize? 37#Yok 4:26; 10:25Yesu n'amugamba nti Omulabye, era ayogera naawe ye wuuyo. 38Ye n'agamba nti Mukama wange, nzikirizza. N'amusinza. 39#Mat 13:11-15Yesu n'agamba nti Omusango gwe gwandeeta mu nsi muno, abatalaba balabe, n'abo abalaba babe bazibe ba maaso. 40#Mat 15:14; 23:26Abafalisaayo abalala abaali naye ne bawulira bwe batyo, ne bamugamba nti Naffe tuli bazibe ba maaso? 41Yesu n'abagamba nti Singa mubadde bazibe ba maaso, temwandibadde na kibi; naye kaakano mugamba nti Tulaba: ekibi kyammwe kibeerera awo.
Zvasarudzwa nguva ino
Yokaana 9: LUG68
Sarudza vhesi
Pakurirana nevamwe
Sarudza zvinyorwa izvi
Unoda kuti zviratidziro zvako zvichengetedzwe pamidziyo yako yose? Nyoresa kana kuti pinda
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.