OKUVA E MISIRI 37
37
Essanduuko ey'Endagaano ekolebwa
(Laba ne Kuv 25:10-22)
1Bezaleeli n'akola essanduuko ey'omuti ogwa akasiya, sentimita kikumi mu kkumi obuwanvu, sentimita nkaaga mu mukaaga obugazi, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugulumivu. 2Munda ne kungulu n'agibikkako zaabu omulungi, n'agikolako omuge ogwa zaabu okugyetoolooza. 3N'agikolera empeta nnya eza zaabu, n'azisiba ku magulu gaayo ana, ng'ebbiri ziri ku ludda lwayo olumu, n'endala bbiri ku ludda lwayo olulala. 4N'akola emisituliro egy'omuti ogwa akasiya, n'agibikkako zaabu. 5N'agiyingiza mu mpeta ku buli ludda olw'essanduuko. 6N'addira zaabu omulungi, n'akolamu entebe ey'obusaasizi, ya sentimita kikumi mu kkumi obuwanvu, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugazi. 7N'akola n'abakerubi babiri aba zaabu omuweese, n'abateeka ku nsonda zombi ez'entebe ey'obusaasizi: 8omu ku nsonda emu, n'omulala ku nsonda endala, ne bafuukira ddala kitundu kya ntebe ey'obusaasizi, ku nsonda zaayo zombi. 9Bakerubi baatunuuliragana, era nga batunuulidde entebe ey'obusaasizi, n'ebiwaawaatiro byabwe ebyanjuluze ne bigibikka.
Okukola emmeeza ey'okuteekako emigaati
(Laba ne Kuv 25:23-30)
10N'akola emmeeza ey'omuti ogwa akasiya, sentimita kinaana mu munaana obuwanvu, sentimita ana mu nnya obugazi, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugulumivu. 11N'agibikkako zaabu omulungi, n'akola ku yo omuge ogwa zaabu okugyetoolooza. 12Yagikolako omukugiro gwa milimita nsanvu mu ttaano okugyetoolooza. Ne ku lukugiro n'akolako omuge ogwa zaabu okulwetoolooza. 13N'agikolera empeta nnya eza zaabu, n'aziteeka ku nsonda zaayo ennya, awali amagulu gaayo. 14Empeta ezo, ez'okuteekamu emisituliro gy'emmeeza, n'aziteeka kumpi n'omukugiro. 15N'akola emisituliro egy'omuti ogwa akasiya, n'agibikkako zaabu, emmeeza esitulirwenga ku gyo. 16N'akola ebikozesebwa ku mmeeza: essowaani n'ensaniya ez'okuteekako obubaane, ensuwa n'ebikopo eby'okukozesanga ku biweebwayo ebinywebwa.
Okukola ekikondo ky'ettaala
(Laba ne Kuv 25:31-40)
17N'akola ekikondo ky'ettaala ekya zaabu omulungi. Yakola ekikolo kyakyo n'enduli yaakyo nga bya zaabu omuweese. Ebikopo byakyo n'ebituttwa byakyo n'ebimuli byakyo byali bya zaabu ye omu n'ow'ekikondo kyennyini. 18Amatabi mukaaga gaava ku njuyi zaakyo, amatabi asatu ku buli ludda. 19Buli limu ku matabi omukaaga, lyaliko ebikopo bisatu, ebifaanana ng'ebimuli by'alumondi, okuli ebituttwa n'ekimuli. 20Ne ku nduli y'ekikondo ky'ettaala, kwaliko ebikopo bina, ebifaanana ng'ebimuli by'alumondi, okuli ebituttwa n'ebimuli. 21Wansi wa buli matabi abiri, ku matabi omukaaga agava ku nduli y'ekikondo ky'ettaala, waaliwo ekituttwa kimu, nga kya zaabu ye omu n'ow'ekikondo kyennyini. 22Ebituttwa n'amatabi byali bya zaabu ye omu n'ow'ekikondo kyennyini, nga kyonna awamu kya zaabu omulungi omuweese. 23Yakola ettaala musanvu ez'okuteeka ku kikondo, era n'akola ne makansi zaakyo, n'ensaniya zaakyo, nga bya zaabu omulungi. 24Yakozesa kilo amakumi asatu mu ttaano eza zaabu omulungi, okukola ekikondo ky'ettaala n'ebintu byakyo byonna.
Okukola ekyoterezo ky'obubaane
(Laba ne Kuv 30:1-5)
25N'akola ekyoterezo ky'obubaane, eky'omuti ogwa akasiya. Kyali kyenkanankana ku njuyi zonna: sentimita amakumi ana mu ttaano obuwanvu, ne sentimita amakumi ana mu ttaano obugazi, ate sentimita kyenda obugulumivu. Amayembe gaakyo gaali ga muti gwe gumu ng'ogwakyo. 26N'abikka zaabu omulungi kungulu waakyo, ne ku njuyi zaakyo ennya, ne ku mayembe gaakyo, era n'akiteekako engule eya zaabu okukyetoolooza. 27N'akikolera empeta bbiri eza zaabu n'aziteeka wansi w'engule, ku njuyi zaakyo ebbiri, okusiba emisituliro egy'okukisitulirangako. 28N'akola emisituliro egy'omuti ogwa akasiya, n'agibikkako zaabu.
Omuzigo ogusiigibwa era n'obubaane
(Laba ne Kuv 30:22-38)
29Era n'akola omuzigo omutukuvu ogw'okusiiga, n'obubaane obulongoofu obutabuddwamu ebyakawoowo.#Laba ne Kuv 30:22-38
Currently Selected:
OKUVA E MISIRI 37: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.