1
YOWANNE 4:24
Luganda DC Bible 2003
Katonda Mwoyo, n'abo abamusinza bateekwa okumusinziza mu mwoyo era mu mazima.”
Ṣe Àfiwé
Ṣàwárí YOWANNE 4:24
2
YOWANNE 4:23
Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza mu ngeri entuufu, basinzenga Kitaffe mu mwoyo era mu mazima, kubanga Kitaffe abamusinza bwe batyo, b'ayagala.
Ṣàwárí YOWANNE 4:23
3
YOWANNE 4:14
Naye buli anywa ku mazzi ge ndimuwa, taliddayo kulumwa nnyonta emirembe n'emirembe, kubanga amazzi ge ndimuwa, mu ye galifuuka ensulo eneevangamu amazzi amalamu, n'emuwa obulamu obutaggwaawo.”
Ṣàwárí YOWANNE 4:14
4
YOWANNE 4:10
Yesu n'amuddamu nti: “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, era ng'omanyi oyo akugamba nti: ‘Mpa ku mazzi nnyweko,’ ggwe wandimusabye, era yandikuwadde amazzi amalamu.”
Ṣàwárí YOWANNE 4:10
5
YOWANNE 4:34
Yesu n'abagamba nti: “Emmere yange, kwe kukola ebyo eyantuma by'ayagala, n'okutuukiriza omulimu gwe.
Ṣàwárí YOWANNE 4:34
6
YOWANNE 4:11
Omukazi n'amugamba nti: “Ssebo, tolina ky'osenya, ate oluzzi luwanvu. Onoggya wa amazzi ago amalamu?
Ṣàwárí YOWANNE 4:11
7
YOWANNE 4:25-26
Omukazi n'amugamba nti: “Mmanyi nga Messiya, ayitibwa Kristo, ajja. Ye bw'alijja, alitutegeeza ebintu byonna.” Yesu n'amugamba nti: “Ye Nze ayogera naawe.”
Ṣàwárí YOWANNE 4:25-26
8
YOWANNE 4:29
“Mujje mulabe omuntu antegeezezza byonna bye nakolanga. Ayinza okuba nga ye Kristo!”
Ṣàwárí YOWANNE 4:29
Ilé
Bíbélì
Àwon ètò
Àwon Fídíò