1
YOWANNE 5:24
Luganda DC Bible 2003
“Mazima ddala mbagamba nti awulira ebigambo byange, n'akkiriza oyo eyantuma, aba n'obulamu obutaggwaawo, era tasalirwa musango. Aba avudde mu kufa, ng'atuuse mu bulamu.
Ṣe Àfiwé
Ṣàwárí YOWANNE 5:24
2
YOWANNE 5:6
Yesu bwe yalaba omuntu oyo ng'agalamidde awo, era n'amanya ng'abadde awo okumala ebbanga ddene, n'amugamba nti: “Oyagala okuwonyezebwa?”
Ṣàwárí YOWANNE 5:6
3
YOWANNE 5:39-40
“Mwekenneenya ebyawandiikibwa, kubanga mulowooza nti mu byo, mwe muli obulamu obutaggwaawo. Sso nabyo byennyini binjogerako, era mmwe ne musigala nga temwagala kujja gye ndi, okufuna obulamu.
Ṣàwárí YOWANNE 5:39-40
4
YOWANNE 5:8-9
Yesu n'amugamba nti: “Golokoka, weetikke akatanda ko, otambule.” Amangwago omuntu oyo n'awonyezebwa, ne yeetikka akatanda ke, n'atambula. Olunaku olwo lwali lwa Sabbaato.
Ṣàwárí YOWANNE 5:8-9
5
YOWANNE 5:19
Awo Yesu n'abaddamu nti: “Mazima ddala mbagamba nti Omwana talina ky'ayinza kukola ku bubwe, wabula ekyo ky'alaba nga Kitaawe akikola, kubanga ye by'akola, n'Omwana by'akola.
Ṣàwárí YOWANNE 5:19
Ilé
Bíbélì
Àwon ètò
Àwon Fídíò